1
Olubereberye 9:12-13
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
LBR
Katonda era n'agamba nti, “Kano ke kabonero ak'endagaano ey'emirembe n'emirembe, gye nkoze nammwe era na buli kitonde ekiramu ekiri nammwe: ntadde musoke ku bire, abeerenga akabonero ak'endagaano gye nkoze n'ensi.
ႏွိုင္းယွဥ္
Olubereberye 9:12-13ရွာေဖြေလ့လာလိုက္ပါ။
2
Olubereberye 9:16
Musoke bw'anaalabikanga ku bire, nnaamutunuuliranga ne nzijukira endagaano ey'emirembe n'emirembe, nze Katonda gye nkoze n'ebitonde byonna ebiramu ebiri ku nsi.”
Olubereberye 9:16ရွာေဖြေလ့လာလိုက္ပါ။
3
Olubereberye 9:6
Buli anattanga omuntu naye anattibwanga, kubanga omuntu yatondebwa mu kifaananyi kya Katonda.
Olubereberye 9:6ရွာေဖြေလ့လာလိုက္ပါ။
4
Olubereberye 9:1
Katonda n'awa Nuuwa n'abaana be omukisa, n'abagamba nti, “Mwalenga mweyongerenga, mujjuze ensi.
Olubereberye 9:1ရွာေဖြေလ့လာလိုက္ပါ။
5
Olubereberye 9:3
Nga bwe n'abawa ebimera okuba emmere, era mbawadde na buli kiramu ekitambula okuba emmere gye muli; buli kiramu ekitambula kinaabanga kya kulya gye muli.
Olubereberye 9:3ရွာေဖြေလ့လာလိုက္ပါ။
6
Olubereberye 9:2
Ensolo zonna n'ebibuuka mu bbanga na buli kiramu kyonna ekiri mu nnyanja, binaabatyanga. Binaabanga mu buyinza bwammwe.
Olubereberye 9:2ရွာေဖြေလ့လာလိုက္ပါ။
7
Olubereberye 9:7
Naye mmwe muzaale nnyo, mweyongerenga, mujjuze ensi.”
Olubereberye 9:7ရွာေဖြေလ့လာလိုက္ပါ။
ပင္မစာမ်က္ႏွာ
သမၼာက်မ္းစာ
အစီအစဥ္မ်ား
ဗီဒီယိုမ်ား