YouVersion Logo
Search Icon

OKUBALA 7

7
Ebyaweebwayo abakulembeze
1Ku lunaku Musa lwe yamalirako okusimba Eweema Entukuvu, yagifukako omuzigo, n'agiwongera Mukama, awamu n'ebintu byonna ebikozesebwa mu yo. Era ne alutaari yagifukako omuzigo, n'agiwongera Mukama, awamu n'ebintu byonna ebikozesebwa ku yo. 2Awo abakulembeze ba Yisirayeli abakulu b'ennyumba za bajjajjaabwe, ne batona. Be baali abakulu b'ebika, era be baakulira okubala abantu. 3Ne baleeta ekitone kyabwe mu maaso ga Mukama. Baaleeta amagaali mukaaga amabikkeko, nga buli bakulembeze babiri baleese eggaali limu ate nga buli mukulembeze aleese ente emu. Ne babyanjula mu maaso g'Eweema Entukuvu. 4Mukama n'agamba Musa nti: 5“Baggyeeko bye batonye, bikozesebwenga emirimu egy'okuweereza mu Weema Ey'Okunsisinkanirangamu. Era onoobikwasa Abaleevi, okusinziira ku ebyo buli bamu bye beetaaga okukozesa.” 6Musa n'addira amagaali n'ente, n'abikwasa Abaleevi. 7Amagaali abiri n'ente nnya, n'abikwasa Abagerusooni, ng'asinziira ku mulimu gwe baalina okukola. 8N'amagaali ana n'ente munaana n'abikwasa Abamerari, ng'asinziira ku mulimu gwe baalina okukola, nga bonna balabirirwa Yitamaari mutabani wa Arooni kabona. 9Naye bo Abakohati teyabawa, kubanga ebintu ebitukuvu bye baaweebwa okulabiriranga, baabisituliranga ku bibegabega byabwe.
10Abakulembeze era ne baleeta ebitone olw'okuwonga alutaari ku lunaku lwe yafukibwako omuzigo, ne babiwaayo mu maaso ga alutaari. 11Mukama n'agamba Musa nti: “Olw'okuwonga alutaari, baleete ebitone byabwe buli mukulembeze ku lunaku lulwe.”
12Eyaleeta ekitone kye ku lunaku olusooka yali Nahusooni mutabani wa Amminadabu ow'omu Kika kya Yuda. 13Ekitone kye kyali olusaniya lumu olwa ffeeza, oluzitowa kilo nga emu n'ekitundu; ebbakuli emu eya ffeeza ekozesebwa mu kumansira, ezitowa gulaamu nga lunaana mu bipimo eby'omu Kifo Ekitukuvu, byombi nga bijjudde obuwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi era obutabuddwamu omuzigo, okuba ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke; 14ekijiiko ekinene kimu ekya zaabu ekya gulaamu nga kikumi mu kkumi, ekijjudde obubaane; 15ente ennume envubuka emu, endiga ennume emu, endiga ento ennume emu ey'omwaka ogumu, okuba ekiweebwayo ekyokebwa, 16embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ebibi; 17n'eby'ekitambiro ekiweebwayo olw'okutabagana: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n'endiga ento ennume ttaano ez'omwaka ogumu. Ekyo kye kitone Nahusooni mutabani wa Amminadabu kye yawaayo.
18Ku lunaku olwokubiri, Netaneeli mutabani wa Zuwari era omukulu w'Ekika kya Yissakaari, n'awaayo. 19Bye yawaayo okuba ekitone kye byali olusaniya lumu olwa ffeeza, oluzitowa kilo nga emu n'ekitundu; ebbakuli emu eya ffeeza ekozesebwa mu kumansira, ezitowa gulaamu nga lunaana mu bipimo eby'omu Kifo Ekitukuvu, byombi nga bijjudde obuwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi era obutabuddwamu omuzigo, okuba ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke; 20ekijiiko ekinene kimu ekya zaabu ekya gulaamu nga kikumi mu kkumi, ekijjudde obubaane; 21ente ennume envubuka emu, endiga ennume emu, endiga ento ennume emu ey'omwaka ogumu, okuba ekiweebwayo ekyokebwa; 22embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ebibi, 23n'eby'ekitambiro ekiweebwayo olw'okutabagana: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n'endiga ento ennume ttaano ez'omwaka ogumu. Ekyo kye kitone Netaneeli mutabani wa Zuwari kye yawaayo.
