Zabbuli 79
79
Zabbuli ya Asafu.
1 #
2 Bassek 25:9, Zab 74:2,7, Yer 26:18, Kung 1:10, Mi 3:12 Ai Katonda, amawanga gazze mu busika bwo;
Boonoonye yeekaalu yo entukuvu;
Basudde Yerusaalemi entuumo n'entuumo.
2 #
Ma 28:26, Yer 7:33 Emirambo gy'abaddu bo bagiwaddeyo okuba emmere y'ennyonyi eza waggulu,
Emibiri gy'abatukuvu bo eri ensolo z'oku nsi.
3 #
Yer 14:16
Omusaayi gwabwe bagufuse ng'amazzi okwetooloola Yerusaalemi:
Ne wataba muntu wa kubaziika.
4 #
Zab 44:13
Tufuuse ekivume eri baliraanwa baffe,
Okuduulirwa n'okusekererwa eri abo abatwetoolodde.
5 #
Ma 29:20, Zab 13:1, Ez 36:5 Ai Mukama, olituusa wa okusunguwala emirembe gyonna?
Obuggya bwo bunaabuubuukanga ng'omuliro?
6 #
Zab 14:4, Yer 10:25, Zef 3:8 Fuka obusungu bwo ku mawanga agatakumanyi,
Ne ku bwakabaka obutakoowoola linnya lyo.
7Kubanga balidde Yakobo,
Ne bazisa ekifo kye.
8 #
Zab 116:6, Is 49:6, Yer 11:10 Tojjukira gye tuli obutali butuukirivu bwa bajjajjaffe:
Okusaasira kwo okulungi kwanguwe okutukulemberanga:
Kubanga tujeezebwa nnyo.
9Otuyambe, ai Katonda ow'obulokozi bwaffe, olw'ekitiibwa ky'erinnya lyo:
Era otuwonye, onaalize ddala ebibi byaffe, olw'erinnya lyo:
10 #
Zab 42:3; 94:1 Ab'amawanga ekiriba kiboogeza kiki nti Katonda waabwe ali ludda wa?
Eggwanga ly'omusaayi gw'abaddu bo oguyiika
Limanyibwe mu b'amawanga mu maaso gaffe.
11 #
Zab 102:20
Okusinda kw'omusibe kujje mu maaso go;
Ng'obuyinza bwo bwe buli obungi owonye abo abateekerwawo okufa;
12 #
Leev 26:21,28 Era owalane baliraanwa baffe emirundi musanvu mu kifuba kyabwe
Ekivume kye baakuvuma ggwe, ai Mukama.
13 #
Zab 74:1, Is 43:21 Naffe abantu bo era endiga ez'ettale lyo
tunaakwebazanga ennaku zonna:
Tunaayolesanga ettendo lyo okutuusa emirembe gyonna.
Currently Selected:
Zabbuli 79: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.