Yokaana 6

6
Yesu aliisa abantu enkumi ttaano
(Mat 14:13-21, Mak 6:30-44, Luk 9:10-17)
1Oluvannyuma lw'ebyo Yesu n'agenda emitala w'ennyanja ey'e Ggaliraaya era eyitibwa ey'e Tiberiya. #Mat 14:13-21; 15:32-39, Mak 6:32-44; 8:1-10, Luk 9:10-17 2Ekibiina ekinene ne kimugoberera kubanga baalaba obubonero bwe yakola ku balwadde. 3Yesu n'alinnya ku lusozi n'atuula eyo n'abayigirizwa be. 4N'Okuyitako, embaga y'Abayudaaya, kwali kunaatera okutuuka.#Yok 2:13; 11:55, Luk 22:1 5Awo Yesu n'ayimusa amaaso, n'alaba ekibiina ekinene nga kijja gy'ali, n'agamba Firipo nti, “Tunaagula wa emmere, bano gye banaalya?” 6Yayogera atyo kumukema, ng'amanyi yekka ky'agenda okukola. 7Firipo n'amuddamu nti, “Emmere egulibwa dinaali ebibiri (200), teebabune, buli muntu okulyako akatono.” 8Omu ku bayigirizwa be, ye Andereya muganda wa Simooni Peetero, n'amugamba nti, 9“Waliwo omulenzi wano alina emigaati etaano egya sayiri n'ebyennyanja bibiri; naye bino binaabagasa ki abenkanidde awo obungi?”#2 Bassek 4:42,43 10Yesu n'agamba nti, “Mutuuze abantu.” Era waaliwo omuddo mungi mu kifo ekyo. Awo abasajja ne batuula, baali ng'enkumi ttaano (5,000). 11Awo Yesu n'atoola emigaati ne yeebaza; n'agabira bali abaali abatudde; n'ebyennyanja n'akola bw'atyo. Bonna ne bafuna nga bwe baayagala. 12Bwe bakkuta n'agamba abayigirizwa be nti “Mukuŋŋaanye obukunkumuka obusigaddewo, waleme okusigala akantu.” 13Awo ne babukuŋŋaanya ne bajjuza ebibbo kkumi na bibiri n'obukunkumuka obw'emigaati etaano egya sayiri, bali abaalya bwe baalemwa. 14Awo abantu bwe baalaba akabonero ke yakola, ne bagamba nti, “Mazima ono ye nnabbi oyo ajja mu nsi.”#Ma 18:15
15Awo Yesu bwe yategeera nga bagenda okujja okumukwata, bamufuule kabaka, n'addayo nate ku lusozi yekka.#Yok 18:36
Yesu atambulira ku mazzi
(Mat 14:22-33, Mak 6:45-52)
16Naye obudde bwe bwawungeera, abayigirizwa be ne baserengeta ku nnyanja;#Mat 14:22-33, Mak 6:45-52 17ne basaabala mu lyato, baali bawunguka ennyanja okugenda e Kaperunawumu. N'obudde bwali buzibye nga ne Yesu tannaba kutuuka gyebali. 18Ennyanja n'esiikuuka, omuyaga mungi nga gukunta. 19Awo bwe baamala okuvuga esutadyo ng'abiri mu ttaano (25), oba asatu (30), ne balaba Yesu ng'atambulira ku nnyanja, ng'asemberera eryato; ne batya. 20Naye n'abagamba nti, “Nze nzuuno, temutya.” 21Awo ne bakkiriza okumuyingiza mu lyato; amangu ago eryato ne ligoba ku ttale gye baali bagenda.
Abantu banoonya Yesu
