YouVersion Logo
Search Icon

Matayo 6:16-18

Matayo 6:16-18 LUG68

Nate bwe musiibanga, temubeeranga nga bannanfuusi, abalina amaaso ag'ennaku: kubanga beeyonoona amaaso gaabwe, era abantu babalabe nga basiiba. Mazima mbagamba nti Bamaze okuweebwa empeera yaabwe. Naye ggwe bw'osiibanga, osaabanga amafuta ku mutwe, onaabanga ne mu maaso; abantu balemenga okulaba ng'osiiba, wabula Kitaawo ali mu kyama: kale Kitaawo alaba mu kyama alikuwa empeera.

Free Reading Plans and Devotionals related to Matayo 6:16-18