Zabbuli 80
80
Ya mukulu w'abayimbi; ey'ekisosannimu-edusi. Zabbuli ya Asafu.
1 #
Kuv 25:22, 1 Sam 4:4, 2 Sam 6:2, Zab 50:2; 77:20; 99:1 Ai Omusumba wa Isiraeri, wulira,
Ggwe aluŋŋamya Yusufu ng'ekisibo;
Ggwe atuula wakati wa bakerubi, yakira ddala.
2 #
Kubal 2:18-24
Mu maaso ga Efulayimu ne Benyamini ne Manase, kubiriza amaanyi go,
Ojje otulokole.
3 #
Kubal 6:25, 1 Bassek 18:37, Zab 60:1; 85:4 Otukyuse nate, ai Katonda;
Oyase amaaso go, naffe tulirokoka.
4 #
Zab 59:5; 79:5 Ai Mukama Katonda ow'eggye,
Olituusa wa okusunguwalira okusaba kw'abantu bo?
5 #
Zab 42:3; 102:9 Wabaliisa emmere ey'amaziga,
Era wabawa amaziga amangi okunywa.
6 #
Zab 44:13
Otufuula oluyombo eri baliraanwa baffe:
N'abalabe baffe baseka bokka na bokka.
7Otukyuse nate, ai Katonda ow'eggye;
Era oyase amaaso go, naffe tulirokoka.
8 #
Zab 44:2, Is 5:1,7, Yer 2:21, Ez 17:6, Mak 12:1 Waggya omuzabbibu mu Misiri:
Wagobamu amawanga, n'ogusimba.
9Wasaawa mu maaso gaagwo,
Ne gusimba nnyo emmizi, ne gujjula ensi.
10Ensozi ne zibikkibwa n'ekisiikirize kyagwo,
N'amatabi gaagwo ne gaba ng'emivule gya Katonda.
11 #
Zab 72:8
Gwaloka amatabi gaagwo okutuusa ku nnyanja
N'ensibuko zaagwo okutuusa ku Mugga.
12 #
Zab 89:40, Is 5:5 Kiki ekyakumenyesa enkomera zaagwo,
Bonna abayita mu kkubo ne bagunogako?
13 #
Yer 5:6
Embizzi eva mu kibira egunyaga,
N'ensolo ez'omu nsiko zigulyako.
14 #
Is 63:15
Okyuke nate, tukwegayiridde, ai Katonda ow'eggye:
Otunuulire wansi ng'oyima mu ggulu, olabe, ojjire omuzabbibu ogwo,
15 #
Lub 49:22
N'ekikolo omukono gwo ogwa ddyo kye gwasimba,
N'ettabi lye weekolera ery'amaanyi.
16 #
Is 33:12
Gwokeddwa omuliro, gutemeddwa ddala:
Bazikirira amaaso go bwe gabanenya.
17 #
Zab 89:21
Omukono gwo gube ku musajja ow'omukono gwo ogwa ddyo,
Ku mwana w'omuntu gwe weekolera ow'amaanyi.
18Naffe tetulidda nnyuma okukuleka:
Otuzuukize ggwe, naffe tunaakaabiranga erinnya lyo.
19Otukyuse, nate, ai Mukama Katonda ow'eggye;
Oyase amaaso go, naffe tulirokoka.
Currently Selected:
Zabbuli 80: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.