22Olunaku olwaddirira, ekibiina ekyali kiyimiridde emitala w'ennyanja, ne balaba nga waliyo eryato limu, era ne bamanya nga Yesu tasaabadde wamu mu lyato n'abayigirizwa be, naye nga abayigirizwa be bagenze bokka. 23Naye amaato amalala gaava e Tiberiya ne gagoba kumpi ne gye baaliira emigaati Mukama waffe bwe yamala okwebaza.#Yok 6:11 24Awo abantu bwe baalaba nga Yesu taliiyo, newakubadde abayigirizwa be, bo bennyini ne basaabala mu maato gali ne bajja e Kaperunawumu, nga banoonya Yesu. 25Bwe baamusanga emitala w'ennyanja ne bamubuuza nti, “Labbi, ozze ddi wano?” 26Yesu n'abaddamu n'agamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti Munnoonya si kubanga mwalaba obubonero naye kubanga mwalya ku migaati ne mukkuta. 27Temukolereranga kya kulya ekiggwaawo, naye eky'okulya ekirwawo okutuuka ku bulamu obutaggwaawo, Omwana w'omuntu ky'alibawa: kubanga Kitaffe ye Katonda amussizzaako oyo akabonero.”#Yok 4:14; 5:36, Mat 16:12 28Awo ne bamugamba nti, “Tukole ki okukola emirimu gya Katonda?” 29Yesu n'addamu n'abagamba nti, “Guno gwe mulimu gwa Katonda, okukkiriza oyo gwe yatuma.”#1 Yok 3:23 30Awo ne bamugamba nti, “Kale kabonero ki ggwe k'okola, tulabe, tukukkirize? Okola mulimu ki?#Yok 2:18, Mak 8:11 31Bajjajjaffe baaliiranga emmaanu mu ddungu; nga bwe kyawandiikibwa nti Yabawa emmere okulya eyava mu ggulu.”#Kuv 16:13,14, Zab 78:24 32Awo Yesu n'abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti Musa si ye yabawa emmere eyava mu ggulu; naye Kitange ye yabawa emmere ey'amazima eva mu ggulu.#Yok 6:49 33Kubanga emmere ya Katonda ye eyo eva mu ggulu ereetera ensi obulamu.”#Yok 6:51 34Awo ne bamugamba nti, “Mukama waffe, tuwenga bulijjo emmere eyo.” 35Yesu n'abagamba nti, “Nze mmere ey'obulamu; ajja gye ndi enjala terimuluma, anzikiriza ennyonta terimuluma n'akatono.”#Yok 4:14; 6:48; 7:37 36Naye n'abagamba nti, “mundabye, era temukkirizza.#Yok 6:26,29 37Buli Kitange gw'ampa, alijja gye ndi; ajja gye ndi sirimugobera bweru n'akatono.#Yok 17:6-8, Mat 11:28 38Kubanga saava mu ggulu kukola kye njagala nze, wabula oli eyantuma ky'ayagala.#Yok 4:34, Mat 26:39 39Eyantuma ky'ayagala kino mu bonna be yampa aleme okumbula n'omu naye mmuzuukirize ku lunaku olw'enkomerero.#Yok 10:28,29; 17:12 40Kubanga Kitange ky'ayagala kye kino buli muntu yenna alaba Omwana n'amukkiriza abe n'obulamu obutaggwaawo; nange ndimuzuukiza ku lunaku olw'enkomerero.”#Yok 5:29; 11:24
41Awo Abayudaaya ne bamwemulugunyiza kubanga yagamba nti, “Nze mmere eyava mu ggulu.” 42Ne bagamba nti, “Ono si ye Yesu omwana wa Yusufu, gwe tumanyiiko kitaawe ne nnyina? kaakano agamba atya nti, Nnava mu ggulu?”#Luk 4:22 43Yesu n'addamu n'abagamba nti, “Temwemulugunya mwekka na mwekka. 44Tewali ayinza kujja gye ndi Kitange eyantuma bw'atamuwalula; nange ndimuzuukiriza ku lunaku olw'enkomerero.#Yok 6:65 45Kyawandiikibwa mu bannabbi nti Ne bonna baliyigirizibwa Katonda. Buli eyawulira Kitange n'ayiga, ajja gye ndi.#Is 54:13, Yer 31:33,34 46Si kubanga waliwo omuntu eyali alabye ku Kitange, wabula eyava eri Katonda, oyo ye yalaba Kitange.#Yok 1:18 47Ddala ddala mbagamba nti Akkiriza alina obulamu obutaggwaawo.#Yok 3:16 48Nze mmere ey'obulamu.#Yok 6:35 49Bajjajja bammwe baaliiranga emmaanu mu ddungu, ne bafa.#Yok 6:31,32, 1 Kol 10:3,5 50Eno ye mmere eva mu ggulu, omuntu agiryeko, aleme okufa. 51Nze mmere ennamu eyava mu ggulu: omuntu bw'alya ku mmere eno aliba mulamu emirembe n'emirembe: era emmere gye ndigaba gwe mubiri gwange, olw'obulamu bw'ensi.”#Beb 10:5,10
