OKUBALA 3
3
Batabani ba Arooni
1Bino bye bifa ku zzadde lya Arooni ne Musa, mu kiseera Mukama kye yayogereramu ne Musa ku Lusozi Sinaayi. 2Gano ge mannya ga batabani ba Arooni: Nadabu omuggulanda, ne Abihu, Eleyazaari, ne Yitamaari.#Laba ne Kubal 26:60 3Ago ge mannya ga batabani ba Arooni, bakabona abaafukibwako omuzigo, ne baawulibwa okuweerezanga mu bwakabona. 4Kyokka Nadabu ne Abihu ne bafiira mu maaso ga Mukama, bwe baaleeta mu maaso ge omuliro gw'atabalagidde, mu ddungu ly'e Sinaayi. Tebaalina baana. Olwo Eleyazaari ne Yitamaari ne baweerezanga mu bwakabona, nga balabirirwa Arooni kitaabwe.#Laba ne Leev 10:1-2; Kubal 26:61
Abaleevi baweebwa omulimu ogw'okuweerezanga bakabona
5Mukama n'agamba Musa nti: 6“Leeta ab'omu Kika kya Leevi, obakwase Arooni kabona bamuweerezenga. 7Banaayambanga bakabona n'abantu bonna okutuukiriza bye balagirwa okukola mu Weema ey'Okunsisinkanirangamu. 8Banaalabiriranga ebintu byonna eby'omu Weema ey'Okunsisinkanirangamu, era banaakoleranga Abayisirayeli abalala bonna bye balagirwa okukola mu Weema eyo. 9Onoggya Abaleevi mu Bayisirayeli bannaabwe, obaweere ddala Arooni ne batabani be. 10Era onooteekawo Arooni ne batabani be, okukola omulimu gwabwe ogw'obwakabona. Omuntu omulala yenna anaagezangako okugukola, anattibwanga.”
11Mukama n'agamba Musa nti: 12“Nze nzennyini neerobozezza ne ntwala Abaleevi be nzigye mu Bayisirayeli, mu kifo ky'okutwala buli muggulanda mu baana ab'obulenzi ab'Abayisirayeli. Kaakano Abaleevi bafuuse bange, 13kubanga buli muggulanda, wange. Okuva ku lunaku lwe nattirako abaggulanda bonna mu nsi y'e Misiri, neeyawulira buli muggulanda mu Yisirayeli, ow'abantu n'ow'ensolo. Banaabeeranga bange, Nze Mukama.”#Laba ne Kuv 13:2
Okubala Abaleevi
14Mukama n'ayogera ne Musa mu ddungu ly'e Sinaayi, n'agamba nti: 15“Bala Abaleevi ng'ogoberera ensibuko zaabwe, n'ennyumba za bajjajjaabwe, obale buli mulenzi awezezza omwezi ogumu n'okusingawo.” 16Awo Musa n'ababala nga Mukama bwe yamulagira. 17Bano be batabani ba Leevi: Gerusooni, ne Kohati, ne Merari. 18Gano ge mannya ga batabani ba Gerusooni, era bajjajja b'abasibuka mu ye: Libuni ne Simeeyi. 19Batabani ba Kohati, era bajjajja b'abasibuka mu ye, be bano: Amuraamu ne Yizuhaari, Heburooni ne Wuzziyeeli. 20Batabani ba Merari, era bajjajja b'abasibuka mu ye, be bano: Mahuli ne Muusi. Abo be basibukamu Abaleevi, ng'ennyumba za bajjajjaabwe bwe zaali.
21Mu Gerusooni mwe musibuka Abalibuni n'Abasimeeyi. Abo be Bagerusooni. 22Omuwendo gwabwe bonna, abasajja n'abaana ab'obulenzi abawezezza omwezi ogumu n'okusingawo, abaabalibwa, gwali kasanvu mu bitaano. 23Abasibuka mu Gerusooni be baasiisiranga emabega w'Eweema, ebugwanjuba, 24nga bakulirwa Eliyasaafu mutabani wa Laweli. 25Omulimu gwa Bagerusooni mu Weema ey'Okusisinkanirangamu Mukama, gwali gwa kugirabiriranga n'ebigibikkako munda ne kungulu, n'okulabirira olutimbe olw'omu mulyango gwayo, 26n'entimbe ez'oluggya olugyetooloola, yo ne alutaari, n'olutimbe lw'omulyango gw'oluggya olwo, n'emiguwa gyalwo egikozesebwa ku mulimu gwalwo gwonna.