24Ku lunaku olwokusatu, Eliyaabu mutabani wa Heloni era omukulu w'Ekika kya Zebbulooni, n'awaayo. 25Ekitone kye kyali olusaniya lumu olwa ffeeza, oluzitowa kilo nga emu n'ekitundu; ebbakuli emu eya ffeeza ekozesebwa mu kumansira, ezitowa gulaamu nga lunaana mu bipimo eby'omu Kifo Ekitukuvu, byombi nga bijjudde obuwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi era obutabuddwamu omuzigo, okuba ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke; 26ekijiiko ekinene kimu ekya zaabu ekya gulaamu nga kikumi mu kkumi, ekijjudde obubaane; 27ente ennume envubuka emu, endiga ennume emu, endiga ento ennume emu ey'omwaka ogumu, okuba ekiweebwayo ekyokebwa; 28embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ebibi; 29n'eby'ekitambiro ekiweebwayo olw'okutabagana: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n'endiga ento ennume ttaano ez'omwaka ogumu. Ekyo kye kitone Eliyaabu mutabani wa Heloni kye yawaayo.
30Ku lunaku olwokuna, Elizuuri mutabani wa Sedewuri era omukulu w'Ekika kya Rewubeeni, n'awaayo. 31Ekitone kye kyali olusaniya lumu olwa ffeeza, oluzitowa kilo nga emu n'ekitundu; ebbakuli emu eya ffeeza ekozesebwa mu kumansira, ezitowa gulaamu nga lunaana mu bipimo eby'omu Kifo Ekitukuvu, byombi nga bijjudde obuwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi era obutabuddwamu omuzigo, okuba ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke; 32ekijiiko ekinene kimu ekya zaabu ekya gulaamu nga kikumi mu kkumi, ekijjudde obubaane; 33ente ennume envubuka emu, endiga ennume emu, endiga ento ennume emu ey'omwaka ogumu, okuba ekiweebwayo ekyokebwa; 34embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ebibi; 35n'eby'ekitambiro ekiweebwayo olw'okutabagana: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n'endiga ento ennume ttaano ez'omwaka ogumu. Ekyo kye kitone Elizuuri mutabani wa Sedewuri kye yawaayo.
36Ku lunaku olwokutaano, Selumiyeeli mutabani wa Zurisaddayi era omukulu w'Ekika kya Simyoni, n'awaayo. 37Ekitone kye kyali olusaniya lumu olwa ffeeza, oluzitowa kilo nga emu n'ekitundu; ebbakuli emu eya ffeeza ekozesebwa mu kumansira, ezitowa gulaamu nga lunaana mu bipimo eby'omu Kifo Ekitukuvu, byombi nga bijjudde obuwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi era obutabuddwamu omuzigo, okuba ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke; 38ekijiiko ekinene kimu ekya zaabu ekya gulaamu nga kikumi mu kkumi, ekijjudde obubaane; 39ente ennume envubuka emu, endiga ennume emu, endiga ento ennume emu ey'omwaka ogumu, okuba ekiweebwayo ekyokebwa; 40embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ebibi; 41n'eby'ekitambiro ekiweebwayo olw'okutabagana: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n'endiga ento ennume ttaano ez'omwaka ogumu. Ekyo kye kitone Selumiyeeli mutabani wa Zurisaddayi kye yawaayo.
42Ku lunaku olw'omukaaga, Eliyasaafu mutabani wa Deweli, era omukulu w'Ekika kya Gaadi, n'awaayo. 43Ekitone kye kyali olusaniya lumu olwa ffeeza, oluzitowa kilo nga emu n'ekitundu; ebbakuli emu eya ffeeza ekozesebwa mu kumansira, ezitowa gulaamu nga lunaana mu bipimo eby'omu Kifo Ekitukuvu, byombi nga bijjudde obuwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi era obutabuddwamu omuzigo, okuba ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke; 44ekijiiko ekinene kimu ekya zaabu ekya gulaamu nga kikumi mu kkumi, ekijjudde obubaane; 45ente ennume envubuka emu, endiga ennume emu, endiga ento ennume emu ey'omwaka ogumu, okuba ekiweebwayo ekyokebwa; 46embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ebibi; 47n'eby'ekitambiro ekiweebwayo olw'okutabagana: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n'endiga ento ennume ttaano ez'omwaka ogumu. Ekyo kye kitone Eliyasaafu mutabani wa Deweli kye yawaayo.
