1
EBIKOLWA 1:8
Luganda DC Bible 2003
LBwD03
Kyokka Mwoyo Mutuukirivu bw'alijja ku mmwe, muliweebwa amaanyi. Era mulimmanyisa mu Yerusaalemu, ne mu Buyudaaya bwonna, ne mu Samariya, n'okutuusiza ddala ensi yonna gy'ekoma.”
비교
EBIKOLWA 1:8 살펴보기
2
EBIKOLWA 1:7
Yesu n'abagamba nti: “Okumanya ebbanga n'ekiseera si kwammwe. Kitange yakuleka mu buyinza bwe.
EBIKOLWA 1:7 살펴보기
3
EBIKOLWA 1:4-5
Era bwe baakuŋŋaana awamu, n'abalagira nti: “Temuva mu Yerusaalemu, wabula mulinde ekirabo Kitange kye yasuubiza, era kye nabagambako.” Yowanne yabatiza na mazzi, kyokka mmwe mu nnaku ntono, mulibatizibwa na Mwoyo Mutuukirivu.
EBIKOLWA 1:4-5 살펴보기
4
EBIKOLWA 1:3
Mu nnaku amakumi ana ng'amaze okubonyaabonyezebwa era n'okuttibwa, yabalabikira emirundi mingi, mu ngeri ezaabakakasiza ddala nti mulamu. Baamulaba, era n'ayogera nabo ku Bwakabaka bwa Katonda.
EBIKOLWA 1:3 살펴보기
5
EBIKOLWA 1:9
Bwe yamala okwogera ebyo, n'atwalibwa mu ggulu nga balaba, ekire ne kimubikka, ne bataddayo kumulaba.
EBIKOLWA 1:9 살펴보기
6
EBIKOLWA 1:10-11
Awo bwe baali nga batunuulira waggulu balabe bw'agenda, abasajja babiri abambadde engoye enjeru, ne bajja ne bayimirira kumpi nabo. Abasajja abo ne babuuza abatume nti: “Abasajja ab'e Galilaaya, lwaki muyimiridde nga mutunuulira waggulu? Oyo Yesu abaggyiddwako n'atwalibwa mu ggulu, alikomawo bw'atyo nga bwe mumulabye ng'agenda mu ggulu.”
EBIKOLWA 1:10-11 살펴보기