Ekyamateeka Olwokubiri 31
31
Ebisembayo ebya Musa
(31:1—34:12)
Yoswa asikira Musa
1Awo Musa n'agenda n'abuulira Isiraeri yenna ebigambo ebyo. 2N'abagamba nti, “Kaakano mpeza emyaka kikumi mu abiri (120); sikyasobola kubakulembera; era Mukama yaŋŋamba nti, ‘Tojja kusomoka Mugga guno Yoludaani.’#Kuv 7:7, Kubal 20:12; 27:17, Ma 3:27 3Mukama Katonda wammwe y'alibakulembera okusomoka; alizikiriza amawanga ago ne mugawangula nga mulaba, era Yoswa y'alibakulembera okusomoka, nga Mukama bwe yayogera.#Kubal 27:18,21, Ma 9:3 4Era Mukama aliwangula abantu abo nga bwe yawangula Sikoni ne Ogi, bakabaka ba b'Abamoli, n'ensi zaabwe.#Kubal 21:23,24,33-35 5Abantu abo Mukama alibagabula gye muli, ne mubazikiririza ddala nga bwe nnabalagira.#Ma 7:2 6Mubeere n'amaanyi, mugume omwoyo, temutya so temubatekemukira; kubanga Mukama Katonda wammwe ye nnyini ye aligenda nammwe; taabalekenga so taabaabulirenga.#Ma 20:4; 31:23, Yos 1:5,6,9; 10:25, 1 Byom 22:13; 28:20 7Awo Musa n'ayita Yoswa n'amugamba mu maaso ga Isiraeri yenna nti, Beera n'amaanyi, guma omwoyo; kubanga ggwe olikulembera abantu bano okugenda mu nsi Mukama gye yalayirira bajjajjaabwe okubawa; era ggwe olibasobozesa okugisikira.#Kubal 27:23 8Era Mukama yennyini abakulembera; anaabeeranga naawe, taakulekenga so taakwabulirenga; totya so totekemuka.”#Ma 31:6, Yos 1:9
Amateeka okusomebwanga buli myaka musanvu
9Awo Musa n'awandiika amateeka ago n'agakwasa bakabona abaana ba Leevi, abaasitulanga essanduuko ey'endagaano ya Mukama, wamu n'abakadde bonna aba Isiraeri.#Kubal 4:15, Yos 3:3 10Musa n'abalagira ng'ayogera nti, “Buli myaka musanvu bwe ginaggwangako, mu kiseera ekyateekebwawo eky'omwaka eky'okusonyiwa n'okusumululiramu ku mbaga Ey'ensiisira;#Leev 23:34, Ma 15:1 11Abaisiraeri bonna nga bazze mu maaso ga Mukama Katonda wammwe mu kifo ky'alyeroboza, onoobasomeranga amateeka gano bagawulire.#Ma 16:16, Yos 8:34, 2 Bassek 23:2, Nek 8:1-3 12Okuŋŋaanyanga abantu bonna, abasajja n'abakazi n'abaana abato, ne bannamawanga abali mu bibuga byo, bagawulire era bagayige, era batye Mukama Katonda wammwe, era bagonderenga ebigambo bino byonna amateeka gano bye galagira; 13era abaana baabwe abatannayiga mateeka, bawulire era bayige okutyanga Mukama Katonda waabwe, ennaku zonna ze mulimala nga muli mu nsi gye mugenda okutuulamu nga musomose Omugga Yoludaani.”#Ma 4:10
Ebigambo ebyasembayo Mukama bye yalagira Musa
14Mukama n'agamba Musa nti, “Laba, ennaku zo ez'okufa zisembedde; yita Yoswa, mweyanjule mu weema ey'okusisinkanirangamu, ndyoke mmulagire.” Awo Musa ne Yoswa ne bagenda ne beeyanjula mu Weema ey'okusisinkanirangamu. 15Awo Mukama n'alabikira mu weema mu mpagi y'ekire: empagi y'ekire n'eyimirira waggulu w'oluggi lw'eweema.#Kuv 33:9, Kubal 12:5 16Mukama n'agamba Musa nti, “Onootera okufa weegatte ku bajjajjaabo. Abantu bano tebaliba beesigwa gye ndi era balimenya endagaano gye nnakola nabo. Balindekawo ne basinza bakatonda ab'omu nsi gye bagenda okubeerangamu.