Era naye kaakano beera n'amaanyi, ayi Zerubbaberi, bw'ayogera Mukama; era beera n'amaanyi, ayi Yosuwa mutabani wa Yekozadaaki kabona asinga obukulu; era mubeere n'amaanyi, mmwe mwenna abantu ab'omu nsi, bw'ayogera Mukama, mukole omulimu, kubanga nze ndi wamu nammwe, bw'ayogera Mukama w'eggye