1
Okuva 6:6
Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
EEEE
“Noolwekyo tegeeza abaana ba Isirayiri nti, ‘Nze MUKAMA. Ndibatikkulako emigugu gy’Abamisiri, era ndibawonya obuddu, ne mbanunula n’omukono gwange ogw’amaanyi nga nsalira Abamisiri omusango.
Comparar
Explorar Okuva 6:6
2
Okuva 6:7
Ndibafuula abantu bange, era nnaabeeranga Katonda wammwe, era mulitegeera nga nze MUKAMA Katonda wammwe abawonyezza ebizibu by’Abamisiri.
Explorar Okuva 6:7
3
Okuva 6:8-9
Ndibaleeta mu nsi gye nalayira okuwa Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo; ndigibawa n’efuuka yammwe. Nze MUKAMA.’ ” Musa n’ategeeza abaana ba Isirayiri ebigambo ebyo. Naye tebaamuwuliriza, kubanga emitima gyali gibennyise, nga n’okutuntuzibwa kubayitiridde.
Explorar Okuva 6:8-9
4
Okuva 6:1
Awo MUKAMA n’addamu Musa nti, “Kaakano ojja kulaba kye nnaakola Falaawo. Kubanga alibaleka ne bagenda olw’amaanyi, era olw’amaanyi alibagoba mu nsi ye.”
Explorar Okuva 6:1