ABAROOMA 15
15
Okusanyusa abalala
1Ffe ab'amaanyi mu kukkiriza tusaana okuyamba abo abanafu, nga tetwefaako ffekka. 2Buli omu mu ffe alowoozenga ku bulungi bwa muntu munne, alyoke amuzimbenga mu kukkiriza. 3Ne Kristo teyeerowoozaako yekka, wabula, nga bwe kyawandiikibwa, “Abantu bye baakuvuma byadda ku nze.”#Laba ne Zab 69:9 4Byonna ebyawandiikibwa edda byawandiikibwa kutuyigiriza, tulyoke tubeerenga n'essuubi olw'okugumiikiriza n'olw'amaanyi ebyawandiikibwa ge bituwa. 5Era Katonda asibukamu okugumiikiriza era n'amaanyi, abawe okussanga ekimu nga Kristo Yesu bw'ayagala, 6mulyoke mutenderezenga Katonda, Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, n'omwoyo gumu n'eddoboozi limu.
Amawulire Amalungi eri ab'amawanga amalala
7Mwaniriziganenga nga Kristo bwe yabaaniriza mmwe, Katonda alyoke aweebwenga ekitiibwa. 8Ŋŋamba nti Kristo yafuuka omuweereza w'abakomole, okulaga nga Katonda bw'ali omwesigwa, n'okutuukiriza ebyo Katonda bye yasuubiza bajjajjaffe; 9era n'okusobozesa ab'amawanga amalala okutendereza Katonda olw'okusaasira kwe, nga bwe kyawandiikibwa nti:
“Kyennaavanga nkutendereza
mu b'amawanga amalala,
ne nnyimba nga ntenda erinnya lyo.”#Laba ne 2 Sam 22:50; Zab 18:49
10Era ekyawandiikibwa ekirala kigamba nti:
“Mmwe ab'amawanga amalala,
musanyukirenga wamu n'abantu be.”#Laba ne Ma 32:43
11Era nti:
“Mwenna ab'amawanga amalala
mutenderezenga Mukama.
Era abantu bonna
bamutenderezenga.”#Laba ne Zab 117:1
12Era ne Yisaaya agamba nti:
“Omuzzukulu wa Yesse alijja,
alisituka okufuga ab'amawanga amalala.
Era mu ye
mwe muliba essuubi lyabwe.”#Laba ne Yis 11:10
13Katonda asibukamu okusuubira, abajjuze mmwe essanyu lyonna n'emirembe olw'okumukkiriza, mulyoke mweyongerenga okubeera n'essuubi olw'amaanyi ga Mwoyo Mutuukirivu.
Ensonga ewandiikisa Pawulo n'obuvumu
14Baganda bange, nange nze nnyini nkakasiza ddala nti mmwe mujjudde empisa ennungi, mulina okumanya okujjuvu, era muyinza okubuuliriragana. 15Naye mu bitundu ebimu eby'ebbaluwa eno, mbawandiikidde n'obuvumu, nga ndiko bye mbajjukiza. Kino nkikoze, kubanga Katonda yankwatirwa ekisa, 16n'ampa okuba omuweereza wa Kristo Yesu nga nkolera mu b'amawanga amalala. Nkola omulimu ogw'obwakabona, nga ntegeeza abantu Amawulire Amalungi agava eri Katonda, ab'amawanga amalala balyoke babe ekirabo Katonda ky'asiima, nga kitukuziddwa Mwoyo Mutuukirivu.
17N'olwekyo mu Kristo Yesu nnyinza okwenyumiriza olw'omulimu gwe nkoledde Katonda. 18Kubanga siguma kwogera ku kintu na kimu, wabula ku ebyo Kristo bye yakolera mu nze, n'afuula ab'amawanga amalala abawulize eri Katonda, ng'ayita mu ebyo bye nayogera ne bye nakola, 19mu maanyi g'ebyewuunyo n'ebyamagero, ne mu maanyi ga Mwoyo Mutuukirivu. Bwe ntyo okuviira ddala e Yerusaalemu n'okwetooloola okutuuka mu Yilliriko, nategeeza abantu Amawulire Amalungi agafa ku Kristo. 20Kye nduubirira bulijjo, kwe kutegeeza abantu Amawulire Amalungi mu bifo ebyo erinnya lya Kristo gye litawulirwangako, nnemenga okuzimba ku musingi gw'omuntu omulala, 21wabula nga bwe kyawandiikibwa nti:
“Abo abatategeezebwanga
bimufaako balimulaba,
n'abatamuwulirangako balimutegeera.”#Laba ne Yis 52:15
Pawulo ateekateeka okukyalira ab'e Rooma
22Ekyo kye kyanziyiza emirundi emingi okujja gye muli.#Laba ne Bar 1:13 23Naye kaakano nga bwe mmalirizza omulimu gwange mu bitundu bino, era nga bwe mmaze emyaka emingi nga njagala okujja okubalaba, 24bwe ndiba ŋŋenda mu Sipaniya, nsuubira okuyitirako eyo ewammwe mbalabeko okumala ennaku eziwerako. Bwe ndimala okusanyukirako awamu nammwe, njagala munnyambe okutuuka mu Spaniya.
25Naye kaakano ŋŋenda Yerusaalemu okutwalira abantu ba Katonda obuyambi.#Laba ne 1 Kor 16:1-4 26Ab'e Makedooniya n'ab'e Akaya baasiima okuwaayo ku byabwe, okuyamba abantu ba Katonda abaavu, abali e Yerusaalemu. 27Ekyo be baakyesiimira okukikola. Naye era balina ebbanja okuyamba abaavu abo, kubanga ab'amawanga amalala baagabana ku birungi eby'omwoyo eby'Abayudaaya, n'olwekyo basaana nabo okuyamba Abayudaaya mu by'omubiri.#Laba ne 1 Kor 9:11
28Kale bwe ndimaliriza omulimu ogwo, nga mmaze okubakwasa byonna ebibaweerezeddwa bo, ndivaayo ne mpitira ewammwe, nga ŋŋenda e Sipaniya. 29Mmanyi nti bwe ndijja gye muli, ndijja n'emikisa gya Kristo emijjuvu.
30Abooluganda, mbeegayiridde ku bwa Mukama waffe Yesu Kristo, n'olw'okwagala kwa Mwoyo Mutuukirivu, munyiikirire wamu nange okunsabira eri Katonda. 31Munsabire mpone abo abatalina kukkiriza abali mu Buyudaaya, era n'abantu ba Katonda abali mu Yerusaalemu, basiime bye mbatwalira. 32Olwo nga Katonda ayagadde, ndijja gye muli nga nzijudde essanyu, mpummuleko nga ndi wamu nammwe. 33Katonda agaba emirembe abeerenga nammwe mwenna. Amiina.
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.