YouVersion Logo
Search Icon

OKUBALA 5

5
Okugoba mu lusiisira abatali balongoofu
1Mukama n'agamba Musa nti: 2“Lagira Abayisirayeli baggyenga mu lusiisira buli alina endwadde y'olususu etiisa, na buli alwadde ekikulukuto, na buli atali mulongoofu olw'okukoona ku kintu ekifudde. 3Abasajja n'abakazi abali bwe batyo, munaabaggyanga mu lusiisira ne mubafulumya ebweru, baleme kwonoona lusiisira lwe mbeeramu Nze wamu n'abantu bange.” 4Ekyo Abayisirayeli ne bakikola. Ne bafulumya abaali bwe batyo ebweru w'olusiisira, nga Mukama bwe yalagira Musa.
Okuliwa olw'omusango
5Mukama n'agamba Musa nti:#Laba ne Leev 6:1-7 6“Gamba Abayisirayeli nti: ‘Omusajja oba omukazi bw'akola ekibi ku muntu munne, anyiiza Mukama era omusango guba gumusinze. 7Anakkirizanga ekibi kye ky'akoze, n'aliwa mu bujjuvu ekintu ky'ayonoonye, n'ayongerako n'ekitundu kyakyo ekimu ekyokutaano, n'abiwa oyo gw'azzizzaako omusango. 8Naye gwe bazzaako omusango bw'aba nga yafa ate nga talina waaluganda lwa kumpi ayinza kuliyirwa, ekiriyibwa olw'omusango kinaaliyirwanga Mukama, ne kiba kya kabona, ne kyongerwako n'endiga ennume okusonyiyisa ebibi by'oyo eyazza omusango. 9Buli kiweebwayo ekyenjawulo Abayisirayeli kye baleetera Mukama, kinaabanga kya kabona gwe bakikwasizza. 10Buli ekiwongeddwa, kinaabanga kya kabona gwe bakikwasizza.’ ”
Ebikolebwa ng'omusajja ateerera mukazi we obwenzi
11Mukama n'agamba Musa 12ayogere n'Abayisirayeli abagambe nti: “Muk'omusajja bw'anaddanga ebbali n'ataba mwesigwa eri bba, 13omusajja omulala ne yeebaka naye mu kyama, bw'atyo omukazi oyo ne yeeyonoona nga bba tamanyi, era nga tewali mujulirwa amulumiriza, kubanga teyakwatirwa mu kikolwa ekyo, 14bba n'ajjirwa okuteerera nti mukazi we yeeyonoonye, oba n'amuteerera, kyokka nga teyeeyonoonye, 15omusajja oyo anaatwalanga mukazi we eri kabona. Era anaamuweerangayo ekitone kya kilo emu ey'obuwunga obwa bbaale. Taabufukengako muzigo gwa mizayiti, wadde okubuteekako obubaane, kubanga ekitone ekyo kye kiweebwayo omusajja ateerera mukazi we ne kiteekebwawo, amazima galyoke geeyoleke.
16“Kabona anaaleetanga omukazi oyo n'amuyimiriza mu maaso ga alutaari. 17Kabona anaddiranga amazzi agaweereddwa omukisa, n'agateeka mu kibya. N'atoola ku nfuufu eri wansi mu Weema Entukuvu, n'agiteeka mu mazzi ago, okugafuula agakaawa. 18N'ataggulula enviiri z'omukazi, n'amukwasa mu ngalo ekiweebwayo eky'obuwunga, ekiweereddwayo olw'okumalawo okuteerera. Ye kabona n'akwata mu mukono gwe amazzi agakaawa, agaleeta ekikolimo. 19Awo kabona anaalayizanga omukazi ng'amugamba nti: Oba nga tewabangawo musajja mulala yeebaka naawe, era oba nga toddangako bbali mu bya bwenzi sso ng'olina balo, amazzi gano agakaawa agaleeta ekikolimo tegaakukoleko kabi. 20Naye oba nga wadda ebbali sso ng'oli mukazi mufumbo, n'oyenda, 21olwo kabona anaalaamirizanga omukazi ebigambo eby'ekikolimo ng'agamba nti: Mukama akufuule anaajulirwanga mu bantu bo nga bakolima#5:21 anaajulirwanga…nga bakolima: Laba ne Yeremiya 29:22, bw'anaakonzibya ekisambi kyo, n'atumbiiza olubuto lwo. 22Amazzi gano agaleeta ekikolimo, gayingire mu byenda byo, gatumbiize olubuto lwo, era gakonzibye ekisambi kyo.
“Omukazi anaddangamu nti: ‘Yee, nzikirizza kibe bwe kityo. Yee, nzikirizza kibe bwe kityo.’
23“Awo kabona anaawandiikanga ebikolimo ebyo mu kitabo, n'abyozaako n'amazzi gali agakaawa. 24Kabona anaanywesanga omukazi amazzi agakaawa agaleeta ekikolimo, amazzi ago ne gayingira mu ye, ne gakaawa. 25Awo kabona anaggyanga mu ngalo z'omukazi ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke eky'okumalawo okuteerera, n'akitwala ku alutaari. 26N'atoola ku kyo olubatu, nga ke kabonero k'ekiweebwayo ekyo, n'alwokera ku alutaari. Olwo n'alyoka anywesa omukazi amazzi. 27Omukazi oyo bw'anaabanga yayonoona n'ataba mwesigwa eri bba, amazzi agaleeta ekikolimo ganaamuleeteranga obulumi, olubuto lwe ne lutumbiira, n'ekisambi kye ne kikonziba, n'afuuka ekikolimo mu bantu be. 28Kyokka bw'anaabanga talina musango, taabengako kabi kamutuukako, era anaasobolanga okuzaala abaana.
29“Eryo lye tteeka erinaakozesebwanga, ng'omukazi omufumbo azze ebbali ne yeeyonoona mu bwenzi, 30oba ng'omusajja ajjiddwa ebirowoozo, n'ateerera mukazi we obwenzi. Omusajja oyo anaaleetanga mu maaso ga Mukama, omukazi gw'ateerera, kabona n'alyoka akozesa etteeka eryo lyonna. 31Omusajja oyo taabengako kibi ky'avunaanibwa. Naye omukazi bw'anaabanga yayonoona, anaabonerezebwanga olw'ekibi kye.”

Currently Selected:

OKUBALA 5: LB03

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

Video for OKUBALA 5