MATAYO 5
LBWD03

MATAYO 5

5
Yesu ayigiririza ku lusozi
(Laba ne Luk 6:20-23)
1Awo Yesu bwe yalaba abantu abangi bwe batyo, n'ayambuka ku lusozi. Bwe yamala okutuula, abayigirizwa be ne bajja w'ali, 2n'atandika okubayigiriza, n'agamba nti:
3“Ba mukisa abeesiga Katonda yekka okubayamba:#5:3 abeesiga…okubayamba: Oba: “Mu mwoyo abamanyi nti beetaaga Katonda okubayamba”: Bye byagala okuggyayo amakulu agali mu “Abaavu mu mwoyo,” ekiri mu Luyonaani.
kubanga Obwakabaka obw'omu ggulu bwabwe.
4“Ba mukisa abakungubaga;
kubanga abo balikubagizibwa.#Laba ne Yis 61:2
5“Ba mukisa abateefu;
kubanga abo baliweebwa ensi,
Katonda gye yabasuubiza.#Laba ne Zab 37:11
6“Ba mukisa abalumwa enjala n'ennyonta
ey'okukola Katonda by'ayagala:
kubanga abo balikkusibwa.#Laba ne Yis 55:1-2
7“Ba mukisa ab'ekisa;
kubanga abo balikwatirwa ekisa.
8“Ba mukisa ab'omutima omulongoofu;
kubanga abo baliraba Katonda.#Laba ne Zab 24:3-4
9“Ba mukisa abatabaganya;
kubanga abo baliyitibwa baana ba Katonda.
10“Ba mukisa abayigganyizibwa
olw'okukola Katonda by'ayagala;
kubanga Obwakabaka obw'omu ggulu bwabwe.#Laba ne 1 Peet 3:14
11“Muli ba mukisa bwe banaabavumanga, bwe banaabayigganyanga, bwe banaabawaayirizanga buli kigambo kibi nga babalanga nze.#Laba ne 1 Peet 4:14 12Musanyuke, mujaganye, kubanga empeera yammwe mu ggulu nnene. N'abalanzi abaasooka mmwe okubaawo, bwe batyo bwe baayigganyizibwa.#Laba ne 2 Byom 36:16; Bik 7:52
Omunnyo n'ekitangaala
(Laba ne Mak 9:50; Luk 14:34-35)
13“Mmwe munnyo gw'ensi. Naye singa omunnyo gusaabulukuka, guzzibwamu gutya obuka bwagwo? Guba tegukyagasa, wabula gusuulibwa wabweru, abantu ne bagulinnyirira.#Laba ne Mak 9:50; Luk 14:34-35
14“Mmwe kitangaala ky'ensi. Ekibuga ekizimbiddwa ku lusozi tekiyinza kukisibwa.#Laba ne Yow 8:12; 9:5 15Era tebakoleeza ttaala ne bagikweka mu kibbo, wabula bagiwanika ku kikondo, n'emulisa bonna abali mu nnyumba.#Laba ne Mak 4:21; Luk 8:16; 11:33 16Ekitangaala kyammwe kiteekwa okwakira bwe kityo abantu, balabe ebikolwa byammwe ebirungi, balyoke batendereze Kitammwe ali mu ggulu.#Laba ne 1 Peet 2:12
Amateeka
17“Muleke kulowooza nti najja kudibya Mateeka oba ebyo abalanzi bye bayigiriza. Sajja kubidibya, wabula okubituukiriza. 18Mazima mbagamba nti eggulu n'ensi nga bikyaliwo, ennukuta emu, wadde akatonnyeze akamu tekalidibizibwa mu Mateeka, okutuusa byonna lwe birituukirira.#Laba ne Luk 16:17
19“Kale nno buli adibya erimu ku mateeka ago, wadde agasinga obutono, era n'ayigiriza bw'atyo abantu, aliyitibwa asembayo mu Bwakabaka obw'omu ggulu. Kyokka oyo akwata Amateeka, n'ayigiriza n'abalala okugakwata, aliyitibwa mukulu mu Bwakabaka obw'omu ggulu. 20Mbagamba nti: bwe mutaabenga beesigwa okusinga abannyonnyozi b'amateeka n'Abafarisaayo mu kukola Katonda by'ayagala, temuliyingira Bwakabaka bwa mu ggulu.
Obusungu
(Laba ne Luk 12:57-59)
21“Mwawulira ab'edda bwe baagambibwa nti: ‘Tottanga muntu. Alitta omuntu, aliwozesebwa.’#Laba ne Kuv 20:13; Ma 5:17 22Naye nze mbagamba mmwe nti: buli muntu asunguwalira muganda we, aliwozesebwa. Oyo ayita muganda we ‘Ekitagasa’, alireetebwa mu maaso g'olukiiko olukulu. Ate aliyita muganda we ‘Omusirusiru’, asaanira okusuulibwa mu muliro ogutazikira.
23“Kale nno bw'obanga oleeta ekirabo kyo ku alutaari, n'ojjuukirira eyo nga muganda wo aliko ekigambo ky'akwemulugunyiza, 24leka awo ekirabo kyo, mu maaso ga alutaari, ogende, osooke omale okutabagana ne muganda wo, olyoke okomewo, oweeyo ekirabo kyo.