27Ate mu Kohati mwe musibuka Abamuraamu, n'Abayizuhaari, n'Abaheburooni n'Abawuzziyeeli. Abo be Bakohati. 28Omuwendo gwabwe bonna, abasajja n'abaana ab'obulenzi abawezezza omwezi ogumu n'okusingawo, gwali kanaana mu lukaaga. Abo be baalabiriranga Ekifo Ekitukuvu. 29Abasibuka mu Kohati be baasiisiranga ku ludda olw'ebukiikaddyo bwa Weema, 30nga bakulirwa Elizafani, mutabani wa Wuzziyeeli. 31Omulimu gwabwe gwali gwa kulabirira Ssanduuko ey'Endagaano, n'emmeeza, n'ekikondo ky'ettaala, ne zaalutaari, n'ebintu eby'omu Kifo Ekitukuvu bakabona bye bakozesa mu kuweereza, n'olutimbe, n'ebikozesebwa ku lwo. 32Eleyazaari mutabani wa Arooni kabona, ye yali omukulu w'abakulembeze b'Abaleevi. Ye yalondebwa okukulira abalabirira Ekifo Ekitukuvu.
33Mu Merari mwe musibuka Abamahuli, n'Abamuusi. Abo be Bamerari. 34Omuwendo gwabwe bonna abasajja n'abaana ab'obulenzi abawezezza omwezi ogumu n'okusingawo, gwali kakaaga mu bibiri. 35Be baasiisiranga ku ludda lw'Eweema olw'ebukiikaddyo, abakulira nga ye Zuuriyeeli mutabani wa Abihayili. 36Omulimu ogwaweebwa Abamerari gwali gwa kulabiriranga mbaawo za Weema n'emikiikiro gyayo, n'empagi zaayo, n'ebinnya byayo, n'ebintu byayo byonna ebikozesebwa ku yo. 37Era baaweebwa ogw'okulabiriranga empagi, n'ebinnya, n'enninga, n'emiguwa, eby'oluggya olwetooloola Eweema.
38Musa ne Arooni ne batabani be, be baasiisiranga ebuvanjuba, mu maaso g'Eweema ey'Okusisinkanirangamu Mukama, nga boolekedde enjuba gy'eva. Be baalabiriranga Ekifo Ekitukuvu okutuukiriza ebyalagirwa Abayisirayeli. Omuntu omulala yenna eyasembereranga ekifo ekyo, yabanga wa kuttibwa. 39Abaleevi bonna, abasajja n'abaana ab'obulenzi abawezezza omwezi ogumu n'okusingawo, Musa ne Arooni be baabala nga bagoberera ensibuko zaabwe, nga Mukama bwe yalagira, baali emitwalo ebiri mu enkumi bbiri.
Abaleevi bawaanyisibwamu abaggulanda ab'obulenzi
40Awo Mukama n'agamba Musa nti: “Bala abaggulanda bonna, abasajja n'abaana ab'obulenzi abawezezza omwezi ogumu n'okusingawo, ab'Abayisirayeli, owandiike amannya gaabwe. 41Naye mu kifo ky'abaggulanda bonna ab'obulenzi ab'Abayisirayeli, njawulira Abaleevi, babe bange, Nze Mukama. Era njawulira amagana g'Abaleevi gabe gange, mu kifo ky'ensolo zonna ezisooka okuzaalibwa mu magana g'Abayisirayeli.” 42Awo Musa n'abala abaggulanda bonna ab'obulenzi ab'Abayisirayeli, nga Mukama bwe yamulagira. 43Era abaggulanda bonna ab'obulenzi, okuva ku bawezezza omwezi ogumu n'okusingawo, abaawandiikibwa amannya gaabwe ne babalibwa, baali emitwalo ebiri mu enkumi bbiri mu bibiri mu nsavu mu basatu.
44Mukama n'agamba Musa nti: 45“Mu kifo ky'abaggulanda ab'obulenzi ab'Abayisirayeli, yawula Abaleevi babe bange, era yawula amagana gaabwe gabe gange, mu kifo ky'amagana g'Abayisirayeli. Nze Mukama. 46Olw'okununula abaggulanda ab'obulenzi ebikumi ebibiri mu ensanvu mu abasatu ab'Abayisirayeli, abaasukka ku muwendo gw'Abaleevi, 47onoosolooza sekeli ttaano olwa buli omu, ez'ekipimo ekitongole eky'omu Kifo Ekitukuvu, ze ggeera amakumi abiri buli sekeli. 48Ensimbi ezo onooziwa Arooni ne batabani be, olw'okununula abo abeeyongeramu.” 49Bw'atyo Musa n'asolooza ensimbi ku abo abaafikkawo nga tebanunuliddwa Baleevi. 50Ensimbi ze yasolooza ku baggulanda ab'obulenzi ab'Abayisirayeli, zaawera sekeli lukumi mu bisatu mu nkaaga mu ttaano, ez'ekipimo ekitongole eky'omu Kifo Ekitukuvu. 51Awo Musa n'awa Arooni ne batabani be ensimbi ezo ezaanunula, nga Mukama bwe yamulagira.
Currently Selected:
OKUBALA 3: LB03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.

: