ABAROOMA 6
6
Okuba abalamu mu Kristo
1Kale tunaagamba tutya? Tubeere mu kibi, ekisa kya Katonda kiryoke kyeyongere? 2Nedda, tekisoboka. Ffe abaafa ne twawukanira ddala n'obulamu obw'ekibi, tuyinza tutya okubuddamu? 3Temumanyi nti ffe abaabatizibwa ne twegatta wamu ne Kristo Yesu, twabatizibwa ne twegatta wamu naye mu kufa kwe? 4Bwe twabatizibwa, twaziikibwa wamu naye, ne tugabana ku kufa kwe, bwe tutyo nga Kristo bwe yazuukizibwa obuyinza bwa Kitaawe obwekitiibwa, naffe tubenga mu bulamu obuggya.#Laba ne Bak 2:12
5Kale oba nga twegatta wamu naye mu kufa kwe, era bwe tutyo tulyegatta wamu naye ne mu kuzuukira kwe. 6Tumanyi nti embeera yaffe ey'edda yakomererwa ku musaalaba wamu ne Kristo omubiri ogukola ekibi gulyoke guzikirizibwe, tuleme okuddamu okuba abaddu b'ekibi. 7Omuntu afudde, aba takyafugibwa kibi. 8Naffe, oba nga twafiira wamu ne Kristo, era tukkiriza nti tuliba balamu wamu naye. 9Tumanyi nti nga Kristo bwe yazuukira, takyaddamu kufa, okufa tekukyamufuga. 10Okufa kwe yafa olw'ekibi, yafa omulundi gumu, kyokka kaakano mulamu, nga mulamu eri Katonda. 11Bwe mutyo nammwe musaanye okwebala nti mufudde ne mwawukana n'ekibi, ne muba balamu eri Katonda, nga muli wamu ne Kristo Yesu.
12N'olwekyo temukkirizanga ekibi okuddamu okufuga mu mibiri gyammwe egifa, ne mugondera okwegomba kwagyo okubi. 13Era temuwangayo bitundu bya mibiri gyammwe eri ekibi, okubikozesa mu kwonoona, naye mweweeyo eri Katonda, ng'abantu abavudde mu kufa ne balamuka. Era mweweereyo ddala gy'ali, abakozesenga eby'obutuukirivu. 14Ekibi tekikyabafuga, kubanga Amateeka si ge gabafuga, wabula ekisa kya Katonda.
Tufuuke baddu ba butuukirivu
15Kale tukole ki? Tukole ekibi, kubanga Amateeka si ge gatufuga, wabula ekisa kya Katonda? Nedda, tekisoboka. 16Temumanyi nti ekyo kye mwewa ne mukiwulira ng'abaddu, oba kibi ekireeta okufa, oba obuwulize obuleeta obutuukirivu, muba baddu baakyo? 17Kyokka Katonda yeebazibwe, kubanga mmwe abaali abaddu b'ekibi, mwawulira n'omutima gwammwe gwonna, ebyo ebiri mu njigiriza gye mwaweebwa. 18Kale bwe mwaggyibwa mu kibi, mwafuuka baddu ba Katonda, abagoberera obutuukirivu. 19Njogera ng'abantu obuntu bwe boogera, olw'obunafu bw'engeri mmwe ng'abantu gye mutegeeramu ebintu. Nga bwe mweweerangayo ddala mu bugwagwa ne mu kwonoona, ne mukola ebibi, bwe mutyo ne kaakano mweweereyo ddala mu butuukirivu, mulyoke mutukuzibwe.
20Bwe mwali nga mukyali baddu ba kibi, eby'obutuukirivu byali tebibafuga. 21Kale kalungi ki ke mwaggya mu kukola ebyo ebibakwasa ensonyi kaakano? Ebyo bireeta kufa. 22Naye kaakano nga bwe mwaggyibwa mu kibi ne mufuuka abaddu ba Katonda, kye mufunyeemu kwe kutukuzibwa okubaleetera obulamu obutaggwaawo. 23Empeera y'ekibi kufa, naye ekirabo kya Katonda bwe bulamu obutaggwaawo, bwe tufuna mu Kristo Yesu Mukama waffe.
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.