25“Bw'oba ng'ogenda n'omuntu akuwawaabira, tabagana naye mangu nga mukyali mu kkubo, aleme okukutwala ew'omulamuzi, n'omulamuzi okukuwa omuserikale, n'osuulibwa mu kkomera. 26Mazima nkugamba nti omwo tolivaamu okutuusa lw'olisasula ssente esembayo.
Obwenzi
27“Mwawulira bwe baagambibwa nti: ‘Toyendanga.’#Laba ne Kuv 20:14; Ma 5:18 28Naye nze mbagamba mmwe nti: buli atunuulira omukazi olw'okumwegomba, ng'amwenzeeko mu mutima gwe. 29Singa eriiso lyo erya ddyo likukozesa ekibi, liggyeemu, olisuule wala. Kikugasa okufiirwa ekimu ku bitundu by'omubiri gwo, okusinga omubiri gwo gwonna lwe gusuulibwa mu muliro ogutazikira.#Laba ne Mat 18:9; Mak 9:47 30Era singa omukono gwo ogwa ddyo gukukozesa ekibi, gutemeko, ogusuule wala. Kikugasa okufiirwa ekimu ku bitundu by'omubiri gwo, okusinga omubiri gwo gwonna lwe gusuulibwa mu muliro ogutazikira.#Laba ne Mat 18:8; Mak 9:43
Okugattululwa kw'abafumbo
(Laba ne Mat 19:9; Mak 10:11-12; Luk 16:18)
31“Baagambibwa era nti: ‘Buli agoba mukazi we, amuwanga ebbaluwa ekakasa nti amugobye!’#Laba ne Ma 24:1-4; Mat 19:7; Mak 10:4 32Naye nze mbagamba mmwe nti buli agoba mukazi we, okuggyako ng'amugobye lwa bwenzi, aba amusudde mu bwenzi. N'oyo awasa gwe bagobye, aba ayenze.#5:32 N'oyo awasa gwe bagobye, aba ayenze: Ebiwandiiko ebimu eby'edda tebiriimu bigambo ebyo.#Laba ne Mat 19:9; Mak 10:11-12; Luk 16:18; 1 Kor 7:10-11
Okulayira
33“Era mwawulira abantu edda bwe baagambibwa nti: ‘Tolayiranga bya bulimba, naye by'osuubizza Mukama ng'olayira, obituukirizanga.’#Laba ne Leev 19:12; Kubal 30:2; Ma 23:21 34Naye nze mbagamba mmwe obutalayiranga n'akatono: newaakubadde okulayira eggulu, kubanga ye ntebe ya Katonda,#Laba ne Yak 5:12; Yis 66:1; Mat 23:22 35newaakubadde ensi, kubanga Katonda gy'ateekako ebigere bye. Temulayiranga wadde Yerusaalemu, kubanga kye kibuga kya Kabaka omukulu.#Laba ne Yis 66:1; Zab 48:2 36Era tolayiranga newaakubadde omutwe gwo, kubanga oluviiri olumu toyinza kulufuula lweru oba luddugavu. 37Mugambenga nti: ‘Weewaawo,’ oba nti ‘Si weewaawo’ Ebisinga ku ebyo biva mu Mubi.
Okuwoolera eggwanga
(Laba ne Luk 6:29-30)
38“Mwawulira bwe baagambibwa nti: ‘Eriiso ligattibwa liiso, erinnyo ligattibwa linnyo.’#Laba ne Kuv 21:24; Leev 24:20; Ma 19:21 39Naye nze mbagamba mmwe nti: temuziyizanga mubi, wabula omuntu bw'akukubanga ku ttama erya ddyo, omukyusizanga n'eddala.
40“Omuntu ayagala okuwoza naawe okutwala ekkanzu yo, omulekeranga n'ekkooti. 41Era buli akuwalirizanga okutambula naye kilomita emu, otambulanga naye kilomita bbiri. 42Akusabanga omuwanga, era ayagala okukwewolako, tomwegobangako.
Okwagala abalabe
(Laba ne Luk 6:27-28,32-36)
43“Mwawulira bwe baagambibwa nti: ‘Oyagalanga munno, n'okyawa omulabe wo.’#Laba ne Leev 19:18 44Naye nze mbagamba mmwe nti: mwagalenga abalabe bammwe, musabirenga ababayigganya, 45mulyoke mube abaana ba Kitammwe ali mu ggulu: kubanga enjuba ye agyakiza abalungi n'ababi, era atonnyeseza enkuba abakola obulungi n'abakola obubi.
46“Kale singa munaayagalanga abo nammwe ababaagala, mulifuna mpeera ki? Abasolooza b'omusolo nabo si bwe bakola? 47Era singa munaalamusanga baganda bammwe bokka, kye mukoze ekyeyongeddeko okusinga eky'abalala kiruwa? Abantu ab'ensi nabo si kye bakola?
48“Kale nno mmwe mubeerenga batuukirivu, nga Kitammwe ali mu ggulu bw'ali omutuukirivu.#Laba ne Leev 19:2; Ma 18:13

Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.


Learn More About Luganda DC Bible 2003

Encouraging and challenging you to seek intimacy with God every day.


YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy.