1
OKUVA E MISIRI 23:25-26
Luganda Bible 2003
LB03
Bwe munaasinzanga Nze Mukama Katonda wammwe, ndibawa omukisa, ne mufuna emmere n'amazzi, era ndibaggyako obulwadde bwammwe bwonna. Mu nsi yammwe tewaliba mukazi avaamu lubuto, oba aliba omugumba, era ndibawangaaza mmwe.
Yenzanisa
Ongorora {{vhesi}}
2
OKUVA E MISIRI 23:20
“Nja kutuma malayika okubakulemberamu, abakuume mu kkubo, abatuuse mu kifo kye nateekateeka.
3
OKUVA E MISIRI 23:22
Naye bwe munaawuliranga ne mukolanga byonna bye ndagira, nnaalwanyisanga abalabe bammwe bonna.
4
OKUVA E MISIRI 23:2-3
Toogobererenga abasinga obungi, bwe bakola ekibi, oba bwe bawa obujulizi obukyamya ensala ey'amazima. Teweekubirenga ku ludda lwa mwavu asinge omusango.
5
OKUVA E MISIRI 23:1
“Toosaasaanyenga bigambo bya bulimba, era tooyambenga muntu mubi, ng'owa obujulizi obw'obulimba.