48Ku lunaku olw'omusanvu, Elisaama mutabani wa Ammihudi, era omukulu w'Ekika kya Efurayimu, n'awaayo. 49Ekitone kye kyali olusaniya lumu olwa ffeeza, oluzitowa kilo nga emu n'ekitundu, ebbakuli emu eya ffeeza ekozesebwa mu kumansira, ezitowa gulaamu nga lunaana mu bipimo eby'omu Kifo Ekitukuvu, byombi nga bijjudde obuwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi era obutabuddwamu omuzigo, okuba ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke; 50ekijiiko ekinene kimu ekya zaabu ekya gulaamu nga kikumi mu kkumi ekijjudde obubaane; 51ente ennume envubuka emu, endiga ennume emu, endiga ento ennume emu ey'omwaka ogumu, okuba ekiweebwayo ekyokebwa; 52embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ebibi; 53n'eby'ekitambiro ekiweebwayo olw'okutabagana: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n'endiga ento ennume ttaano ez'omwaka ogumu. Ekyo kye kitone Elisaama mutabani wa Ammihudi kye yawaayo.
54Ku lunaku olw'omunaana, Gamaliyeeli mutabani wa Pedazuuri, era omukulu w'Ekika kya Manasse, n'awaayo. 55Ekitone kye kyali olusaniya lumu olwa ffeeza, oluzitowa kilo nga emu n'ekitundu; ebbakuli emu eya ffeeza ekozesebwa mu kumansira, ezitowa gulaamu nga lunaana mu bipimo eby'omu Kifo Ekitukuvu, byombi nga bijjudde obuwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi era obutabuddwamu omuzigo, okuba ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke; 56ekijiiko ekinene kimu ekya zaabu ekya gulaamu nga kikumi mu kkumi, ekijjudde obubaane; 57ente ennume envubuka emu, endiga ennume emu, endiga ento ennume emu ey'omwaka ogumu, okuba ekiweebwayo ekyokebwa; 58embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ebibi; 59n'eby'ekitambiro ekiweebwayo olw'okutabagana: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n'endiga ento ennume ttaano ez'omwaka ogumu. Ekyo kye kitone Gamaliyeeli mutabani wa Pedazuuri kye yawaayo.
60Ku lunaku olw'omwenda, Abidaani mutabani wa Gidiyoni, era omukulu w'Ekika kya Benyamiini, n'awaayo. 61Ekitone kye kyali olusaniya lumu olwa ffeeza, oluzitowa kilo nga emu n'ekitundu; ebbakuli emu eya ffeeza ekozesebwa mu kumansira, ezitowa gulaamu nga lunaana mu bipimo eby'omu Kifo Ekitukuvu, byombi nga bijjudde obuwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi era obutabuddwamu omuzigo, okuba ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke; 62ekijiiko ekinene kimu ekya zaabu ekya gulaamu nga kikumi mu kkumi, ekijjudde obubaane; 63ente ennume envubuka emu, endiga ennume emu, endiga ento ennume emu ey'omwaka ogumu, okuba ekiweebwayo ekyokebwa; 64embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ebibi; 65n'eby'ekitambiro ekiweebwayo olw'okutabagana: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n'endiga ento ennume ttaano ez'omwaka ogumu. Ekyo kye kitone Abidaani mutabani wa Gidiyoni kye yawaayo.
66Ku lunaku olw'ekkumi, Ahiyezeri mutabani wa Ammisaddayi, era omukulu w'Ekika kya Daani, n'awaayo. 67Ekitone kye kyali olusaniya lumu olwa ffeeza, oluzitowa kilo nga emu n'ekitundu; ebbakuli emu eya ffeeza ekozesebwa mu kumansira, ezitowa gulaamu nga lunaana mu bipimo eby'omu Kifo Ekitukuvu, byombi nga bijjudde obuwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi era obutabuddwamu omuzigo, okuba ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke; 68ekijiiko ekinene kimu ekya zaabu ekya gulaamu nga kikumi mu kkumi, ekijjudde obubaane; 69ente ennume envubuka emu, endiga ennume emu, endiga ento ennume emu ey'omwaka ogumu, okuba ekiweebwayo ekyokebwa; 70embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ebibi; 71n'eby'ekitambiro ekiweebwayo olw'okutabagana: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n'endiga ento ennume ttaano ez'omwaka ogumu. Ekyo kye kitone Ahiyezeri mutabani wa Ammisaddayi kye yawaayo.
