EBIKOLWA 15
15
Olukiiko mu Yerusaalemu
1Awo abantu abamu ne bava e Buyudaaya, ne bajja mu Antiyookiya, ne bayigiriza abooluganda nti: “Bwe mutakomolebwa ng'etteeka lya Musa bwe liragira, temuyinza kulokolebwa.”#Laba ne Leev 12:3 2Pawulo ne Barunaba bwe baawakana ennyo nabo, ne kisalibwawo nti Pawulo ne Barunaba n'abamu ku bakkiriza ab'omu Antiyookiya, bagende e Yerusaalemu eri abatume n'abakulembeze b'abakkiriza, babalabe ku nsonga eyo.
3Awo bwe baamala okusibirirwa ab'ekibiina ky'abakkiriza Kristo, ne bagenda. Ne bayita mu Foyinikiya ne mu Samariya, nga bagenda bannyonnyola ng'ab'amawanga amalala bwe bakyuse ne bakkiriza Katonda. Abooluganda bwe baawulira ebyo, ne basanyuka nnyo.
4Bwe baatuuka e Yerusaalemu, ab'ekibiina ky'abakkiriza Kristo, awamu n'abatume n'abakulembeze b'abakkiriza, ne babaaniriza. Pawulo ne Barunaba ne babategeeza Katonda bye yabakozesa. 5Naye abamu ku bakkiriza ab'omu kibiina ky'Abafarisaayo, ne basituka ne bagamba nti: “Ab'amawanga amalala bateekwa okukomolebwa n'okulagirwa okukwata Amateeka ga Musa.”
6Awo abatume n'abakulu b'abakkiriza ne bakuŋŋaana okwekkaanya ensonga eyo. 7Empaka bwe zaakalambira ennyo, Peetero n'asituka n'agamba nti: “Abooluganda, mumanyi nti mu nnaku ezaayita, Katonda yannonda mu mmwe, ntegeeze ab'amawanga amalala Amawulire Amalungi, balyoke bakkirize.#Laba ne Bik 10:1-43 8Katonda amanyi ebiri mu mitima gy'abantu, yakakasa nga bw'abasiima, bwe yabawa Mwoyo Mutuukirivu nga bwe yamutuwa ffe.#Laba ne Bik 2:4; 10:44 9Yalaga nti ffe nabo, tewali njawulo, kubanga yabasonyiwa ebibi byabwe olw'okukkiriza. 10Kale kaakano lwaki mukema Katonda ng'abakkiriza mubatikka emigugu, bajjajjaffe wadde ffe gye tutaasobola kwetikka? 11Wabula tukkiriza nti tulokolebwa lwa kisa kya Mukama Yesu, era nabo bwe batyo.”
12Awo bonna abaali bakuŋŋaanye, ne basirika, ne bawuliriza Pawulo ne Barunaba nga babategeeza ebyewuunyo n'ebyamagero Katonda bye yabakozesa mu b'amawanga amalala. 13Bwe baamala okwogera, Yakobo n'agamba nti: “Abooluganda, mumpulirize. 14Simooni annyonnyodde nga Katonda bwe yasooka okulaga nti alumirwa ab'amawanga amalala ng'abalondamu okuba ababe ddala. 15Ekyo kitabagana bulungi n'eby'abalanzi, nga bwe kyawandiikibwa nti:
16‘Ebyo bwe biriggwa,
ndidda, ne nzimba
ennyumba ya Dawudi eyagwa.
Ndigizimba mu kifo we yali,
ngizzeewo.#Laba ne Am 9:11-12
17Abantu abalala
n'ab'amawanga amalala bonna,
be nayita okuba abantu bange
balyoke banoonye Mukama.
18Mukama eyamanyisa ekyo
okuva edda n'edda,
bw'atyo bw'agamba.’
