Olubereberye Ennyanjula

Ennyanjula
Ekitabo kino kiyitibwa ekitabo kya Musa, Olubereberye. Kijjudde ebitundu bingi ebyawandiikibwa abantu abawerako naye ng’omukuŋŋaanya tategeerekeka. Ebiri mu kitabo kino byatandika okukuŋŋaanyizibwa mu kyasa eky’ekkumi n’ebisatu (13) bc, ne bikomekkerezebwa oluvannyuma lw’okuva mu buwaŋŋanguse bw’e Babulooni mu 587 okutuuka 538 bc. Kyogera ku ebyo ebifa ku ggulu n’ensi nga bwe byatondebwa Katonda byonna. Katonda y’asinga okussibwako essira era y’alamula ate n’abonereza n’abo abakola ebibi. Newaakubadde nga Katonda abonereza omuntu olw’ebibi bye, kyokka amusaasira n’amuddiramu. Ekitabo kino kyawulibwamu ebitundu bibiri: ekisooka kiri ku byafaayo ku kutondebwa kw’ensi n’okw’omuntu (Essuula 1–2); ne ku kusobya kw’omuntu n’ekibonerezo kye yafuna ekitwaliramu ne bazzukulu be bonna (Essuula 3–6); ne kyogera ku kusalira ensi omusango okugisinga n’okugibonereza, kwe kuleeta amataba (Essuula 6–7); ate ne kyogera ne ku Mukama okukola endagaano n’omuntu, eddirira ku eri gye yakola ne Adamu (Essuula 8–9). Ekyokubiri kyogera ku byafaayo bya bajjajja, eby’obuweereza bwabwe okutandikira ku Ibulayimu ne kimaliriza ne Yusufu (Essuula 12–50).

하이라이트

공유

복사

None

모든 기기에 하이라이트를 저장하고 싶으신가요? 회원가입 혹은 로그인하세요

YouVersion은 여러분의 경험을 개인화하기 위해 쿠키를 사용합니다. 저희 웹사이트를 사용함으로써 여러분은 저희의 개인 정보 보호 정책에 설명된 쿠키 사용에 동의하게 됩니다