1
YOWANNE 10:10
Luganda DC Bible 2003
LBwD03
Omubbi ajjirira kubba, na kutta, na kuzikiriza. Nze najja, abantu balyoke babe n'obulamu, era babe nabwo nga bujjuvu.
비교
YOWANNE 10:10 살펴보기
2
YOWANNE 10:11
“Nze musumba omulungi. Omusumba omulungi awaayo obulamu bwe olw'endiga.
YOWANNE 10:11 살펴보기
3
YOWANNE 10:27
Endiga zange ziwuliriza eddoboozi lyange. Nze nzitegeera, era zingoberera.
YOWANNE 10:27 살펴보기
4
YOWANNE 10:28
Nziwa obulamu obutaggwaawo, era tezirizikirira emirembe n'emirembe. Tewali n'omu ayinza kuzinnyagako.
YOWANNE 10:28 살펴보기
5
YOWANNE 10:9
Nze mulyango. Buli ayingirira mu Nze aliba bulungi. Aliyingira, n'afuluma, n'aliisibwa mu ddundiro.
YOWANNE 10:9 살펴보기
6
YOWANNE 10:14
“Nze musumba omulungi. Ntegeera endiga zange, era n'endiga zange zintegeera.
YOWANNE 10:14 살펴보기
7
YOWANNE 10:29-30
Kitange eyazimpa, ye asinga bonna obuyinza, era tewali ayinza kuzimunyagako. Nze ne Kitange tuli omu.”
YOWANNE 10:29-30 살펴보기
8
YOWANNE 10:15
Nga Kitange bw'antegeera, era nange bwe ntyo bwe ntegeera Kitange, era mpaayo obulamu bwange okukuuma endiga zange.
YOWANNE 10:15 살펴보기
9
YOWANNE 10:18
Tewali abunzigyako, nze mbuwaayo nzennyini. Nnina obuyinza okubuwaayo, era nnina obuyinza okubweddiza. Ekyo Kitange kye yandagira okukola.”
YOWANNE 10:18 살펴보기
10
YOWANNE 10:7
Awo Yesu n'abagamba nti: “Mazima ddala mbagamba nti nze mulyango gw'endiga.
YOWANNE 10:7 살펴보기
11
YOWANNE 10:12
Oyo alundira empeera, atali musumba era atali nnannyini ndiga, bw'alaba omusege nga gujja, endiga azireka n'adduka, omusege ne guzirumba, ne guzisaasaanya.
YOWANNE 10:12 살펴보기
12
YOWANNE 10:1
Yesu n'agamba nti: “Mazima ddala mbagamba nti atayita mu mulyango ng'ayingira mu kisibo ky'endiga, naye n'alinnyira awalala, oyo aba mubbi era munyazi.
YOWANNE 10:1 살펴보기