Zabbuli 78
78
Masukiri ya Asafu
1 #
Zab 49:1, Is 51:4 Muwulire, mmwe abantu bange, okulagira kwange:
Mutege amatu gammwe eri ebigambo eby'akamwa kange.
2 #
Zab 49:4, Mat 13:35 Naayasama akamwa kange mu lugero:
Naayogera ebigambo eby'ekyama eby'edda:
3 #
Zab 44:1
Bye twawuliranga, bye twamanyanga,
Era bajjajjaffe bye baatubuuliranga.
4 #
Kuv 12:26,27, Ma 4:9, Yos 4:6,7 Tetuubikisenga baana baabwe,
Nga tubuulira emirembe egijja amatendo ga Mukama,
N'amaanyi ge, n'eby'amagero bye bye yakola.
5 #
Zab 147:19
Kubanga yanyweza obujulirwa mu Yakobo,
Era yalagira etteeka mu Isiraeri,
Lye yakuutira bajjajjaffe,
Babitegeezenga abaana baabwe:
6 #
Zab 102:18
Emirembe egijja gibimanye, be baana abaali bagenda okuzaalibwa;
Abaali bagenda okugolokoka n'okubibuulira abaana baabwe:
7 #
Zab 105:45
Balyoke basuubirenga Katonda,
So balemenga okwerabira emirimu gya Katonda,
Naye bakwatenga amateeka ge:
8 #
Kuv 32:9, 2 Bassek 17:14, Yer 5:23 So balemenga okuba nga bajjajjaabwe,
Emirembe emikakanyavu, emijeemu;
Emirembe egitalongoosa bulungi omutima gwagyo,
N'omwoyo gwagyo nga tegunywera eri Katonda.
9Abaana ba Efulayimu, nga balina ebyokulwanyisa n'emitego,
Ne bakyuka ennyuma ku lunaku olw'olutalo.
10 #
2 Bassek 17:15
Tebaakwata ndagaano ya Katonda,
Ne bagaana okutambulira mu mateeka ge;
11 #
Zab 106:13, Is 17:10, Yer 2:32 Ne beerabira ebikolwa bye,
N'eby'amagero bye bye yabalaga.
12 #
Kuv 7:8—12:32
Yakolera eby'ekitalo mu maaso ga bajjajjaabwe,
Mu nsi y'e Misiri, mu nnimiro ya Zowaani.
13 #
Kuv 14:21; 15:8 Yayasa mu nnyanja, n'abayisa wakati;
N'ayimiriza amazzi ng'entuumo.
14 #
Kuv 13:21
Era emisana yabakulemberanga n'ekire,
N'ekiro kyonna n'omumuli ogw'omuliro.
15Yayasa amayinja mu ddungu,
N'abanywesa amazzi amangi nga gava mu buziba.
16 #
Kuv 17:6, Kubal 20:11, Zab 105:41, Is 48:21 Era yaviisa ensulo mu jjinja,
N'akulukusa amazzi ng'emigga.
17 #
Ma 9:22, Is 63:10, Beb 3:16 Naye ne banyiikira nate okumwonoona,
Okujeemera oyo ali waggulu ennyo mu ddungu.
18 #
Kuv 17:2, Kubal 11:4, Ma 6:16, Zab 106:14, 1 Kol 10:9 Ne bakema Katonda mu mutima gwabwe.
Nga basaba emmere olw'okwegomba kwabwe.
19 #
Kuv 16:3, Kubal 21:5, Zab 23:5 Era naye baayogera obubi ku Katonda;
Baagamba nti Katonda ayinza okuteekateeka emmeeza mu ddungu?
20Laba, yakuba ejjinja amazzi ne gatiiriika,
Emigga ne gikulukuta;
Era ayinza okuwa n'omugaati? Alirabira ennyama abantu be?
21 #
Kubal 11:1, Zab 95:10 Mukama kyeyava awulira, n'asunguwala:
Omuliro ne gwaka ku Yakobo,
Era n'obusungu ne bunyooka ku Isiraeri:
22Kubanga tebakkiriza Katonda,
So tebeesiga bulokozi bwe.
