1
Yokaana 6:35
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
LBR
Yesu n'abagamba nti, “Nze mmere ey'obulamu; ajja gye ndi enjala terimuluma, anzikiriza ennyonta terimuluma n'akatono.”
Муқоиса
Yokaana 6:35 омӯзед
2
Yokaana 6:63
Omwoyo gwe guleeta obulamu; omubiri teguliiko kye gugasa: ebigambo bye mbagambye gwe mwoyo, bwe bulamu.
Yokaana 6:63 омӯзед
3
Yokaana 6:27
Temukolereranga kya kulya ekiggwaawo, naye eky'okulya ekirwawo okutuuka ku bulamu obutaggwaawo, Omwana w'omuntu ky'alibawa: kubanga Kitaffe ye Katonda amussizzaako oyo akabonero.”
Yokaana 6:27 омӯзед
4
Yokaana 6:40
Kubanga Kitange ky'ayagala kye kino buli muntu yenna alaba Omwana n'amukkiriza abe n'obulamu obutaggwaawo; nange ndimuzuukiza ku lunaku olw'enkomerero.”
Yokaana 6:40 омӯзед
5
Yokaana 6:29
Yesu n'addamu n'abagamba nti, “Guno gwe mulimu gwa Katonda, okukkiriza oyo gwe yatuma.”
Yokaana 6:29 омӯзед
6
Yokaana 6:37
Buli Kitange gw'ampa, alijja gye ndi; ajja gye ndi sirimugobera bweru n'akatono.
Yokaana 6:37 омӯзед
7
Yokaana 6:68
Simooni Peetero n'amuddamu nti, “Mukama waffe, tunaagenda eri ani? Olina ebigambo eby'obulamu obutaggwaawo.
Yokaana 6:68 омӯзед
8
Yokaana 6:51
Nze mmere ennamu eyava mu ggulu: omuntu bw'alya ku mmere eno aliba mulamu emirembe n'emirembe: era emmere gye ndigaba gwe mubiri gwange, olw'obulamu bw'ensi.”
Yokaana 6:51 омӯзед
9
Yokaana 6:44
Tewali ayinza kujja gye ndi Kitange eyantuma bw'atamuwalula; nange ndimuzuukiriza ku lunaku olw'enkomerero.
Yokaana 6:44 омӯзед
10
Yokaana 6:33
Kubanga emmere ya Katonda ye eyo eva mu ggulu ereetera ensi obulamu.”
Yokaana 6:33 омӯзед
11
Yokaana 6:48
Nze mmere ey'obulamu.
Yokaana 6:48 омӯзед
12
Yokaana 6:11-12
Awo Yesu n'atoola emigaati ne yeebaza; n'agabira bali abaali abatudde; n'ebyennyanja n'akola bw'atyo. Bonna ne bafuna nga bwe baayagala. Bwe bakkuta n'agamba abayigirizwa be nti “Mukuŋŋaanye obukunkumuka obusigaddewo, waleme okusigala akantu.”
Yokaana 6:11-12 омӯзед
13
Yokaana 6:19-20
Awo bwe baamala okuvuga esutadyo ng'abiri mu ttaano (25), oba asatu (30), ne balaba Yesu ng'atambulira ku nnyanja, ng'asemberera eryato; ne batya. Naye n'abagamba nti, “Nze nzuuno, temutya.”
Yokaana 6:19-20 омӯзед
Асосӣ
Китоби Муқаддас
Нақшаҳо
Видео