EBIKOLWA 27
27
Pawulo asaabazibwa okugenda e Rooma
1Awo bwe kyamala okusalibwawo tuyite ku nnyanja okugenda mu Yitaliya, Pawulo n'abasibe abalala ne baweebwayo eri Yuliyo omukulu w'ekibinja ky'abaserikale, ekiyitibwa ekya Agusto. 2Ne tusaabala mu lyato ery'e Aduramitiyo eryali ligenda okuyita ku lubalama lw'Asiya. Ne tuseeyeeya nga tuli ne Arisitaruuko Omumakedooniya ow'e Tessalonika.
3Olunaku olwaddirira ne tugoba e Sidoni. Yuliyo n'ayisa bulungi Pawulo, n'amukkiriza okugenda eri mikwano gye okumulabirira. 4Bwe twavaayo ne tuyita ku mabbali ga Kipuro olw'okwebalama omuyaga ogwali gutuva mu maaso. 5Ne tusala ennyanja ey'e Kilikiya ne Panfiliya, ne tugoba e Miira eky'omu Lukiya. 6Eyo omukulu w'ekibinja ky'abaserikale gye yasanga eryato ery'e Alekisanderiya nga liraga mu Yitaliya, n'atusaabaza omwo. 7Ne tumala ennaku nnyingi nga tugenda tuseeyeeya mpola, okutuusa lwe twatuuka okumpi ne Kuniido nga tuyise mu buzibu. Omuyaga bwe gwatuziyiza okutuukayo, ne tuyita ku mabbali ga Kureete, mu maaso ga Salumooni. 8Ne tuyitira ddala kumpi nakyo nga tutegana, okutuusa lwe twatuuka mu kifo ekiyitibwa Emyalo Emirungi, ekiri okumpi n'ekibuga Lasaya.
9Ennaku nnyingi bwe zaayitawo nga n'olugendo lw'ennyanja lufuuse lwa kabi, kubanga n'ennaku ez'okusiiba zaali ziyise, Pawulo n'abalabula 10ng'agamba nti: “Bassebo, ndaba nti olugendo luno lujja kuba lwa kabi era lujja kuba lwa kufiirwa, si bintu byokka na lyato, wabula n'obulamu bw'abantu.” 11Kyokka omukulu w'abaserikale n'akkiriza omugoba ne nnannyini lyato bye baateesa, okusinga ebyo Pawulo bye yayogera. 12Ate omwalo nga bwe gutaali mulungi kwewogomamu obudde obw'obutiti, ne basiima beeyongereyo, oba kisoboka batuuke e Foyiniiki, omwalo gw'e Kureete ogutunuulira wakati w'ebukiikakkono n'ebuvanjuba, ne wakati w'ebukiikaddyo n'ebuvanjuba.
Omuyaga ku nnyanja
13Empewo eziva mu bukiikaddyo bwe zaatandika okukunta, ne balowooza nti bafunye kye babadde beetaaga, ne basimbula eryato, ne baseeyeeya nga bagenda bayita kumpi ddala n'olubalama lwa Kureete. 14Kyokka waayitawo ebbanga ttono, omuyaga ogw'amaanyi oguva mu bukiikakkono ne gukunta nga guva ku kizinga. 15Eryato ne liremwa okugenda mu maaso gye guva. Bwe lyalemwa, ne tulireka ne litwalibwa omuyaga. 16Ne tutwalibwa ku mabbali g'ekizinga ekiyitibwa Kawuda, ne tuwonya akaato akaali kasibiddwa ku lyato, naye nga tumaze kutegana nnyo. 17Bwe baamala okukalinnyisa, ne bakwata emiguwa ne bagyetoolooza eryato, ne balisiba. Bwe baatya okulemera mu musenyu ogw'e Suriti ne bassa amatanga, ne baleka eryato litwalibwe omuyaga. 18Bwe twategana ennyo n'omuyaga, ku lunaku olwaddirira ne batandika okusuula ebintu ebimu mu nnyanja. 19Ate ku lwaddako ne basuula n'emikono gyabwe ebimu ku bye bavugisa eryato. 20Bwe waayitawo ennaku nnyingi ng'enjuba wadde emmunyeenye tebirabikako era nga n'omuyaga gwe tulimu muyitirivu, essuubi lyonna ery'okuwona ne lituggwaamu. 21Bwe baamala ebbanga eddene nga tebalya, Pawulo n'ayimirira wakati mu bo n'agamba nti: “Bassebo, singa mwampuliriza ne mutava Kureete, okwonoonekerwa kuno n'okufiirwa tekwandibaddewo. 22Kaakano mbasaba mugume omwoyo, kubanga tewali n'omu mu mmwe anaafa, wabula eryato lye lijja okuzikirira, 23kubanga ekiro ekyayise malayika wa Katonda wange gwe mpeereza 24yayimiridde we ndi n'aŋŋamba nti: ‘Pawulo, totya, oteekwa okuyimirira mu maaso ga Kayisaari. Era ku lulwo Katonda ajja kukuuma n'abo bonna abali naawe mu lyato.’ 25Kale bannange mugume emyoyo kubanga neesiga Katonda nga kinaaba bwe kityo nga bw'akiŋŋambye. 26Wabula tujja kusuulibwa ku kizinga.”
