Logo YouVersion
Icona Cerca

Ekyamateeka Olwokubiri 26

26
Ebiweebwayo eby'amakungula
1“Bwe mulimala okuyingira mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawa okuba obutaka, era nga mukkalidde; 2Buli muntu anaatoolanga ku bibereberye by'ebibala byonna eby'ettaka, by'aliggya mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawadde; n'abiteeka mu kibbo, n'abitwala mu kifo Mukama Katonda wammwe ky'alyeroboza okumusinzizangamu.#Kuv 23:19, Kubal 15:20; 18:13, Ma 12:5, Nge 3:9 3Aligenda eri kabona alibaawo mu kiseera ekyo, n'amugamba nti, ‘Kaakano nkakasa Mukama Katonda wange nti nnyingidde mu nsi Mukama gye yalayirira bajjajjaffe okugituwa.’ 4Kale kabona aliggya ekibbo mu mikono gye, n'akissa wansi mu maaso g'ekyoto kya Mukama Katonda we. 5Naye aliddamu n'ayogera mu maaso ga Mukama Katonda we nti, ‘Bajjajjaffe Abasuuli baali batambuze era abagenyi mu Misiri, bwe batuula eyo, abaali abatono ne bayala, ne bafuuka eggwanga eddene ery'amaanyi.#Lub 28:5; 43:1,2; 46:27, Ma 10:22 6Abamisiri ne batukola bubi, ne batubonyaabonya, ne batukaluubiriza obulamu;#Kuv 1:11,14; 24:7 7ne tukoowoola Mukama Katonda wa bajjajjaffe, Mukama n'awulira eddoboozi lyaffe, n'alaba okubonaabona kwaffe, n'okutegana kwaffe, n'okujoogebwa kwaffe:#Kuv 2:23-25; 3:9 8Mukama n'atuggya mu Misiri n'omukono gwe ogw'amaanyi ogwagololwa, n'entiisa ennyingi, n'obubonero n'eby'amagero;#Kuv 12:37,51, Ma 4:34 9n'atuyingiza mu kifo kino, n'atuwa ensi eno, ensi ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki.#Kuv 3:8 10Era kaakano nzuuno ndeese bye nsoose okukungula mu ttaka lye wampa ayi Mukama.’ ”
“Awo anaabiteekanga mu maaso ga Mukama Katonda we, n'amusinza. 11Onoosanyukanga olw'ebirungi byonna Mukama Katonda wo by'akuwadde ggwe, n'ab'omunnyumba yo, n'Abaleevi era ne bannamawanga ababeera nammwe.”#Ma 12:7,12
12“Buli mwaka ogwokusatu munaatoolanga ekimu eky'ekkumi eky'ebikungulwa byonna eby'omwaka ogwo, ne mukiwa Abaleevi, bannamawanga, bamulekwa, ne bannamwandu bakiriire mu nnyumba zammwe bakkute;#Leev 27:30, Kubal 18:24, Ma 14:28,29 13Olwo onooyogeranga mu maaso ga Mukama Katonda wo nti, ‘Ebintu ebyatukuzibwa mbiggye mu nnyumba yange, era mbiwadde Abaleevi, bannamawanga, bamulekwa, ne bannamwandu; ng'ekiragiro kyo kyonna bwe kiri kye wandagira, sirina kye nsobezzaako oba kye nneerabidde.#Zab 119:141,153,176 14Ne mukukungubaga kwange sikiryangako, so sikiggyanga mu nnyumba yange mu nnaku zange ez'obutali bulongoofu era sikiwongerangako bafu, naye ŋŋondedde eddoboozi lya Mukama Katonda wange, ne nkola byonna bye wandagira nga bwe biri.#Leev 7:20, Yer 16:7, Kos 9:4 15Kale tunula ng'osiinziira mu ggulu, mu kifo kyo ekitukuvu mw'otuula, ow'e omukisa abantu bo Isiraeri, n'ettaka ly'otuwadde, nga bwe wasuubiza bajjajjaffe okutuwa ensi ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki.’ ”#Is 63:15, Zek 2:13
16“Leero Mukama Katonda wo akulagira okukwatanga amateeka gano n'ebiragiro; kyonoovanga obyekuuma n'obituukiriza, n'omutima gwo gwonna n'emmeeme yo yonna. 17Oyatudde leero Mukama nga ye Katonda wo, era ng'onootambuliranga mu makubo ge, ne weekuumanga amateeka ge n'ebiragiro bye n'ogonderanga eddoboozi lye,#Kuv 24:7 18era Mukama ayatudde n'akukakasa leero, ggwe okubeeranga eggwanga ery'envuma gy'ali, nga bwe yakusuubiza, era weekuumenga ebiragiro bye byonna;#Kuv 6:7; 19:5, Ma 7:6; 14:2, 2 Sam 7:24 19era anaakugulumizanga okusinga amawanga gonna ge yakola, olyoke oweese erinnya lye ekitiibwa n'ettendo; era on'obeerenga eggwanga ettukuvu eri Mukama Katonda wo, nga bwe yayogera.”#Leev 20:26, Ma 7:6; 28:1,9, Yer 2:3

Attualmente Selezionati:

Ekyamateeka Olwokubiri 26: LBR

Evidenzia

Copia

Confronta

Condividi

None

Vuoi avere le tue evidenziazioni salvate su tutti i tuoi dispositivi?Iscriviti o accedi