1
Makko 16:15
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
LBR
N'abagamba nti, “ Mugende mu nsi zonna, mubuulire Enjiri eri ebitonde byonna.
Муқоиса
Makko 16:15 омӯзед
2
Makko 16:17-18
Era obubonero buno bunaagendanga n'abo abakkiriza: banaagobanga emizimu mu linnya lyange; banaayogeranga ennimi empya; banaakwatanga ku misota, bwe banaanywanga ekintu ekitta, tekiibakolenga kabi n'akatono; banassangako emikono abalwadde, nabo banaawonanga.”
Makko 16:17-18 омӯзед
3
Makko 16:16
Akkiriza n'abatizibwa, alirokoka, naye atakkiriza omusango gulimusinga.
Makko 16:16 омӯзед
4
Makko 16:20
Bali ne bafuluma, ne babuulira wonna wonna, Mukama waffe ng'akoleranga wamu nabo era ng'anyweza ekigambo mu bubonero obwakiddiriranga. Amiina.
Makko 16:20 омӯзед
5
Makko 16:6
N'abagamba nti, “Temuwuniikirira: munoonya Yesu, Omunazaaleesi, eyakomererwa: azuukidde; tali wano: laba, ekifo we baamussa.
Makko 16:6 омӯзед
6
Makko 16:4-5
Awo bwe baatunuulira, ne balaba ejjinja nga liyiringisibbwa ku bbali ate nga lyali ddene nnyo. Awo bwe baayingira mu ntaana, ne balaba omulenzi ng'atudde ku luuyi olwa ddyo, ng'ayambadde olugoye olweru, ne bawuniikirira.
Makko 16:4-5 омӯзед
Асосӣ
Китоби Муқаддас
Нақшаҳо
Видео