Ekyamateeka Olwokubiri 30
30
Isiraeri okukomezebwawo n'okuweebwa omukisa
1Ebyo byonna eby'omukisa n'ekikolimo bye nkugambye, bwe birimala okukutuukako n'obijjukiriranga mu mawanga gonna Mukama Katonda wo gy'aliba akusaasaanyirizza;#Ma 11:26-28, 1 Bassek 8:47, Luk 15:17 2n'okomawo ggwe n'abaana bo eri Mukama Katonda wo, n'omutima gwo gwonna, n'emmeeme yo yonna, n'ogondera eddoboozi lye nga byonna bwe biri bye nkulagira leero;#Nek 1:9, Bar 10:8 3awo Mukama Katonda wo n'alyoka akyusa okunyagibwa kwo, n'akusaasira, n'akomawo n'akukuŋŋaanya okukuggya mu mawanga gonna gye yakusaasaanyiriza.#Ma 28:64, Zab 126:1,4, Yer 29:14; 32:37 4Ne bw'oliba ng'osaasaanidde mu nsonda ez'ensi ez'ewala, Mukama Katonda wo alikukuŋŋaanyaayo n'akukomyawo, 5era Mukama Katonda wo alikukomyawo mu nsi gye yawa bajjajjaabo n'oddamu n'ogituulamu; era alikukola bulungi, alikwaza okusinga bajjajjaabo. 6Era Mukama Katonda wo aligonza omutima gwo n'ogw'ezadde lyo omwagalenga n'omutima gwo gwonna, n'emmeeme yo yonna, olyoke obe omulamu.#Ma 6:5; 10:16, Ez 11:19 7Mukama Katonda wo aliteeka ebikolimo ebyo byonna ku balabe bo, ne ku abo abaakukyawa era, abaakuyigganyanga. 8Era olikomawo n'ogondera eddoboozi lya Mukama, n'otuukiriza ebiragiro bye byonna, bye nkulagira leero. 9Mukama Katonda wo anaakuwanga omukisa mu byonna by'okola, olizaala abaana bangi n'ensolo zo ne zeyongera okwala era n'obaza ebirime. Mukama aliddamu okukusanyukira, nnaakuwa ggwe omukisa nga bwe yasanyukiranga bajjajjaabo;#Ma 28:11,63 10kasita oligondera eddoboozi lya Mukama Katonda wo, neweekuumanga ebiragiro bye n'amateeka ge ebiwandiikiddwa mu kitabo kino eky'amateeka; era n'ogondera Mukama Katonda wo n'omutima gwo gwonna n'emmeeme yo yonna.
11Kubanga ekiragiro kino kye mbawa leero si kizibu nnyo okukyekuuma era tekiri wala.#Is 45:19 12Tekiri mu ggulu olyoke oyogere nti, Ani anaatulinnyirayo akituleetere, atusobozese okukiwulira tulyoke tukyekuume?#Bar 10:6,7 13So tekiri mitala w'ennyanja n'okwogera n'oyogera nti Ani alituwungukira ennyanja, akituleetere, atusobozese okukiwulira tulyoke tukyekuume? 14Naye ekigambo kikuli kumpi nnyo, mu kamwa ko ne mu mutima gwo olyoke okituukirizenga.#Bar 10:8
15Laba, leero ntadde mu maaso go obulamu n'obulungi, okufa n'obubi;#Ma 11:26 16kubanga nkulagira leero okwagalanga Mukama Katonda wo, okutambuliranga mu makubo ge, n'okwekuumanga ebiragiro bye n'amateeka ge, olyoke obenga omulamu ozaalenga oyalenga era Mukama Katonda wo alyoke akuwenga omukisa mu nsi gy'ogenda okutuulamu. 17Naye omutima gwo bwe gunaakyamanga n'ogaana okuwulira, naye n'osendebwasendebwanga n'osinzanga bakatonda abalala n'obaweerezanga; 18mbategeereza ddala leero nga temulirema kuzikirira; temuliwangaalira mu nsi gye mugenda okutuulamu nga mumaze okusomoka Yoludaani.#Ma 4:26 19Mpita eggulu n'ensi okuba abajulirwa gye muli leero, nga ntadde mu maaso go obulamu n'okufa, omukisa n'okukolimirwa; kale londa obulamu, olyoke obenga omulamu, ggwe n'ezzadde lyo. 20Yagalanga Mukama Katonda wo, ogonderenga eddoboozi lye, wegattenga naye; kubanga oyo bwe bulamu bwo, era kwe kuwangaalakwo; olyoke otuulenga mu nsi Mukama gye yalayirira okuwa bajjajjaabo: Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo.#Ma 1:8; 10:20, Zab 27:1; 66:10
Attualmente Selezionati:
Ekyamateeka Olwokubiri 30: LBR
Evidenzia
Copia
Confronta
Condividi
Vuoi avere le tue evidenziazioni salvate su tutti i tuoi dispositivi?Iscriviti o accedi
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.