OKUBALA 9
9
Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako ey'omulundi ogwokubiri
1Mu mwezi ogusooka mu mwaka ogwokubiri ng'Abayisirayeli bavudde mu nsi y'e Misiri, Mukama n'ayogera ne Musa mu Ddungu ly'e Sinaayi ng'agamba nti:#Laba ne Kuv 12:1-13 2“Abayisirayeli era bategeke Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako, ebeerewo mu biseera byayo ebyalagirwa. 3Ku lunaku olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi guno, akawungeezi, mugitegeke ebeerewo mu biseera byayo ebyalagirwa, nga mugoberera amateeka gaayo gonna n'obulombolombo bwayo bwonna.” 4Musa n'agamba Abayisirayeli okutegeka Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako. 5Ne bagitegeka n'ebaawo mu Ddungu ly'e Sinaayi, akawungeezi, ku lunaku olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi ogusooka, nga bagoberera byonna Mukama bye yalagira Musa.
Abalemesebwa okutegeka Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako
6Naye ne wabaawo abantu abataali balongoofu kubanga baali bakutte ku mufu, ne batayinza ku lunaku olwo kukola mikolo gya Mbaga Ejjuukirirwako Okuyitako. Ne bajja mu maaso ga Musa ne Arooni ku lunaku olwo, 7ne bagamba nti: “Tetuli balongoofu, kubanga twakutte ku mufu. Naye tuyinza okukkirizibwa okuweerayo awamu ne Bayisirayeli bannaffe ekitone eri Mukama, mu biseera byakyo ebyalagirwa?” 8Musa n'abaddamu nti: “Musooke mulindeko mmale okuwulira Mukama ky'anaalagira ku mmwe.” 9Mukama n'agamba Musa 10agambe Abayisirayeli nti: “Abamu mu mmwe, oba mu bazzukulu bammwe, bwe bataabenga balongoofu olw'okukwata ku mufu, oba bwe banaabeeranga mu lugendo ewala, banaayinzanga okuwaayo eri Mukama ekitambiro eky'Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako. 11Banaakiwangayo mu mwezi ogwokubiri, akawungeezi, ku lunaku olw'ekkumi n'ennya. Banaakiriirangako migaati egitazimbulukusiddwa, n'enva endiirwa ezikaawa.
12“Tebaabengako kye basigazaawo okutuuka enkeera, era ensolo gye basse okulya, tebaagimenyenga ggumba na limu. Banaakuumanga amateeka gonna ag'Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako, ne bagatuukiriza.#Laba ne Kuv 12:46; Yow 19:36 13Naye omulongoofu era nga tali mu lugendo, anaalemwanga okuwaayo ekitambiro eky'Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako anaaboolebwanga mu bantu be, kubanga tawadde Mukama kitone mu kiseera kyakyo ekyalagirwa. Omuntu oyo anaavunaanibwanga olw'ebibi bye.
14“Era omugwira abeera mu mmwe anaayagalanga okuwaayo eri Mukama ekitambiro eky'Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako, anaatuukirizanga etteeka ly'embaga eyo era n'obulombolombo bwayo. Etteeka eryo linaabanga lye limu ku mugwira ne ku muzaaliranwa.”
Ekire eky'omuliro
(Laba ne Kuv 40:34-38)
15Ku lunaku Eweema Entukuvu, Eweema ey'Okusisinkanirangamu Mukama, lwe yasimbibwa, ekire ne kigibikka. Okuva akawungeezi, ekire ne kiba ng'omuliro okutuusiza ddala ku makya. 16Bwe kityo bwe kyabanga bulijjo. Ekire kyagibikkanga emisana, ate ekiro ne kifaanana ng'omuliro. 17Ekire buli lwe kyaggyibwanga ku Weema, Abayisirayeli ne batandika okutambula. Mu kifo we kyayimiriranga, awo we baasiisiranga. 18Abayisirayeli baatambulanga nga Mukama amaze kubalagira, era baasiisiranga ng'amaze kubalagira. Ekiseera kyonna ekire kye kyabeeranga ku Weema Entukuvu, baasigalanga mu lusiisira. 19Era ekire bwe kyamalanga ennaku ennyingi nga kiri ku Weema Entukuvu, Abayisirayeli baagonderanga ekiragiro kya Mukama, ne batatambula. 20Oluusi ekire kyamalanga ennaku ntono ku Weema Entukuvu. Era nabo baagonderanga ekiragiro kya Mukama, ne basigala mu lusiisira. Bwe yabalagiranga okutambula, nga batambula. 21Era oluusi ekire kyabangawo okuva akawungeezi okutuusa ku makya. Bwe kyaggyibwangawo ku makya, ne batambula. Oba bwe kyabangawo emisana n'ekiro, era kyamalanga kuggyibwawo ne balyoka batambula. 22Ekire ne bwe kyamalanga ku Weema Entukuvu ennaku ebbiri, oba omwezi, oba okusingawo, Abayisirayeli nga basigala mu lusiisira, ne batatambula. Naye bwe kyaggyibwangawo, nga batambula. 23Baasiisiranga, era baatambulanga, nga bakolera ku kiragiro kya Mukama, kye yabawanga ng'ayita mu Musa.
Currently Selected:
OKUBALA 9: LB03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.