1
Yokaana 14:27
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
LBR
Emirembe mbalekera; emirembe gyange ngibawa: si ng'ensi bw'ewa, nze bwe mbawa. Omutima gwammwe tegweraliikiriranga so tegutyanga.
Муқоиса
Yokaana 14:27 омӯзед
2
Yokaana 14:6
Yesu n'amugamba nti, “Nze kkubo, n'amazima n'obulamu: tewali ajja eri Kitange, wabula ng'ayita mu nze.
Yokaana 14:6 омӯзед
3
Yokaana 14:1
“Omutima gwammwe tegweraliikiriranga: mukkirize Katonda, era nange munzikirize.
Yokaana 14:1 омӯзед
4
Yokaana 14:26
Naye Omubeezi, Omwoyo Omutukuvu, Kitange gw'alituma mu linnya lyange, oyo alibayigiriza byonna, alibajjukiza byonna bye nnabagamba.
Yokaana 14:26 омӯзед
5
Yokaana 14:21
Alina ebiragiro byange, n'abikwata, oyo nga ye anjagala: anjagala anaayagalibwanga Kitange, nange nnaamwagalanga, nnaamulabikiranga.”
Yokaana 14:21 омӯзед
6
Yokaana 14:16-17
Nange ndisaba Kitange, naye alibawa Omubeezi omulala, abeerenga nammwe emirembe n'emirembe. Omwoyo ow'amazima: ensi gw'eteyinza kukkiriza; kubanga temulaba, so temutegeera: mmwe mumutegeera; kubanga abeera gye muli, era anaabanga mu mmwe.
Yokaana 14:16-17 омӯзед
7
Yokaana 14:13-14
Na buli kye munaasabanga mu linnya lyange, ekyo nnaakikolanga, Kitange agulumirizibwenga mu Mwana. Bwe munaasabanga ekigambo mu linnya lyange, ekyo nnaakikolanga.”
Yokaana 14:13-14 омӯзед
8
Yokaana 14:15
“Oba nga munjagala, munaakwatanga ebiragiro byange.
Yokaana 14:15 омӯзед
9
Yokaana 14:2
Mu nnyumba ya Kitange mulimu ebifo bingi eby'okubeeramu. Singa tekiri bwe kityo, nandibagambye; kubanga ŋŋenda okubateekerateekera ekifo.
Yokaana 14:2 омӯзед
10
Yokaana 14:3
Era oba nga ŋŋenda okubateekerateekera ekifo, ndikomawo nate ne mbatwala gye ndi; nze gye ndi, nammwe mubeere eyo.
Yokaana 14:3 омӯзед
11
Yokaana 14:5
Tomasi n'amugamba nti, “Mukama waffe, tetumanyi gy'ogenda; ekkubo tulimanyi tutya?”
Yokaana 14:5 омӯзед
Асосӣ
Китоби Муқаддас
Нақшаҳо
Видео