1
Abaruumi 15:13
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
LBR
Era Katonda ow'okusuubirwa abajjuze mmwe essanyu lyonna n'emirembe olw'okukkiriza, mmwe musukkirirenga mu kusuubira, mu maanyi ag'Omwoyo Omutukuvu.
Yenzanisa
Ongorora {{vhesi}}
2
Abaruumi 15:4
Kubanga byonna ebyawandiikibwa edda, byawandiikibwa kutuyigiriza ffe, bwe tutyo mu kugumiikiriza n'olw'okuzibwamu amaanyi ebyawandiikibwa tubeerenga ne ssuubi.
3
Abaruumi 15:5-6
Era Katonda w'okugumiikiriza n'okusanyusa abawe mmwe okulowoozanga obumu mwekka na mwekka mu ngeri ya Kristo Yesu, mulyoke muwenga ekitiibwa Katonda, Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, n'omwoyo ogumu n'eddoboozi limu.
4
Abaruumi 15:7
Kale musembezaganyenga mwekka na mwekka, nga Kristo bwe yabasembeza mmwe, olw'ekitiibwa kya Katonda.
5
Abaruumi 15:2
Buli muntu mu ffe asanyusenga munne mu bulungi olw'okuzimba.