EBIKOLWA 16:25-26
EBIKOLWA 16:25-26 LBWD03
Ekiro nga mu ttumbi, Pawulo ne Siila ne beegayirira Katonda era ne bamutendereza mu nnyimba, n'abasibe abalala ne bawulira. Amangwago ne wabaawo okukankana kw'ensi okw'amaanyi, ne kuyuuguumya ekkomera n'emisingi gyalyo. Awo enzigi z'ekkomera zonna ne zeggula, n'enjegere ezaali zisibye abasibe ne zisumulukuka.





