Awo Yesu bwe yalaba nnyina, n'omuyigirizwa gwe yali ayagala ng'ayimiridde kumpi, n'agamba nnyina nti, “Omukyala, laba, omwana wo!” Oluvannyuma n'agamba omuyigirizwa nti, “Laba nnyoko.”Awo okuva mu ssaawa eyo omuyigirizwa oyo n'atwala nnyina eka ewuwe.