1
LUKKA 6:38
Luganda DC Bible 2003
LBwD03
Mugabenga, nammwe muligabirwa. Bye mulifuna biribapimirwa mu kipimo ekituufu ekikkatiddwa, ne kisuukundibwa, ne kijjulira ddala ne kibooga. Ekipimo kye mukozesa okupimira abalala, era kye kirikozesebwa okupimira mmwe.”
비교
LUKKA 6:38 살펴보기
2
LUKKA 6:45
“Omuntu omulungi, aggya ku birungi ebiri mu mutima gwe okukola ebirungi, n'omuntu omubi, aggya ku bibi ebiri mu mutima gwe, okukola ebibi. Ebijjula mu mutima gw'omuntu, akamwa ke bye koogera.
LUKKA 6:45 살펴보기
3
LUKKA 6:35
Naye mmwe mwagalenga abalabe bammwe, era mubakolerenga ebirungi. Muwolenga nga temusuubira kusasulwa. Olwo empeera yammwe eriba nnene, era muliba baana ba Katonda Atenkanika, kubanga ye wa kisa eri abatasiima n'ababi.
LUKKA 6:35 살펴보기
4
LUKKA 6:36
Mube ba kisa nga Kitammwe bw'ali ow'ekisa.
LUKKA 6:36 살펴보기
5
LUKKA 6:37
“Temusalanga musango, nammwe tegulibasalirwa. Temusaliranga balala musango kubasinga, nammwe tegulibasalirwa kubasinga. Musonyiwenga, nammwe mulisonyiyibwa.
LUKKA 6:37 살펴보기
6
LUKKA 6:27-28
“Naye abampuliriza mbagamba nti: mwagalenga abalabe bammwe, mukolerenga bulungi ababakyawa. Musabirenga omukisa abo ababakolimira. Ababavuma mubasabirenga eri Katonda.
LUKKA 6:27-28 살펴보기
7
LUKKA 6:31
Mukolerenga abalala ebyo nammwe bye mwagala babakolere.
LUKKA 6:31 살펴보기
8
LUKKA 6:29-30
Omuntu bw'akukubanga ku ttama, omukyusizanga n'eddala. Era omuntu bw'akuggyangako ekkooti yo, omulekeranga n'ekkanzu. Buli abangako ky'akusaba omuwanga, n'oyo akuggyangako ebibyo, tomusabanga kubikuddiza.
LUKKA 6:29-30 살펴보기
9
LUKKA 6:43
“Omuti omulungi tegubala bibala bibi, n'omuti omubi tegubala bibala birungi.
LUKKA 6:43 살펴보기
10
LUKKA 6:44
Buli muti gumanyirwa ku bibala byagwo. Ebibala by'omutiini tebabinoga ku busaana, n'ebibala by'emizabbibu tebabinoga ku kawule.
LUKKA 6:44 살펴보기