#Kuv 34:15,16, Ma 32:15, Yos 23:16, Balam 2:20 17Mu kiseera ekyo obusungu bwange ne bulyoka bubabuubuukirako, nange ndibaabulira ne mbekweeka ne bazikirira, balituukibwako ebizibu bingi n'okubonaabona kungi. Olwo lwe balitegeera nti ebizibu ebyo bibatuuseeko kubanga nze Mukama Katonda waabwe nnabaabulira.#Kubal 14:42, Ma 32:20, Balam 6:13, 2 Byom 15:2, Zab 104:29, Is 8:17, Ez 39:23 18Era ndibakisiza ddala amaaso gange olw'ebibi byonna bye baliba bakoze, kubanga bakyukidde bakatonda abalala. 19Kale nno kaakano, wandiika oluyimba luno oluyigirize abaana ba Isiraeri, balukwate lubeerenga omujulirwa gyebali.#Ma 32:1-43 20Kubanga bwe ndiba mbayingizza mu nsi gye nnalayirira bajjajjaabwe, ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki; era bwe balirya ne bakkuta, ne bagejja; balikyukira bakatonda abalala, ne babaweereza, ne banyooma nze, era ne bamenya endagaano yange.#Kubal 14:11,23, Ma 32:15, Nek 9:25, Yer 5:28, Kos 13:16 21Bwe banaabanga batuukibbwako akabi n'okubonaabona okungi, oluyimba luno lunaayimbibwanga, ne luba omujulizi abalumiriza, ne bazzukulu baabwe tebaalwerabirenga. Ne kaakano, wadde nga sinnabatwala mu nsi gye nnabalayirira okubawa, mmanyi kye balowooza okukola.” 22Awo Musa n'awandiika oluyimba luno ku lunaku olwo, n'aluyigiriza abaana ba Isiraeri. 23Mukama n'alagira Yoswa omwana wa Nuuni ng'ayogera nti, “Beera n'amaanyi, guma omwoyo; kubanga ggwe olituusa abaana ba Isiraeri mu nsi gye nnabalayirira; nange n'abeeranga wamu naawe.”#Ma 31:6,8,14
24Awo olwatuuka, Musa bwe yamalira ddala okuwandiika ebigambo eby'amateeka gano mu kitabo,#Ma 31:9 25Musa n'alagira Abaleevi, abaasitulanga essanduuko y'endagaano ya Mukama ng'ayogera nti, 26“Muddire ekitabo kino eky'amateeka, mukiteeke ku mabbali g'essanduuko y'endagaano ya Mukama Katonda wammwe, kibeerenga omujulirwa gye muli.#2 Bassek 22:8, 2 Byom 34:14,15 27Mmanyi obujeemu n'obukakanyavu bwammwe, kubanga ne bwembadde nammwe nga nkyali mulamu mubadde mujeemera Mukama; kale temulyeyongera nnyo okumujeemera nga mmaze okufa”#Ma 9:6,7, Zab 78:8 28Musa n'alagira Abaleevi ng'agamba nti, “Munkuŋŋaanyize abakadde n'abakulu b'ebika, n'abaami bammwe bonna ndyoke njogere ebigambo bino nga bawulira, era nkoowoola eggulu n'ensi okuba abajulirwa gyebali.#Luk 11:8, Bik 17:26 29Kubanga mmanyi nga bwe ndimala okufa, balyefuulira ddala babi, ne bagaana okukola bye mbalagidde. Era gye bujja, balituukibwako ebizibu, kubanga baliba basunguwazizza Mukama nga bakola by'alaba nga bibi.”#Balam 2:19, 2 Bassek 22:17, Yer 44:23, Kos 9:9
Oluyimba lwa Musa
30Musa n'ayogera ebigambo by'oluyimba luno lwonna ng'abaana ba Isiraeri bonna bawulira.
Attualmente Selezionati:
Ekyamateeka Olwokubiri 31: LBR
Evidenzia
Copia
Confronta
Condividi
Vuoi avere le tue evidenziazioni salvate su tutti i tuoi dispositivi?Iscriviti o accedi
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.