Eby'Abaleevi 9
9
1 #
Ez 43:27
Awo olwatuuka ku lunaku olw'omunaana Musa n'ayita Alooni n'abaana be n'abakadde ba Isiraeri; 2#Leev 1:0n'agamba Alooni nti Weetwalire ennyana ennume okuba ekiweebwayo olw'ekibi, n'endiga ennume okuba ekiweebwayo ekyokebwa, ezitaliiko bulema, oziweereyo mu maaso ga Mukama. 3#Leev 1:3,10; 4:23Era abaana ba Isiraeri onoobagamba nti mwetwalire embuzi ennume okuba ekiweebwayo olw'ekibi; n'ennyana n'omwana gw'endiga, ezaakamaze omwaka ogumu zombi, ezitaliiko bulema, okuba ekiweebwayo ekyokebwa; 4#Kuv 29:43, Leev 2:4; 3:1,6n'ente n'endiga ennume okuba ebiweebwayo olw'emirembe okuziwaayo mu maaso ga Mukama; n'ekiweebwayo eky'obutta ekitabuddwamu amafuta: kubanga leero Mukama anaabalabikira. 5Ne baleeta ebyo Musa by'alagidde mu maaso g'eweema ey'okusisinkanirangamu: ekibiina kyonna ne kisembera ne kiyimirira mu maaso ga Mukama. 6Musa n'ayogera nti Kino kye kigambo Mukama kye yalagira mukikole: n'ekitiibwa kya Mukama kinaabalabikira. 7#Leev 4:16,30, Beb 5:1-3Musa n'agamba Alooni nti Semberera ekyoto, oweeyo ekyo ky'owaayo olw'ekibi n'ekyo ky'owaayo ekyokebwa, weetangirire wekka n'abantu: oweeyo ekitone eky'abantu obatangirire; nga Mukama bwe yalagira. 8Awo Alooni n'asemberera ekyoto, n'atta ennyana ey'ekiweebwayo olw'ekibi, ekikye ku bubwe. 9#Leev 4:6,7; 8:15Abaana ba Alooni ne bamuleetera omusaayi: n'annyika engalo ye mu musaayi, n'agusiiga ku mayembe g'ekyoto, n'ayiwa omusaayi ku ntobo y'ekyoto, 10#Leev 4:8-10; 8:16naye amasavu n'ensigo n'ekisenge eky'okukibumba eky'ekiweebwayo olw'ekibi, n'abyokera ku kyoto; nga Mukama bwe yalagira Musa. 11#Leev 4:11,12; 8:17N'ennyama n'eddiba n'abyokera n'omuliro ebweru w'olusiisira. 12#Leev 1:5; 8:19N'atta ekiweebwayo ekyokebwa; abaana ba Alooni ne bamuleetera omusaayi, n'agumansira ku kyoto enjuyi zonna. 13#Leev 1:6; 8:20Ne bamuleetera ekiweebwayo ekyokebwa, ebitundu ebitundu kinnakimu, n'omutwe: n'abyokera ku kyoto. 14#Leev 8:21; 1:9N'anaaza ebyenda n'amagulu, n'abyokera ku kiweebwayo ekyokebwa ku kyoto. 15#Leev 6:25; 9:3,7,8N'aleeta ekitone eky'abantu, n'addira embuzi ey'ekiweebwayo olw'ekibi ekyali ku bw'abantu, n'agitta, n'agiwaayo olw'ekibi, nga n'eyolubereberye. 16#Leev 1:3,10N'aleeta ekiweebwayo ekyokebwa, n'akiwaayo ng'ekiragiro bwe kyali. 17#Kuv 29:38,39, Leev 2:1,2N'aleeta ekiweebwayo eky'obutta, n'akitoolako okujjuza olubatu lwe, n'agyokera ku kyoto, era n'ekiweebwayo ekyokebwa eky'enkya. 18#Leev 3:1,6; 9:4Era n'atta ente n'endiga ennume, ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe, eyali ku bw'abantu: abaana ba Alooni ne bamuleetera omusaayi, n'agumansira ku kyoto enjuyi zonna, 19n'amasavu g'ente: ne ku ndiga omukira ogwa ssava, n'agabikka ku byenda, n'ensigo n'ekisenge eky'oku kibumba: 20#Leev 3:5,9amasavu ne bagateeka ku bifuba n'ayokera amasavu ku kyoto: 21#Kuv 29:24,26n'ebifuba n'ekisambi ekya ddyo Alooni n'abiwuubawuuba okuba ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Mukama nga Musa bw'alagidde. 22#Kubal 6:23-27, Ma 21:5, Luk 24:50Awo Alooni n'ayimusa emikono gye eri abantu, n'abasabira omukisa; n'aserengeta ng'amaze okuwaayo ekiweebwayo olw'ekibi n'ekiweebwayo ekyokebwa n'ebiweebwayo olw'emirembe. 23#Kuv 29:43, Leev 9:4,6Awo Musa ne Alooni ne bayingira mu weema ey'okusisinkanirangamu, ne bafuluma, ne basabira abantu omukisa: awo ekitiibwa kya Mukama ne kirabikira abantu bonna. 24#Balam 6:21, 1 Bassek 18:38,39, 1 Byom 21:26, Ezer 3:11Omuliro ne guva eri Mukama mu maaso ge, ne gwokera ku kyoto ekiweebwayo ekyokebwa n'amasavu: awo abantu bonna bwe baagulaba ne boogerera waggulu ne bavuunama amaaso gaabwe.
Currently Selected:
Eby'Abaleevi 9: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.