ABAROOMA 9
9
Okulonda kwa Katonda
1Njogerera ddala mazima mu Kristo, sirimba, n'omwoyo gwange nga gufugibwa mu Mwoyo Mutuukirivu, gukinkakasa 2nti ndi munakuwavu nnyo, era nnina obulumi obutakkiriza mutima gwange kuwummula, 3kubanga nandyagadde nze mwene, nkolimirwe Kristo olwa baganda bange, bwe tuli ab'eggwanga erimu. 4Be Bayisirayeli, abaaweebwa omukisa okuba abaana ba Katonda, era abaaweebwa ekitiibwa, n'endagaano, n'Amateeka, n'engeri ey'okusinzangamu Katonda, era abaasuubizibwa ebirungi.#Laba ne Kuv 9:4 5Bajjajjaabwe, Kristo ng'omuntu be yasibukamu. Katonda afuga byonna, atenderezebwenga emirembe gyonna. Amiina.
6Naye si kwe kugamba nti ebyo Katonda bye yasuubiza byalema okutuukirizibwa. Abayisirayeli bonna si be Bayisirayeli ddala. 7Era abazzukulu ba Aburahamu mu mubiri, si be baana ba Katonda. Wabula kyawandiikibwa nti: “Mu Yisaaka mwe muliva abaliyitibwa abazzukulu bo.”#Laba ne Nta 21:12 8Ekyo kitegeeza nti abo abazaalibwa mu kuzaalibwa okwa bulijjo, si be baana ba Katonda; wabula abo abazaalibwa nga kiva ku kusuubiza kwa Katonda, be babalwa okuba abazzukulu ba Aburahamu abatuufu. 9Katonda bwe yali asuubiza, yagamba nti: “Ndikomawo mu kiseera ekituufu, era Saara aliba alina omwana ow'obulenzi.”#Laba ne Nta 18:10
10Era si ekyo kyokka. N'abaana ba Rebbeeka baalina kitaabwe omu, Yisaaka jjajjaffe. 11-12Naye bwe baali nga tebannaba na kuzaalibwa, era nga tebannabaako kye bakola ekirungi oba ekibi, Katonda n'agamba Rebbeeka nti: “Omukulu ye aliweereza omuto.” Kino kyali bwe kityo, kiryoke kikakase nti Katonda alonda oyo gw'aba ayise, nga tasinziira ku ebyo abantu bye bakola.#Laba ne Nta 25:23 13Nga bwe kyawandiikibwa nti: “Yakobo namwagala, kyokka Esawu ne mmukyawa.”#Laba ne Mal 1:2-3 14Kale tunaagamba tutya? Tunaagamba nti Katonda si mwenkanya? Nedda si bwe kiri, 15kubanga yagamba nti: “Ndisaasira oyo gwe nsaasira, era ndikwatirwa ekisa oyo gwe nkwatirwa ekisa.”#Laba ne Kuv 33:19 16N'olwekyo tekiva ku ebyo omuntu by'ayagala wadde by'akola, wabula ku kusaasira kwa Katonda. 17Ekyawandiikibwa kigamba Faraawo nti: “Nakutuusa ku bukulu, ndyoke njoleseze obuyinza bwange mu ggwe, era mmanyise erinnya lyange mu nsi zonna.”#Laba ne Kuv 9:16 18N'olwekyo Katonda asaasira oyo gw'ayagala okusaasira, era akakanyaza omutima gw'oyo gw'ayagala okukakanyaza omutima.
Obusungu bwa Katonda n'ekisa kye
19Kale onoŋŋamba nti: “Oba nga bwe kityo bwe kiri, lwaki Katonda anenya omuntu? Ani ayinza okuziyiza Katonda ky'ayagala?” 20Naye ggwe omuntu, ddala ggwe ani awakanya Katonda? Ekibumbe kigamba omubumbi nti: “Lwaki wammumba bw'oti?”#Laba ne Yis 29:16; 45:9 21Omubumbi tayinza kukola ky'ayagala mu bbumba lye, ekitole ekimu n'akibumbamu ekibya ekyekitiibwa, n'ekirala ekigayibwa?
22Ne Katonda si ky'ekyo kye yakola? Yayagala okulaga obusungu bwe, n'okumanyisa obuyinza bwe. Kyeyava agumiikiriza ennyo abo be yasunguwalira, abaateekerwateekerwa okuzikirira. 23Era yayagala okulaga ekitiibwa kye ekinene ennyo eri abo be yakwatirwa ekisa, era abo okuva edda be yateekerateekera ekitiibwa. 24Abo ye ffe be yayita, si mu Bayudaaya bokka, wabula ne mu b'amawanga amalala, 25nga bw'agamba mu Kitabo kya Hoseya nti:
“Abataali bantu bange,
ndibayita abantu bange.
Ne gwe nali ssaagala,
ndimuyita mukwano gwange.#Laba ne Hos 2:23
26Mu kifo kyennyini mwe baayitirwa
abatali bantu bange,
mwe baliyitirwa abaana
ba Katonda Nnannyinibulamu.”#Laba ne Hos 1:10
27Ne Yisaaya ayogera ku Yisirayeli n'eddoboozi ery'omwanguka nti: “Abantu ba Yisirayeli ne bwe balyenkana omusenyu gw'ennyanja obungi, ekitundu ekirisigalawo kye kirirokolebwa.#Laba ne Yis 10:22-23 28Mukama talirema kusalawo kutuukiriza mangu kye yagamba okukola ku nsi.” 29Era nga Yisaaya bwe yagamba edda nti: “Singa Mukama Omuyinzawaabyonna teyatulekerawo zzadde, twandibadde nga Gomora.”#Laba ne Yis 1:9
Pawulo by'asabira Abayisirayeli
30Kale tunaagamba tutya? Tunaagamba nti ab'amawanga amalala abataagobereranga butuukirivu, baatuuka ku butuukirivu, kwe kugamba, obutuukirivu obuva mu kukkiriza. 31Naye Abayisirayeli, abaanoonyanga Amateeka ag'okubatuusa ku butuukirivu obwo, tebaagazuula. 32Lwaki? Kubanga tebaabugoberera nga beesigama ku kukkiriza, naye beesigama ku bye bakola, ne beesittala ku jjinja eryo eryesittalwako. 33Nga bwe kyawandiikibwa nti:
“Laba nteeka mu Siyooni
ejjinja eryesittalwako,
olwazi olulibasuula.
Era buli akkiriza oyo,
taliswazibwa.”#Laba ne Yis 28:16
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.