19“Kyenva ŋŋamba nti tuleme kuteganya ba mawanga malala abakyuka ne badda eri Katonda. 20Wabula tubawandiikire, tubategeeze baleme kulya kintu na kimu ekiweereddwayo eri balubaale, beewale obwenzi, era baleme kulya nsolo zitugiddwa, wadde okulya omusaayi.#Laba ne Kuv 34:15-17; Leev 17:10-16; 18:6-23 21Okuva edda ebyo ebyawandiikibwa Musa birina ababiyigiriza mu buli kibuga, era bisomebwa mu makuŋŋaaniro buli Sabbaato.”
Ekyasalibwawo Olukiiko
22Awo abatume n'abantu abakulu, awamu n'ekibiina kyonna eky'abakkiriza Kristo, ne basalawo okwerondamu ababaka babatume mu Antiyookiya, bagende wamu ne Pawulo ne Barunaba. Ne balonda Yuda ayitibwa Barusabba, ne Siila, abasajja abakulu mu booluganda. 23Ne babakwasa ebbaluwa egamba nti:
“Ffe baganda bammwe abatume n'abantu abakulu, tubalamusizza mmwe abooluganda abatali Bayudaaya, ab'omu Antiyookiya ne Siriya ne Kilikiya. 24Tuwulidde nti waliwo abamu mu ffe abajja ne babateganya olw'ebigambo bye baabagamba, sso nga ffe tetubatumanga. 25Kyetuvudde tukuŋŋaana, ne tusalawo okulonda n'okubatumira ababaka, bajje gye muli, nga bali n'abaagalwa baffe Barunaba ne Pawulo, 26abantu abaawaayo obulamu bwabwe olw'okuweereza Mukama waffe Yesu Kristo. 27Kale tutumye Yuda ne Siila, bo bennyini bababuulire n'akamwa.
28“Mwoyo Mutuukirivu naffe, tusazeewo obutabatikka mugugu mulala, wabula bino ebitalekeka: 29mwewale okulya bye batambiridde balubaale, era mwewale okulya omusaayi wadde ensolo etugiddwa, era mwewale obwenzi. Bwe muneewala ebintu ebyo, munaaba mukoze bulungi. Mweraba.”
30Awo abaatumibwa ne bagenda mu Antiyookiya, ne bakuŋŋaanya ekibiina ky'abakkiriza Kristo, ne babakwasa ebbaluwa. 31Bwe baagisoma, ne basanyuka olw'ebyagirimu ebyabagumya. 32Yuda ne Siila nga nabo bwe baali abalanzi, ne boogera n'abooluganda ebigambo bingi nga babagumya. 33Bwe baamalayo ebbanga, abooluganda ne babasiibula mirembe, ne baddayo eri abaabatuma. [34Kyokka Siila ye n'asalawo okusigalayo.]#15:34 Ebiwandiiko ebimu eby'edda tebirina lunyiriri luno.
35Pawulo ne Barunaba ne bamala ekiseera mu Antiyookiya ne bannaabwe abalala, nga bategeeza era nga bayigiriza abantu ekigambo kya Mukama.
Pawulo ne Barunaba baawukana
36Ennaku bwe zaayitawo, Pawulo n'agamba Barunaba nti: “Tuddeyo tulambule abooluganda abali mu buli bibuga gye twategeeza abantu ekigambo kya Mukama, tulabe nga bwe bali.” 37Barunaba n'ayagala batwale ne Yowanne Mariko. 38Kyokka Pawulo n'atasiima kugenda na muntu eyabaleka mu Panfiliya, n'atagenda nabo ku mulimu.#Laba ne Bik 13:13 39Ne bawakana nnyo. Bwe baalemwa okukkiriziganya, kwe kwawukana, Barunaba n'agenda ne Mariko, ne basaabala ne balaga e Kipuro. 40Pawulo ye n'alonda Siila, ne bagenda, ng'abooluganda bamaze okubasabira Katonda abayambe. 41N'ayita mu Siriya ne mu Kilikiya, ng'agumya ebibiina by'abakkiriza Kristo.
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.