1
ABAROOMA 15:13
Luganda DC Bible 2003
LBwD03
Katonda asibukamu okusuubira, abajjuze mmwe essanyu lyonna n'emirembe olw'okumukkiriza, mulyoke mweyongerenga okubeera n'essuubi olw'amaanyi ga Mwoyo Mutuukirivu.
비교
ABAROOMA 15:13 살펴보기
2
ABAROOMA 15:4
Byonna ebyawandiikibwa edda byawandiikibwa kutuyigiriza, tulyoke tubeerenga n'essuubi olw'okugumiikiriza n'olw'amaanyi ebyawandiikibwa ge bituwa.
ABAROOMA 15:4 살펴보기
3
ABAROOMA 15:5-6
Era Katonda asibukamu okugumiikiriza era n'amaanyi, abawe okussanga ekimu nga Kristo Yesu bw'ayagala, mulyoke mutenderezenga Katonda, Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, n'omwoyo gumu n'eddoboozi limu.
ABAROOMA 15:5-6 살펴보기
4
ABAROOMA 15:7
Mwaniriziganenga nga Kristo bwe yabaaniriza mmwe, Katonda alyoke aweebwenga ekitiibwa.
ABAROOMA 15:7 살펴보기
5
ABAROOMA 15:2
Buli omu mu ffe alowoozenga ku bulungi bwa muntu munne, alyoke amuzimbenga mu kukkiriza.
ABAROOMA 15:2 살펴보기