OKUBALA 6
6
Amateeka ag'okwewonga eri Katonda
1Mukama n'agamba Musa 2ayogere n'Abayisirayeli, abagambe nti: “Omusajja oba omukazi bw'aneeyamanga ku lulwe okwewongera Mukama, amweweere ddala okumala ekiseera, 3anaayawukananga n'okunywa omwenge n'ebyokunywa ebirala ebitamiiza. Taanywenga ku kyakunywa na kimu ekikoleddwa mu mizabbibu, era taalyenga mizabbibu mibisi wadde egikaziddwa.#Laba ne Luk 1:15 4Ennaku zonna z'alimala nga yeewongedde Mukama, taalyenga kintu na kimu ekiva ku muzabbibu newaakubadde ensigo wadde ebikuta.
5“Ennaku zonna z'alibeera mu bweyamo bw'okwewongera Mukama, taasalenga ku nviiri ze era taazimwengako. Anaasibwanga obweyamo bwe ebbanga lyonna ly'alimala nga yeewongedde Mukama, era anaalekanga enviiri ze n'ebirevu bye ne bikula. 6Ennaku zonna ze yeewongeramu Mukama, taasembererenga mulambo 7kwefuula atali mulongoofu, ne bwe guba gwa kitaawe, oba gwa nnyina, oba gwa muganda we, oba gwa mwannyina, kubanga aba muwonge eri Katonda. 8Ennaku zonna ez'okwewonga kwe, aba ayawuliddwa n'aba wa Mukama mu ngeri ey'enjawulo.
9“Singa omutwe gw'omuwonge gufuuka ogutali mulongoofu olw'omuntu afiiridde okumpi naye embagirawo, omuwonge oyo anaalindanga ne wayitawo ennaku musanvu, n'alyoka amwa omutwe gwe, n'addamu okuba omulongoofu. 10Ku lunaku olw'omunaana, anaaleetanga eri kabona enjiibwa bbiri, oba amayiba amato abiri, ku mulyango gw'Eweema Ey'Okunsisinkanirangamu. 11Awo kabona anaawangayo akamu ku bunyonyi obwo, kabe ekiweebwayo olw'ebibi, n'akookubiri kabe ekiweebwayo ekyokebwa, n'amusabira ekisonyiwo olw'ekisobyo kye yakola eky'okuliraana omufu. Omuntu oyo anaddangamu okuwonga omutwe gwe ku lunaku olwo lwennyini. 12Era anaawongeranga Mukama ebbanga eggere ly'alimala nga amwewongedde, n'aleeta endiga ento ennume ey'omwaka ogumu, ebe ekiweebwayo olw'omusango. Naye ebbanga eryasooka linaabanga lifudde, kubanga okwewonga kwe kwayonooneka.
13“Lino lye tteeka erifuga omuwonge, ebbanga ery'okwewonga kwe bwe linaggwangako: ku lunaku lwe linaggwangako, anaaleetebwanga ku mulyango gw'Eweema Ey'Okusisinkanirangamu Mukama,#Laba ne Bik 21:23-24 14n'awaayo ekitone kye eri Mukama kya nsolo ssatu ezitaliiko kamogo: endiga ento ennume ey'omwaka ogumu, ebe ekiweebwayo ekyokebwa; n'endiga ento enduusi ey'omwaka ogumu, ebe ekiweebwayo olw'ebibi; era n'endiga ennume emu, ebe ekiweebwayo olw'okutabagana. 15Era n'awaayo ekibbo eky'emigaati egitazimbulukusiddwa, n'obugaati obukoleddwa mu buwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi, obutabuddwamu omuzigo ogw'emizayiti, era n'emigaati egy'empewere egitazimbulukusiddwa, egifukiddwako omuzigo ogw'emizayiti, era n'ebiweebwayo ebigenderako: eky'emmere ey'empeke, n'eky'ebyokunywa.
16“Kabona anaabyanjulanga eri Mukama, n'awaayo ekiweebwayo olw'ebibi, n'ekiweebwayo ekyokebwa. 17N'atambira endiga ennume, ebe ekiweebwayo eri Mukama olw'okutabagana, n'akiwaayo awamu n'ekibbo eky'emigaati egitazimbulukusiddwa. Kabona era anaawangayo ebiweebwayo ebigenderako: eky'emmere ey'empeke, n'eky'ebyokunywa. 18Olwo omuwonge anaamweranga omutwe gwe ku mulyango gw'Eweema Ey'Okusisinkanirangamu Mukama, n'addira enviiri ze, akabonero akalaga okwewonga kwe, n'aziteeka mu muliro oguliko ekitambiro eky'ekiweebwayo olw'okutabagana.
19“Kabona anaatwalanga omukono ogw'endiga ennume ogumaze okufumbibwa, era n'aggya mu kibbo akagaati kamu akatazimbulukusiddwa, n'omugaati ogw'empewere gumu ogutazimbulukusiddwa, byonna n'abiteeka mu ngalo z'omuwonge amaze okwemwako enviiri eziraga okwewonga kwe. 20Kabona anaabiwuubanga bibe ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Mukama. Ebyo, awamu n'ekifuba ekiwuubibwa era n'ekisambi ekisitulibwa, byayawulirwa kabona. Ebyo bwe biggwa, omuwonge n'alyoka ayinza okunywa omwenge. 21Eryo lye tteeka erinaafuganga omuntu eyeeyama okwewongera Mukama amweweere ddala okumala ekiseera, era lye linaafuganga ekitone ky'anaawangayo eri Mukama. Naye omuwonge bw'aneeyamanga okuwaayo eri Mukama ebisingawo, anaabiwangayo nga bw'anaabanga yeeyamye.”
Okusabira Abantu Omukisa
22Mukama n'agamba Musa 23ategeeze Arooni ne batabani be nti bwe banaabanga basabira Abayisirayeli omukisa, banaagambanga bwe bati nti: 24“Mukama akuwe omukisa akukuume, 25Mukama akusanyukire, akukwatirwe ekisa; 26Mukama akutunuulize amaaso ag'ekisa, akuwe emirembe.” 27Mukama n'agamba nti: “Bwe batyo bwe banaakoowooleranga erinnya lyange ku Bayisirayeli, ne mpa Abayisirayeli omukisa.”
Currently Selected:
OKUBALA 6: LB03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.