23 #
Lub 7:11, Mal 3:10 Naye n'alagira eggulu waggulu,
N'aggulawo enzigi ez'omu ggulu;
24 #
Kuv 16:4, Nek 9:15,20, Yok 6:31, 1 Kol 10:3 N'abatonnyesezanga maanu okulya,
N'abawanga emmere ey'omu ggulu.
25Abantu ne balyanga emmere ey'abakulu:
Yabaweerezanga ebyokulya n'abakkusa.
26 #
Kubal 11:18-20,31 N'akunsa empewo eziva ebuvanjuba mu ggulu:
Era n'aluŋŋamya n'obuyinza bwe empewo eziva obukiika obwa ddyo.
27Era n'abatonnyeseza ennyama ng'enfuufu,
N'ennyonyi ezibuuka ng'omusenyu ogw'ennyanja:
28N'abigwisa wakati mu lusiisira lwabwe,
Okwetooloola ennyumba zaabwe.
29Awo ne balya, ne bakkuta nnyo;
N'abawa kye baali beegomba.
30 #
Kubal 11:33,34 Baali nga tebannayawukana n'okwegomba kwabwe,
Emmere yaabwe yali ng'ekyali mu bumwa bwabwe,
31Obusungu bwa Katonda ne bulinnya ku bo,
Ne bubattamu abasinga obunene,
Ne buzikiriza abavubuka ba Isiraeri.
32 #
Kubal 14:1-4,11 Era naye ebyo byonna bwe byababaako ne boonoona nate,
Ne batakkiriza bya magero bye.
33 #
Kubal 14:29,35; 26:64,65 Kyeyava amalawo ennaku zaabwe okuzifuula obutaliimu,
N'emyaka gyabwe mu kutya.
34 #
Zab 63:1, Kos 5:15 Bwe yabatta, bwe baabuuzabuuza okumunoonya:
Ne bakomawo ne bakeeranga okunoonya Katonda.
35 #
Ma 32:4,15 Ne bajjukira nga Katonda lwe lwazi lwabwe,
Era nga Katonda ali waggulu ennyo ye yabanunula.
36 #
Is 29:13; 57:11, Ez 33:31 Naye baamunyumiriza na kamwa kaabwe,
Ne bamulimbalimba n'olulimi lwabwe.
37 #
Zab 51:10, Bik 8:21 Kubanga omutima gwabwe tegwalongooka gy'ali,
So tebaali beesigwa mu ndagaano ye.
38 #
Kuv 34:6, Kubal 14:20, Nek 9:17, Zab 86:15 Naye ye, kubanga yajjula okusaasira, n'asonyiwa obutali butuukirivu bwabwe, n'atazikiriza:
Weewaawo, emirundi emingi yabayisaako obusungu bwe,
N'atakubiriza busungu bwe bwonna.
39 #
Lub 6:3, Yob 7:7, Yak 4:14 Naye n'ajjukira nga bo mubiri bubiri;
Empewo eziyita ne zitadda nate.
40Emirundi nga mingi gye baakamujeemera mu ddungu,
Ne bamunakuwaliza mu lukoola!
41 #
Zab 71:22
Ne bakyuka nate ne bakema Katonda,
Ne banyiiza Omutukuvu wa Isiraeri.
42 #
Balam 8:34
Tebajjukira mukono gwe,
Newakubadde olunaku lwe yabanunuliramu eri omulabe.
43 #
Zab 105:27-36
Bwe yateeka obubonero bwe mu Misiri,
N'eby'amagero bye mu nnimiro ya Zowaani;#Kuv 7:3; 11:9,10
44 #
Kuv 7:17-21
N'afuula emigga gyabwe omusaayi,
N'enzizi zaabwe ne batayinza kunywa.
45 #
Kuv 8:2-14,21-24 N'atuma mu bo ebitole by'ensowera, ezaabaluma;
N'ebikere, ebyabazikiriza.
46 #
Kuv 10:12-15
Era n'awa obuwuka ekyengera kyabwe,
N'emirimu gyabwe eri enzige.
47 #
Kuv 9:22-25
N'atta emizabbibu gyabwe n'omuzira,
N'emisukomooli gyabwe n'empeke ennene ez'omuzira,
48 #
Kuv 9:19-21
Yawaayo n'ente zaabwe eri omuzira,
N'endiga zaabwe eri enjota ezaaka.
