Oluvannyuma lw’ennaku nga munaana oba kkumi, Fesuto n’aserengeta mu Kayisaliya, era bwe yatuuka, enkeera n’alagira Pawulo aleetebwe mu mbuga z’amateeka. Awo Pawulo bwe yaleetebwa, Abayudaaya abaava e Yerusaalemi ne baleeta emisango mingi egy’amaanyi bamuvunaane kyokka nga tebayinza kulaga bukakafu bwagyo.