Zabbuli 77
77
Ya mukulu w'abayimbi; ng'engeri bw'eri eya Yedusuni. Zabbuli ya Asafu.
1 #
Zab 3:4
Naakabiranga Katonda n'eddoboozi lyange;
Eri Katonda n'eddoboozi lyange, naye anampuliranga.
2 #
Zab 50:15; 86:7; 143:6, Is 26:9 Ku lunaku olw'okunakuwala kwange nanoonya Mukama;
Omukono gwange ne gugololebwa ekiro ne gutaddirira;
Emmeeme yange n'egaana okusanyusibwa.
3 #
Zab 43:5; 61:2; 142:3; 143:4 Njijukira Katonda, ne nneeraliikirira:
Neemulugunya, omwoyo gwange ne guzirika. (Seera)
4Okwata ku maaso gange nga gatunula:
Ntegana bwe nti n'okuyinza ne ssiyinza kwogera.
5 #
Ma 32:7, Zab 143:5, Is 51:9 Ndowoozezza ennaku ez'edda,
Emyaka egy'ebiro eby'edda.
6 #
Zab 4:4; 42:8 Njijukira oluyimba lwange ekiro:
Ne nteesa ebigambo n'omutima gwange nzekka;
N'omwoyo gwange gwanoonyeza ddala.
7 #
Zab 44:9
Mukama anaasuuliranga ddala emirembe gyonna?
Era anaaba nga takyalina kisa nate?
8 #
Yer 15:18, Bar 9:6 Okusaasira kwe kugendedde ddala emirembe gyonna?
Kye yasuubiza nga kifudde emirembe n'emirembe?
9 #
Is 49:15, Kaab 3:2 Katonda yeerabidde okuba n'ekisa?
Asibye okusaasira kwe okulungi mu busungu? (Seera)
10 #
Yer 10:19
Nange ne njogera nti Obwo bwe bunafu bwange;
Naye najjukiranga emyaka egy'omukono ogwa ddyo gw'oyo ali waggulu ennyo.
11 #
Zab 105:5
Naayogeranga ku bikolwa bya Mukama;
Kubanga najjukiranga eby'ekitalo byo eby'edda.
12Era naalowoozanga omulimu gwo gwonna,
Era naafumiitirizanga ebikolwa byo.
13 #
Zab 35:10
Ekkubo lyo, ai Katonda, liri mu watukuvu:
Katonda omukulu, ali nga Katonda, ye ani?
14 #
Zab 72:18; 106:8 Ggwe Katonda akola eby'amagero:
Wamanyisa amaanyi go mu mawanga.
15 #
Kuv 6:6, Ma 9:29 Wanunula abantu bo n'omukono gwo,
Abaana ba Yakobo ne Yusufu. (Seera)
16 #
Kuv 14:21, Yos 3:15,16, Zab 114:3, Kaab 3:10 Amazzi gaakulaba, ai Katonda;
Amazzi gaakulaba, ne gatya:
Era n'obuziba ne bukankana.
17 #
Zab 18:14
Ebire ne bitonnya amazzi;
Eggulu ne lireeta eddoboozi:
Era n'obusaale bwo ne bubuna.
18 #
Zab 97:4; 104:7 Eddoboozi ery'okubwatuka kwo ne liba mu kikuŋŋunta;
Okumyansa ne kumulisa ebintu byonna:
Ensi n'ekankana n'eyuuguuma.
19 #
Kaab 3:15
Ekkubo lyo lyali mu nnyanja.
N'empenda zo zaali mu mazzi amangi.
N'ebigere byo tebyamanyika.
20 #
Kuv 13:21, Is 63:11,12 Waluŋŋamyanga abantu bo ng'endiga,
Mu mukono gwa Musa ne Alooni.
Currently Selected:
Zabbuli 77: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.