Matayo 14:18-19
Matayo 14:18-19 LBR
Yesu n'agamba nti, “Mubindeetere wano.” N'alagira ebibiina okutuula ku muddo; n'atoola emigaati etaano n'ebyennyanja bibiri, n'atunula waggulu mu ggulu, ne yeebaza, n'amenyamu emigaati n'agiwa abayigirizwa be, abayigirizwa ne bagigabira ebibiina.





