Matayo 5:29-30
Matayo 5:29-30 LUG68
Oba ng'eriiso lyo erya ddyo likwesittaza, liggyeemu, lisuule wala: kubanga kye kisinga obulungi ekitundu kyo ekimu kizikirire, omubiri gwo gwonna guleme okusuulibwa mu Ggeyeena. Era oba ng'omukono gwo ogwa ddyo gukwesittaza, gutemeko, gusuule wala: kubanga kye kisinga obulungi ekitundu kyo ekimu kizikirire, omubiri gwo gwonna guleme okugenda mu Ggeyeena.



