MATAYO Ennyanjula
Ennyanjula
Amawulire Amalungi aga Yesu Kristo nga bwe gaawandiikibwa Matayo, gatubuulira nga Yesu ye Mulokozi Omusuubize, Katonda gwe yayitamu okutuukiriza ebyo byonna Ye Katonda bye yasuubiza abantu be mu Ndagaano Enkadde. Amawulire gano Amalungi si ga Bayudaaya bokka Yesu be yazaalibwamu era be yabeeramu, wabula ga bantu bonna ku nsi.
Amawulire Amalungi agaawandiikibwa Matayo, kitabo ekitereezeddwa obulungi. Kisookera ku bifa ku kuzaalibwa kwa Yesu, ne kittottola okubatizibwa kwe n'okukemebwa kwe, ne kiryoka kyogera ku mulimu gwe yakola mu Galilaaya okubuulira abantu Ekigambo kya Katonda, okuyigiriza abantu n'okubawonya endwadde ezaali zibaluma. Ebyo bwe biggwa, Amawulire Amalungi agaawandiikibwa Matayo ne googera ku lugendo lwa Yesu okuva e Galilaaya okujja mu Yerusaalemu, n'ebyo ebyaliwo mu wiiki eyasembayo mu bulamu bwa Yesu ku nsi. Wiiki eyo ye yalimu okubonaabona kwe, okuttibwa kwe ng'akomererwa ku musaalaba, okuziikibwa kwe, era n'okuzuukira kwe.
Amawulire Amalungi agaawandiikibwa Matayo galaga Yesu nga ye Muyigiriza Omukulu alina obuyinza okunnyonnyola Amateeka ga Katonda, era ayigiriza ebifa ku bwakabaka bwa Katonda. Enjigiriza ye okutwalira awamu, egenda esengeka ebintu kinnakimu, era eyinza okwawulwamu ebitundu ebikulu bitaano:
(1) Okuyigiriza kwe ng'ali ku Lusozi ng'alaga empisa abantu ab'omu Bwakabaka ze basaanidde okubeera nazo, bye basaanidde okukola, ebirungi bye bafuna, era ng'alaga ebyo byonna gye biribatuusa (Emitwe 5-7).
(2) Okutendeka abayigirizwa be Ekkumi n'Ababiri ng'abatendeka okubatuma (Omutwe 10).
(3) Engero ezoogera ku Bwakabaka obw'omu ggulu (omutwe 13).
(4) Okuyigiriza amakulu g'omuntu okuba omuyigirizwa (Omutwe 18).
(5) Okuyigiriza ebifa ku nkomerero y'omulembe oguliwo, n'ebifa ku Bwakabaka obw'omu ggulu obugenda okujja (emitwe 24-25),
Ebiri mu kitabo kino mu bufunze
Olulyo lwa Yesu Kristo n'okuzaalibwa kwe 1:1–2:23
Omulimu gwa Yowanne Omubatiza 3:1-12
Okubatizibwa n'okukemebwa kwa Yesu 3:13–4:11
Emirimu Yesu gye yakola olwatu mu Galilaaya 4:12–18:35
Okuva e Galilaaya okugenda e Yerusaalemu 19:1–20:34
Wiiki eyasembayo mu Yerusaalemu ne ku miriraano gyakyo 21:1–27:66
Okuzuukira kwa Yesu n'okulabika kwe mu bantu ng'amaze okuzuukira 28:1-20
Currently Selected:
MATAYO Ennyanjula: LB03
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.

: