1
Lukka 6:38
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
LBR
Mugabenga, nammwe muligabirwa; ekigera ekirungi, ekikkatiddwa, ekisuukundiddwa, eky'omuyiika, kye balibaweera mu kifuba. Kubanga ekigera ekyo kye mugera, nammwe kye muligererwa.”
Муқоиса
Lukka 6:38 омӯзед
2
Lukka 6:45
Omuntu omulungi ekirungi akiggya mu tterekero eddungi ery'omutima gwe; n'omubi ekibi akiggya mu tterekero ebbi: kubanga ku ebyo ebijjula mu mutima akamwa ke bye koogera.”
Lukka 6:45 омӯзед
3
Lukka 6:35
Naye mwagalenga abalabe bammwe mubakolenga bulungi, mwazikenga nga temusuubira kubaddiza; n'empeera yammwe eriba nnyingi, nammwe muliba baana b'Oyo Ali waggulu ennyo: kubanga ye mulungi eri abateebaza n'ababi.
Lukka 6:35 омӯзед
4
Lukka 6:36
Mube n'ekisa, nga Kitammwe bw'alina ekisa.”
Lukka 6:36 омӯзед
5
Lukka 6:37
“Era temusalanga musango, nammwe temulisalirwa: era temusinzanga muntu musango, nammwe temulisinzibwa musango: musonyiwenga, nammwe mulisonyiyibwa
Lukka 6:37 омӯзед
6
Lukka 6:27-28
“Naye mbagamba mmwe abawulira nti: Mwagalenga abalabe bammwe, mukolenga bulungi ababakyawa, musabirenga omukisa ababakolimira, musabirenga ababavuma.
Lukka 6:27-28 омӯзед
7
Lukka 6:31
Era nga bwe mwagala abantu okubakolanga, nammwe mubakolenga bwe mutyo.
Lukka 6:31 омӯзед
8
Lukka 6:29-30
Oyo akukubanga ku ttama omukyusizanga n'eddala; n'akuggyangako omunagiro gwo, n'ekkanzu togimugaananga. Buli akusabanga omuwanga; n'oyo akuggyangako ebintu byo tobimusabanga nate.
Lukka 6:29-30 омӯзед
9
Lukka 6:43
Kubanga tewali muti mulungi ogubala ebibala ebibi, newakubadde omuti omubi ogubala ebibala ebirungi.
Lukka 6:43 омӯзед
10
Lukka 6:44
Kubanga buli muti gutegeererwa ku bibala byagwo. Kubanga tebanoga ttiini ku busaana, so tebanoga zabbibu ku mweramannyo.
Lukka 6:44 омӯзед
Асосӣ
Китоби Муқаддас
Нақшаҳо
Видео