1
ABAROOMA 12:2
Luganda DC Bible 2003
LBwD03
Empisa zammwe mulemenga kuzifaananya n'ez'abantu ab'ensi, wabula mukyuke, mufune endowooza empya, mulyoke musobole okumanya ebyo Katonda by'ayagala: ebirungi, ebisanyusa, era ebituufu.
비교
ABAROOMA 12:2 살펴보기
2
ABAROOMA 12:1
Kale abooluganda, mbeegayirira olw'okusaasira kwa Katonda, muwengayo emibiri gyammwe eri Katonda, gibe ekitambiro naye nga kiramu, ekitukuvu era ekimusanyusa. Okwo kwe kumusinzanga okw'amazima.
ABAROOMA 12:1 살펴보기
3
ABAROOMA 12:12
Okusuubira kwammwe kubakuumenga nga muli basanyufu. Mugumiikirizenga mu kubonaabona kwammwe, muyimusenga emitima gyammwe eri Katonda bulijjo.
ABAROOMA 12:12 살펴보기
4
ABAROOMA 12:21
Towangulwanga bibi bikukolebwa balala, naye ggwe biwangulenga ng'okola ebirungi.
ABAROOMA 12:21 살펴보기
5
ABAROOMA 12:10
Mwagalanenga ng'abooluganda. Buli omu anyiikirirenga okuwa munne ekitiibwa.
ABAROOMA 12:10 살펴보기
6
ABAROOMA 12:9
Okwagalana kwammwe kubeerenga kwa mazima. Mukyawenga ekibi, munywererenga ku kirungi.
ABAROOMA 12:9 살펴보기
7
ABAROOMA 12:18
Mukolenga kyonna kye musobola okutabagananga n'abantu bonna.
ABAROOMA 12:18 살펴보기
8
ABAROOMA 12:19
Abaagalwa, temuwooleranga ggwanga, naye mulekenga Katonda ye abanga awoolera eggwanga. Mu byawandiikibwa, Mukama agamba nti: “Okuwoolera eggwanga kwange, nze ndisasula.”
ABAROOMA 12:19 살펴보기
9
ABAROOMA 12:11
Mubeerenga banyiikivu, temugayaalanga. Mweweereyo ddala mu kuweereza Mukama.
ABAROOMA 12:11 살펴보기
10
ABAROOMA 12:3
Olw'ekisa Katonda kye yankwatirwa, ŋŋamba buli omu mu mmwe nti tasaanidde kwerowoozaako kiyitiridde, wabula yeerowoozengako mu ngeri esaanira, era yeekeberenga okusinziira ku kipimo ky'okukkiriza, Katonda kwe yamuwa.
ABAROOMA 12:3 살펴보기
11
ABAROOMA 12:17
Omuntu bw'akolanga ekibalumya, mmwe temwesasuzanga. Mukolenga ekyo abantu bonna kye balaba nga kye kirungi.
ABAROOMA 12:17 살펴보기
12
ABAROOMA 12:16
Mussenga kimu mwenna. Temwekulumbazanga.
ABAROOMA 12:16 살펴보기
13
ABAROOMA 12:20
N'olwekyo, era ng'ebyawandiikibwa bwe bigamba: “Omulabe wo bw'alumwanga enjala, omuwanga ekyokulya n'alya, era bw'alumwanga ennyonta omuwanga ekyokunywa n'anywa. Bw'okola bw'otyo, olimuleetera okuwulira ennyo ensonyi.
ABAROOMA 12:20 살펴보기
14
ABAROOMA 12:14-15
Musabenga Katonda awe emikisa abo ababayigganya. Mubasabirenga mikisa, naye mulemenga kubakolimira. Musanyukirenga wamu n'abo abasanyuka; munakuwalirenga wamu n'abo abanakuwala.
ABAROOMA 12:14-15 살펴보기
15
ABAROOMA 12:13
Mutoolenga ku byammwe muwe abantu ba Katonda bye beetaaga. Mwanirizenga abagenyi.
ABAROOMA 12:13 살펴보기
16
ABAROOMA 12:4-5
Kuba nga bwe tulina ebitundu ebingi mu mubiri ogumu, nga byonna tebikola mulimu gumu, naffe bwe tutyo bwe tuli. Newaakubadde tuli bangi, naye tuli omubiri gumu mu Kristo, era tugattibwa wamu ng'ebitundu eby'omubiri ogumu.
ABAROOMA 12:4-5 살펴보기