52Awo Abayudaaya ne bawakana bokka na bokka, nga bagamba nti, “Ono ayinza atya okutuwa omubiri gwe okugulya?”#Yok 6:60 53Awo Yesu n'abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti Bwe mutalya mubiri gwa Mwana wa muntu ne munywa omusaayi gwe, temulina bulamu mu mmwe. 54Alya omubiri gwange, era anywa omusaayi gwange, alina obulamu obutaggwaawo; nange ndimuzuukiriza ku lunaku olw'enkomerero. 55Kubanga omubiri gwange kye ky'okulya ddala, n'omusaayi gwange kye ky'okunywa ddala. 56Alya omubiri gwange, era anywa omusaayi gwange, abeera mu nze, nange mu ye.#Yok 15:4, 1 Yok 3:24; 2:24 57Nga Kitange omulamu bwe yantuma, nange bwe ndi omulamu ku bwa Kitange; bw'atyo andya ye aliba omulamu ku bwange. 58Eno ye mmere eyava mu ggulu, si nga bajjajja bwe baalya ne bafa: alya emmere eno aliba mulamu emirembe n'emirembe.” 59Ebyo yabyogerera mu kkuŋŋaaniro ng'ayigiriza mu Kaperunawumu.
Ebigambo eby'obulamu obutaggwaawo
60Awo bangi ab'omu bayigirizwa be bwe baawulira ne bagamba nti, “Ekigambo ekyo kizibu; ani ayinza okukiwuliriza?” 61Naye Yesu bwe yamanya munda mu ye nti abayigirizwa be beemulugunyiza kino, n'abagamba nti, “Kino kibeesittaza? 62Kale kiriba kitya bwe muliraba Omwana w'omuntu ng'alinnya gye yali olubereberye?#Yok 3:13 63Omwoyo gwe guleeta obulamu; omubiri teguliiko kye gugasa: ebigambo bye mbagambye gwe mwoyo, bwe bulamu.#2 Kol 3:6 64Naye waliwo abalala mu mmwe abatakkiriza.” Kubanga Yesu yamanya okuva ku lubereberye abatakkiriza bwe baali, era n'agenda okumulyamu olukwe bw'ali.#Yok 13:11 65N'agamba nti, “Kyenvudde mbagamba nti Tewali ayinza kujja gye ndi bw'atakiweebwa Kitange.”#Yok 6:44
66Ab'oku bayigirizwa be bangi kyebaava baddirira, ne bataddayo kutambulira wamu naye nate. 67Awo Yesu n'agamba ekkumi n'ababiri (12) nti, “Era nammwe mwagala okugenda?” 68Simooni Peetero n'amuddamu nti, “Mukama waffe, tunaagenda eri ani? Olina ebigambo eby'obulamu obutaggwaawo.#Yok 6:63 69Naffe tukkirizza ne tutegeera nga ggwe oli Mutukuvu wa Katonda.”#Yok 1:49; 11:27, Mat 14:33; 16:16 70Yesu n'abaddamu nti, “Si nze nnabalonda mmwe ekkumi n'ababiri (12)? Naye omu ku mmwe ye Setaani.” 71Yayogera ku Yuda omwana wa Simooni Isukalyoti, kubanga ye yali agenda okumulyamu olukwe, newakubadde yali omu ku kkumi n'ababiri (12).

Айни замон обунашуда:

Yokaana 6: LBR

Лаҳзаҳои махсус

Паҳн кунед

Нусха

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy