YouVersion Logo
Search Icon

Eby'Abaleevi 8

8
1Mukama n'agamba Musa nti 2#Kuv 28:2-4; 29:1,2; 30:25Twala Alooni n'abaana be awamu naye, n'ebyambalo, n'amafuta ag'okufukako, n'ente ey'ekiweebwayo olw'ekibi, n'endiga ennume zombi, n'ekibbo ekirimu amigaati egitazimbulukuswa; 3okuŋŋaanyize ekibiina kyonna ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu. 4Awo Musa n'akola nga Mukama bwe yamulagira; ekibiina ne kikuŋŋaanyizibwa ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu. 5#Kuv 29:4Musa n'agamba ekibiina nti Kino kye kigambo Mukama kye yalagira okukola. 6Musa n'aleeta Alooni n'abaana be, n'abanaaza n'amazzi. 7#Kuv 28:4N'amwambaza ekizibawo, n'amusiba olukoba, n'amwambaza omunagiro, n'amussaako ekkanzu, n'amusiba olukoba olw'ekkanzu olwalukibwa n'amagezi, n'aginyweza n'olwo. 8#Kuv 28:30N'amussaako ekyokukifuba: ne mu kyokukifuba yateeka Ulimu ne Sumimu. 9#Kuv 28:36,37; 29:6N'amutikkira enkuufiira ku mutwe; ne ku nkuufiira, mu maaso gaayo, n'assaako ekipande ekya zaabu, engule entukuvu; nga Mukama bwe yalagira Musa. 10#Kuv 30:26-29Musa n'addira amafuta ag'okufukako, n'agafuka ku weema ne ku byonna ebyagirimu, n'abitukuza. 11N'amansirako ku kyoto emirundi musanvu, n'afuka ku kyoto n'ebintu byakyo byonna, n'eky'okunaabirangamu n'entobo yaakyo, okubitukuza. 12#Kuv 29:7, Leev 21:10,12N'afuka ku mafuta ag'okufukako ku mutwe gwa Alooni, n'amufukako amafuta, okumutukuza. 13#Kuv 29:8,9Musa n'aleeta abaana ba Alooni, n'abambaza ebizibawo, n'abasiba enkoba, n'abasibako ebiremba; nga Mukama bwe yalagira Musa. 14#Kuv 29:10, Leev 4:4; 8:2N'aleeta ente ey'ekiweebwayo olw'ekibi: Alooni n'abaana be ne bateeka engalo zaabwe ku mutwe gw'ente ey'ekiweebwayo olw'ekibi. 15#Kuv 29:11,12, Leev 4:7, Ez 43:20,26N'agitta: Musa n'addira omusaayi, n'agusiiga ku mayembe g'ekyoto enjuyi zonna n'engalo ye, n'alongoosa ekyoto, n'ayiwa omusaayi ku ntobo y'ekyoto, n'akitukuza, okukitangirira. 16#Kuv 29:13, Leev 4:8-10N'addira amasavu gonna agaali ku byenda, n'ekisenge eky'okukibumba, n'ensigo zombi, n'amasavu gaazo, Musa n'agookera ku kyoto. 17#Kuv 29:14, Leev 4:11,12Naye ente n'eddiba lyayo n'ennyama yaayo n'obusa bwayo n'abyokera n'omuliro ebweru w'olusiisira; nga Mukama bwe yalagira Musa. 18#Kuv 29:15, Leev 8:2N'aleeta endiga ennume ey'ekiweebwayo ekyokebwa: Alooni n'abaana be ne bateeka engalo zaabwe ku mutwe gw'endiga. 19#Kuv 29:16-18, Leev 1:5-9N'agitta: Musa n'amansira omusaayi ku kyoto enjuyi zonna. 20N'asala mu ndiga ebitundu byayo; Musa n'ayokya omutwe, n'ebitundu, n'amasavu. 21N'anaaza ebyenda n'amagulu n'amazzi: Musa n'ayokera endiga yonna ku kyoto: yali kiweebwayo ekyokebwa olw'evvumbe eddungi: yali kiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama; nga Mukama bwe yalagira Musa. 22#Kuv 29:19, Leev 8:2N'aleeta endiga ennume ey'okubiri, endiga ey'okwawula: Alooni n'abaana be ne bateeka engalo zaabwe ku mutwe gw'endiga. 23#Kuv 29:20, Leev 14:14N'agitta; Musa n'atoola ku musaayi gwayo, n'agusiiga ku nsonda y'okutu kwa Alooni okwa ddyo ne ku kinkumu ky'omukono gwe ogwa ddyo, ne ku kigere ekisajja eky'okugulu kwabwe okwa ddyo, 24N'aleeta abaana ba Alooni, Musa n'asiiga ku musaayi ku nsonda y'okutu kwabwe okwa ddyo, ne ku kinkumu eky'omukono gwabwe ogwa ddyo, ne ku kigere ekisajja eky'okugulu kwabwe okwa ddyo: Musa n'amansira omusaayi ku kyoto enjuyi zonna. 25#Kuv 29:22N'addira amasavu, n'omukira ogwa ssava, n'amasavu gonna agali ku byenda, n'ekisenge eky'oku kibumba, n'ensigo zombi, n'amasavu gaazo, n'ekisambi ekya ddyo: 26#Kuv 29:23, Ez 43:27ne mu kibbo ekyalimu emigaati egitazimbulukuswa ekyali mu maaso ga Mukama n'aggyamu omugaati gumu ogutazimbulukuswa, n'omugaati gumu ogwasiigibwako amafuta, n'ogw'oluwewere gumu, n'agiteeka ku masavu, ne ku kisambi ekya ddyo: 27#Kuv 29:24n'ateeka byonna mu ngalo za Alooni ne mu ngalo z'abaana be, n'abiwuubawuuba okuba ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Mukama. 28#Kuv 29:25 Musa n'abiggya mu ngalo zaabwe, n'abyokera ku kyoto ku kiweebwayo ekyokebwa: byali bya kwawula olw'evvumbe eddungi: yali kiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama. 29#Kuv 29:26Musa n'addira ekifuba, n'akiwuubawuuba okuba ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Mukama: gwali mugabo gwa Musa ku ndiga ey'okwawula; nga Mukama bwe yalagira Musa. 30#Kuv 29:21; 30:30Musa n'atoola ku mafuta ag'okufukako, ne ku musaayi ogwali ku kyoto, n'agumansira ku Alooni, ku byambalo bye, ne ku baana be, ne ku byambalo by'abaana be awamu naye; n'atukuza Alooni, ebyambalo bye, n'abaana be, n'ebyambalo by'abaana be awamu naye. 31#Kuv 29:31,32, Ez 46:20Musa n'agamba Alooni n'abaana be nti Mufumbire ennyama ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu: mugiriire eyo n'emigaati egiri mu kibbo eky'okwawula, nga bwe nnalagira nga njogera nti Alooni n'abaana be banaabiryanga. 32#Kuv 29:34Era ekinafikkawo ku nnyama ne ku migaati munaakyokya n'omuliro. 33#Kuv 29:35So temufulumanga mu mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu ennaku musanvu, okutuusa ennaku ez'okwawula kwammwe lwe zirituukirira: kubanga alibaawulira ennaku musanvu. 34Nga bwe kikoleddwa leero, bw'atyo Mukama bwe yalagira okukola, okubatangirira. 35#Kubal 9:19Era ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu gye mulimalira ennaku musanvu emisana n'ekiro, mwekuume ekiragiro kya Mukama muleme okufa: kubanga bwe ntyo bwe nnalagirwa. 36Alooni n'abaana be ne bakola byonna Mukama bye yalagira mu mukono gwa Musa.

Currently Selected:

Eby'Abaleevi 8: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in