49 #
Kuv 12:13,23, 2 Sam 24:16 Yabakasukako obusungu bwe obukambwe,
N'okunyiiga, n'okunyiikaala, n'okunakuwala,
Ekibiina kya bamalayika abaleeta obubi.
50Yakubira obusungu bwe ekkubo,
Teyasaasira mmeeme zaabwe okufa,
Naye n'awaayo obulamu bwabwe eri olumbe;
51 #
Kuv 12:29, Zab 105:23,36 N'akuba ababereberye bonna abaali mu Misiri,
Abaasinga amaanyi mu weema za Kaamu:
52 #
Zab 77:20
Naye n'aggyamu abantu be ye ng'endiga,
N'abaluŋŋamiza mu ddungu ng'ekisibo.
53 #
Kuv 14:13,19,20,27,28 N'abakulembera mu mirembe bw'ati n'okutya ne batatya:
Naye ennyanja n'esuulira ddala abalabe baabwe.
54 #
Kuv 15:17, Zab 68:16 N'abaleeta ku nsalo ey'awatukuvu we,
Ku lusozi luno omukono gwe ogwa ddyo lwe gwagula.
55 #
Yos 23:4, Zab 44:2 Era n'agobamu amawanga mu maaso gaabwe,
N'agabawa okuba obusika ng'abagerera,
N'atuuza ebika bya Isiraeri mu weema zaago.
56 #
Balam 2:11,12 Naye ne bakema Katonda ali waggulu ennyo ne bamujeemera,
Ne batakwata bye yategeeza;
57 #
Kos 7:16
Naye ne bakyuka ennyuma ne bakuusakuusa nga bajjajjaabwe:
Ne bakyama ng'omutego ogw'obulimba.
58 #
Leev 26:30, Ma 12:3; 31:29; 32:16, Ez 20:28 Kubanga baamusunguwazanga n'ebifo byabwe eby'oku nsozi,
Ne bamukwasanga obuggya n'ebifaananyi byabwe ebyole.
59 #
Zab 106:40
Katonda bwe yawulira bw'atyo, n'asunguwala,
N'atamwa nnyo Isiraeri:
60 #
Yos 18:1, 1 Sam 4:11, Yer 7:12-14 N'afuluka mu weema ey'omu Siiro,
Eweema gye yali ateese mu bantu;
61 #
1 Sam 4:21
N'awaayo amaanyi ge mu busibe,
N'ekitiibwa kye mu mukono gw'omulabe.
62 #
1 Sam 4:10
Era n'agabula abantu be eri ekitala;
N'asunguwalira obusika bwe.
63 #
Zab 89:46, Yer 7:34 Omuliro ne gulya abavubuka baabwe;
N'abawala baabwe ne bataba na luyimba lwa kufumbirwa.
64 #
1 Sam 4:11, Yob 27:15 Bakabona baabwe ne bafa ekitala;
Ne bannamwandu baabwe ne batakuba biwoobe.
65 #
Zab 73:20, Is 42:13 Mukama n'alyoka azuukuka ng'azuukuka mu tulo,
Ng'omuzira ayogerera waggulu ng'anywedde omwenge.
66N'akuba abalabe be ne baddayo ennyuma:
N'abakwasa ensonyi ezitaggwaawo.
67Era n'agaana eweema ya Yusufu,
N'atalonda kika kya Efulayimu;
68 #
Zab 87:2
Naye n'alonda ekika kya Yuda,
Olusozi Sayuuni lwe yayagala.
69 #
1 Bassek 6:1-14
N'azimba awatukuvu we okufaanana ng'ensozi,
Ng'ensi gye yanyweza emirembe gyonna.
70 #
1 Sam 16:11-13
Era n'alonda Dawudi omuddu we,
N'amuggya mu bisibo by'endiga:
71 #
2 Sam 5:2; 7:8, Mi 5:2-4 Mu kugoberera endiga eziyonsa mwe yamuggya,
Okulundanga Yakobo be bantu be, ne Isiraeri bwe busika bwe.
72 #
1 Bassek 9:4, Zab 101:2 Awo n'abalundanga mu butuukirivu obw'omutima gwe;
N'abaluŋŋamyanga n'amagezi g'emikono gye.
Currently Selected:
Zabbuli 78: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.