72Ku lunaku olw'ekkumi n'olumu, Pagiyeeli mutabani wa Okuraani, era omukulu w'Ekika kya Aseri, n'awaayo. 73Ekitone kye kyali olusaniya lumu olwa ffeeza, oluzitowa kilo nga emu n'ekitundu; ebbakuli emu eya ffeeza ekozesebwa mu kumansira, ezitowa gulaamu nga lunaana mu bipimo eby'omu Kifo Ekitukuvu, byombi nga bijjudde obuwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi era obutabuddwamu omuzigo, okuba ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke; 74ekijiiko ekinene kimu ekya zaabu ekya gulaamu nga kikumi mu kkumi, ekijjudde obubaane; 75ente ennume envubuka emu, endiga ennume emu, endiga ento ennume emu ey'omwaka ogumu, okuba ekiweebwayo ekyokebwa; 76embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ebibi; 77n'eby'ekitambiro ekiweebwayo olw'okutabagana: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n'endiga ento ennume ttaano ez'omwaka ogumu. Ekyo kye kitone Pagiyeeli mutabani wa Okuraani kye yawaayo.
78Ku lunaku olw'ekkumi n'ebbiri, Ahira mutabani wa Enani, era omukulu w'Ekika kya Nafutaali, n'awaayo. 79Ekitone kye kyali olusaniya lumu olwa ffeeza, oluzitowa kilo nga emu n'ekitundu; ebbakuli emu eya ffeeza ekozesebwa mu kumansira, ezitowa gulaamu nga lunaana mu bipimo eby'omu Kifo Ekitukuvu, byombi nga bijjudde obuwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi era obutabuddwamu omuzigo, okuba ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke; 80ekijiiko ekinene kimu ekya zaabu ekya gulaamu nga kikumi mu kkumi, ekijjudde obubaane; 81ente ennume envubuka emu, endiga ennume emu, endiga ento ennume emu ey'omwaka ogumu, okuba ekiweebwayo ekyokebwa; 82embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ebibi; 83n'eby'ekitambiro ekiweebwayo olw'okutabagana: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n'endiga ento ennume ttaano ez'omwaka ogumu. Ekyo kye kitone Ahira mutabani wa Enani kye yawaayo.
84Bino bye bitone ebyaweebwayo abakulembeze ba Yisirayeli olw'okuwonga alutaari, ku lunaku lwe yafukibwako omuzigo: ensaniya kkumi na bbiri eza ffeeza; ebbakuli kkumi na bbiri eza ffeeza ezikozesebwa mu kumansira; n'ebijiiko ebinene kkumi na bibiri ebya zaabu. 85Buli lusaniya olwa ffeeza nga luzitowa kilo ng'emu n'ekitundu, na buli bbakuli ng'ezitowa gulaamu nga lunaana. Ebintu byonna ebya ffeeza byaweza obuzito bwa kilo amakumi abiri mu musanvu ne gulaamu nga lukaaga, mu kipimo eky'omu Kifo Ekitukuvu. 86Ebijiiko ebinene byali kkumi na bibiri ebya zaabu ebijjudde obubaane, nga buli kimu kya gulaamu nga kikumi mu kkumi, mu kipimo eky'omu Kifo Ekitukuvu. Ebijiiko byonna ebinene ebya zaabu, byaweza obuzito bwa kilo emu ne gulaamu nga bisatu mu abiri. 87Ensolo zonna ez'ekiweebwayo ekyokebwa, zaali ente ennume kkumi na bbiri, endiga ennume kkumi na bbiri, endiga ento ennume ez'omwaka ogumu kkumi na bbiri, awamu n'ebiweebwayo eby'emmere ey'empeke ebigenderako; era n'embuzi ennume kkumi na bbiri ez'ekiweebwayo olw'ebibi. 88Ate ensolo zonna ez'ekiweebwayo olw'okutabagana, zaali ente amakumi abiri mu nnya, endiga ennume nkaaga, embuzi ennume nkaaga, n'endiga ento ennume ez'omwaka ogumu, nkaaga. Ebyo bye bitone bye baawaayo okuwonga alutaari ng'emaze okufukibwako omuzigo.
89Musa bwe yayingira mu Weema Ey'Okusisinkanirangamu Mukama okwogera ne Mukama, n'awulira eddoboozi ery'oyo ayogera naye ng'asinziira waggulu w'entebe ey'obusaasizi eyali ku Ssanduuko ey'Endagaano, wakati wa bakerubi bombi. N'ayogera naye.

Currently Selected:

OKUBALA 7: LB03

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in