Zabbuli 81
81
Ya mukulu w'abayimbi; ey'e Kigaasi. Zabbuli ya Asafu.
1 #
Zab 66:1
Muyimbirenga waggulu eri Katonda amaanyi gaffe:
Muleetenga eddoboozi ery'essanyu eri Katonda wa Yakobo.
2 #
Kuv 15:20, Zab 33:2 Mwanukulenga oluyimba, muleetenga ekitaasa,
Ennanga ennungi era n'amadinda.
3 #
Leev 23:24, Kubal 10:10 Mufuuwenga ekkondeere omwezi nga kye gujje guboneke,
Omwezi nga gwa ggabogabo, ku lunaku lwaffe olutukuvu olw'embaga.
4Kubanga eryo lye tteeka eri Isiraeri,
Ekiragiro kya Katonda wa Yakobo.
5 #
Kuv 11:4, Zab 78:5; 114:1 Yakiteeka mu Yusufu okuba obujulirwa,
Bwe yabuna ensi y'e Misiri:
Gye nnawulirira olulimi lwe ssaamanya.
6 #
Kuv 1:11
N'aggya ekibegabega kye ku mugugu:
Engalo ze ne zisumattulwa mu bibbo.
7 #
Kuv 2:23; 14:10; 19:19, Kubal 20:13 Wakoowoola bwe wali mu nnaku, nange ne nkuwonya;
Ne nkuddiramu mu kifo eky'ekyama eky'okubwatuka:
Nakukemera ku mazzi ag'e Meriba. (Seera)
8 #
Zab 50:7
Muwulire, mmwe abantu bange, nange naabategeeza:
Ggwe Isiraeri, singa okkiriza okumpulira!
9 #
Kuv 20:3, Is 43:12 Temuubenga katonda munnaggwanga mu ggwe;
So toosinzenga katonda munnaggwanga yenna.
10 #
Kuv 20:2
Nze Mukama Katonda wo,
Eyakuggya mu nsi y'e Misiri:
Yasama nnyo akamwa ko, nange naakajjuza.
11 #
Kuv 32:1, Nge 1:30 Naye abantu bange tebaawulira ddoboozi lyange;
So Isiraeri teyanjagala n'akatono.
12 #
Yer 7:24, Bik 7:42, Bar 1:24 Nange ne mbaleka okugoberera obukakanyavu bw'omutima gwabwe,
Batambulirenga mu kuteesa kwabwe bo.
13 #
Mat 5:29, Is 48:18, Mat 23:37 Singa abantu bange bakkiriza okumpulira,
Singa Isiraeri akkiriza okutambulira mu makubo gange!
14Nandiwangudde mangu abalabe baabwe,
Nandikyusizza omukono gwange ku abo abalwana nabo.
15 #
Zab 18:44
Abakyawa Mukama bandimujeemulukukidde:
Naye ekiseera kyabwe kyandibadde kya mirembe gyonna.
16 #
Ma 32:13,14, Zab 147:14 Era yandibaliisizza n'obugimu obw'eŋŋaano:
Era nandikukkusizza n'omubisi gw'enjuki oguva mu jjinja.
Currently Selected:
Zabbuli 81: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.