27Nga mu ttumbi mu kiro eky'ekkumi n'ebina bwe twali nga tusuukundibwa omuyaga mu nnyanja Adiriya, abavuga eryato ne bateebereza nti tunaatera okusemberera olukalu. 28Bwe baasuula ekipima, ne balaba ng'obuwanvu bw'amazzi buli mita amakumi ana. Ate bwe tweyongerayo mu maaso, ne bapima, ne balaba nga ziri mita amakumi asatu. 29Bwe baatya okutomera olwazi, ne bassa ennanga nnya ku luuyi olw'ekitundu eky'emabega, ne balindirira obudde bukye.
30Abavuga eryato bwe baali bagezaako okudduka bave mu lyato, nga bamaze okussa akaato mu nnyanja nga beefuula ng'abagenda okusuula ennanga ku luuyi olw'ekitundu eky'omu maaso, 31Pawulo n'agamba abaserikale n'omukulu waabwe nti: “Abantu abo bwe bataasigale mu lyato, mmwe temuli ba kuwona.” 32Awo abaserikale ne basala emiguwa gy'akaato, ne bakaleka ne kagenda.
33Bwe bwali bunaatera okukya, Pawulo n'abeegayirira bonna balye ku mmere, ng'agamba nti: “Luno olunaku lwa kkumi na nnya nga mweraliikirira ne mutalya kantu. 34Mbeegayirira mulye, muleme okufa enjala. Era tewali kabi kanaabatuukako.”
35Bwe yamala okwogera ebyo, n'atoola omugaati ne yeebaza Katonda nga bonna balaba, n'agumenyaamenyamu, n'atandika okulya. 36Olwo bonna ne baguma omwoyo, nabo ne balya emmere. 37Ffenna abaali mu lyato, twali abantu ebikumi bibiri mu nsanvu mu mukaaga. 38Bwe baamala okukkuta emmere, ne bateewuluza ku lyato nga basuula eŋŋaano mu nnyanja.
Eryato limenyekamenyeka
39Obudde bwe bwakya enkya, ne batamanya nsi gye batuuseeko, naye ne balaba ekikono ky'ennyanja awali omwalo oguliko omusenyu, ne bateesa bagobye okwo eryato singa kisoboka. 40Ne bakutula ennanga, ne bazireka mu nnyanja, era mu kiseera ekyo, ne basumulula emiguwa gy'enkasi. Era ne bawanika ettanga ery'omu maaso, empewo eryoke eseeyeeyese eryato, ne boolekera olukalu. 41Kyokka bwe baatuuka mu kifo engezi we zisisinkanira, eryato ne litubira mu musenyu. Ekitundu eky'omu maaso ne kiyingira muli ne kinywera, ne kitasobola kunyeenya. Ekitundu eky'emabega ne kitandika okwabika olw'amaanyi g'amayengo.
42Abaserikale ne bateesa okutta abasibe, sikulwa ng'abamu bawuga ne babomba. 43Kyokka omukulu w'abaserikale n'abaziyiza olw'okwagala okuwonya Pawulo. Awo n'alagira abasobola okuwuga be baba basooka okwesuula mu mazzi bawuge batuuke ku lukalu, 44abalala bagoberere nga batwalirwa ku mbaawo ne ku bitundutundu by'eryato. Bwe batyo bonna ne batuuka ku lukalu nga balamu.
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.