Ekyamateeka Olwokubiri 27
27
Ekitundu ekyokusatu eky'okwogera kwa Musa: Ayogera ku mikisa n'ebikolimo
(27:1—28:68)
Amateeka ga Katonda okuwandiikibwa ku mayinja
1Awo Musa n'abakadde ba Isiraeri, ne balagira abantu, nga boogera nti, “Mwekuumenga ebiragiro byonna bye mbalagira leero. 2Ku lunaku lwe mulisomoka Yoludaani okuyingira mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawa, mulyesimbira amayinja amanene ne mugasiigako ennoni.#Yos 4:1 3Bwe mulimala okusomoka, muliwandiika ku mayinja ago ebigambo byonna eby'amateeka gano, ne mulyoka muyingira mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawa, ensi ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki, nga Mukama Katonda wa bajjajjammwe bwe yabasuubiza.#Yos 8:32, Ma 19:14 4Bwe mulisomoka Yoludaani, ne mulyoka musimba amayinja gano ge mbalagira leero, ku lusozi Ebali, ne mugasiigako ennoni.#Ma 11:29, Yos 8:30 5Era mulizimbira Mukama Katonda wammwe, ekyoto eky'amayinja agatatemeddwa na kyuma. 6Ekyoto kya Mukama Katonda wammwe munaakizimbyanga amayinja agatali mateme; era okwo kwe munaaweerangayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama Katonda wammwe; 7era munaasalanga ebiweebwayo olw'emirembe, ne mubiriira eyo, ne musanyukira mu maasa ga Mukama Katonda wammwe. 8Ebigambo byonna eby'amateeka gano mubiwandiikiranga ddala bulungi ku mayinja ago.”
9Awo Musa ne bakabona Abaleevi ne bagamba Isiraeri yenna nti, “Musirike, muwulire, ggwe Isiraeri; leero ofuuse eggwanga lya Mukama Katonda wo. 10Kyonoovanga ogondera eddoboozi lya Mukama Katonda wo, n'okolanga ebiragiro bye n'amateeka ge, bye nkulagira leero.”
Ebikolimo ku bujeemu
11Awo Musa n'akuutira abantu ku lunaku olwo, ng'ayogera nti, 12“Bwe mulisomoka Yoludaani, Ebika bino bye biriyimirira ku lusozi Gerizimu okusabira abantu omukisa: ekya Simyoni, ekya Leevi, ekya Yuda, ekya Isakaali, ekya Yusufu n'ekya Benyamini.#Ma 11:29, Yos 8:33 13Era bino bye bika ebiriyimirira ku lusozi Ebali okukolima: ekya Lewubeeni, ekya Gaadi, ekya Aseri, ekya Zebbulooni, ekya Ddaani n'ekya Nafutaali. 14Abaleevi balyogera ebigambo bino byonna eri abasajja bonna aba Isiraeri n'eddoboozi eddene nti,#Ma 33:10 15‘Omuntu akola ekifaananyi ekyole, ekibajje oba ekisaanuuse, eky'omuzizo eri Mukama, n'akiteekawo n'akisinza akolimirwe.’ ” Abantu bonna baddemu nti Amiina.#Kuv 20:4; 34:17, Kubal 5:22, 1 Byom 16:36, Yer 11:5
16“Omuntu anyooma kitaawe oba nnyina, akolimirwe.” Abantu bonna ne bagamba nti Amiina.#Kuv 20:12; 21:17
17“Omuntu ajjulula ensalo ya muliraanwa we, akolimire.” Abantu bonna baddemu nti Amiina.#Ma 19:14
18“Omuntu awabya omuzibe w'amaaso okumujja mu kkubo ettuufu, akolimirwe.” Abantu bonna baddemu nti Amiina.#Leev 19:4
19“Omuntu asaliriza munnaggwanga, mulekwa ne nnamwandu, akolimirwe.” Abantu bonna baddemu nti Amiina.#Yos 8:30, Kuv 22:21,22
20“Buli musajja asobya ku muka kitaawe, akolimirwe.” Abantu bonna baddemu nti Amiina.#Leev 18:8, Ma 22:30, 1 Kol 5:1
21“Omuntu eyeegatta n'ensolo yonna, akolimirwe.” Abantu bonna baddemu nti Amiina.#Kuv 22:19
22“Omusajja asobya ku mwannyina, omwana wa kitaawe oba owa nnyina akolimirwe.” Abantu bonnna baddemu nti Amiina.#Leev 18:9
23“Omuntu yenna asula ne nnyazaala we akolimirwe.” Abantu bonna baddemu nti Amiina.#Leev 20:14
24“Omuntu yenna atemula muliraanwa we akolimirwe.” Abantu bonna baddemu nti Amiina.#Kuv 21:14, Ma 19:11
25“Omuntu yenna agulirirwa okutta omuntu ataliiko musango, akolimirwe.” Abantu bonna baddemu nti Amiina.#Kuv 23:7, Ma 16:19, Zab 15:5, Ez 22:12
26“Buli muntu yenna atakwata bigambo by'amateeka gano okubituukiriza akolimirwe.” Abantu bonna baddemu nti Amiina.#Yer 11:3, Bag 3:10
Attualmente Selezionati:
Ekyamateeka Olwokubiri 27: LBR
Evidenzia
Copia
Confronta
Condividi
Vuoi avere le tue evidenziazioni salvate su tutti i tuoi dispositivi?Iscriviti o accedi
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.