OKUBALA 8
8
Okutereeza ettaala
1Mukama n'agamba Musa nti:#Laba ne Kuv 25:31-40; 37:17-24 2“Bw'onoobanga oteeka ettaala, ettaala omusanvu, ku kikondo kyazo, onoozitereezanga zimulise ebbanga eriri mu maaso g'ekikondo kyazo.” 3Arooni n'akola bw'atyo, n'atereeza ettaala ne zimulisa ebbanga eriri mu maaso g'ekikondo kyazo, nga Mukama bwe yalagira Musa. 4Ekikondo kyali kiweeseddwa, nga kyonna kya zaabu okuva ku kikolo kyakyo, okutuuka ku matabi gaakyo. Kyali kiweeseddwa okufaananira ddala ekyokulabirako Mukama kye yalaga Musa.
Abaleevi bawongerwa Mukama
5Mukama n'agamba Musa nti: 6“Yawula Abaleevi mu Bayisirayeli abalala, obatukuze. 7Onoobatukuza bw'oti: onoobamansirako amazzi agaateekebwawo okunaazangako ebibi, beemwe omubiri gwonna, era booze engoye zaabwe, beetukuze. 8Ebyo nga biwedde, batwale ente emu ennume envubuka wamu n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke ekigenderako, bwe buwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi, era obutabuddwamu omuzigo ogw'emizayiti. Naawe otwale ente endala ennume envubuka, eneeba ekiweebwayo olw'ebibi. 9Olwo onookuŋŋaanya ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli, n'oleeta Abaleevi mu maaso g'Eweema ey'Okunsisinkanirangamu. 10Ng'omaze okuleeta Abaleevi mu maaso gange, Abayisirayeli ne balyoka bateeka emikono ku Baleevi abo, 11Arooni n'abampongera babe bange mu ngeri ey'enjawulo, ekitone ekivudde mu Bayisirayeli, Abaleevi bafuuke abaweereza bange. 12Abaleevi banaateeka emikono gyabwe ku mitwe gy'ente, oziweeyo gyendi Nze Mukama: emu ebe ekiweebwayo olw'ebibi, n'eyookubiri, ebe ekiweebwayo ekyokebwa okusonyiyisa Abaleevi ebibi.
13“Abaleevi onoobateekawo baweerezenga Arooni ne batabani be, era onoobampongera Nze Mukama, babe bange mu ngeri ey'enjawulo. 14Bw'otyo bw'onoyawula Abaleevi mu Bayisirayeli abalala, Abaleevi babe bange. 15Ng'omaze okubatukuza n'okubampongera babe bange mu ngeri ey'enjawulo, Abaleevi banaasaanira okukolanga ogw'obuweereza mu Weema Ey'Okunsisinkanirangamu, 16kubanga bampeereddwa mu butongole okuva mu Bayisirayeli abalala. Mbeerobozezza babe bange mu kifo ky'abaggulanda ab'obulenzi b'Abayisirayeli abalala bonna. 17Abaggulanda bonna ab'obulenzi mu Bayisirayeli, bange, era na buli nsolo y'Abayisirayeli esooka okuzaalibwa, yange. Nabeeyawulira ku lunaku lwe nattirako abaggulanda bonna ab'obulenzi mu nsi y'e Misiri.#Laba ne Kuv 13:2 18Kaakano Abaleevi be ntutte mu kifo ky'abaggulanda bonna ab'obulenzi mu Bayisirayeli. 19Nzigye Abaleevi mu Bayisirayeli abalala bonna, ne mbawaayo eri Arooni ne batabani be ng'ekirabo, bakolerenga Abayisirayeli omulimu gw'obuweereza mu Weema Ey'Okunsisinkanirangamu, era bawonyenga Abayisirayeli akabi akandibatuusengako singa basemberera Ekifo Ekitukuvu.”
20Musa ne Arooni n'ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli bwe batyo bwe baakola ku Baleevi. Baatuukiriza byonna Mukama bye yalagira Musa okukola ku Baleevi. 21Abaleevi ne beetukuza, ne booza engoye zaabwe; Arooni n'abawonga eri Mukama, babeere babe mu ngeri ey'enjawulo, era n'akola omukolo ogw'okubasonyiyisa ebibi, n'abatukuza. 22Abayisirayeli ne bakola byonna Mukama bye yalagira Musa okukola ku Baleevi. Ebyo bwe byaggwa, Abaleevi ne basaanira okukolanga omulimu gw'obuweereza mu Weema ey'Okusisinkanirangamu Mukama, nga balabirirwa Arooni ne batabani be.
23Mukama n'ayogera ne Musa ng'agamba nti: 24“Lino lye tteeka ku Baleevi: Abawezezza emyaka amakumi abiri mu etaano n'okusingawo, be banaakolanga omulimu ogw'obuweereza mu Weema Ey'Okunsisinkanirangamu. 25Naye bwe banaawezanga emyaka amakumi ataano, banaalekeranga awo okukola omulimu gw'obuweereza, ne bawummula. 26Banaayinzanga okuyamba ku Baleevi bannaabwe, nga babalagirira okutuukiriza omulimu gwabwe ogw'obuweereza mu Weema Ey'Okunsisinkanirangamu, naye bo tebaakolenga mulimu. Bw'otyo bw'onootegeka Abaleevi okutuukirizanga omulimu gwabwe.”
Currently Selected:
OKUBALA 8: LB03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.