YouVersion Logo
Search Icon

Eby'Abaleevi 6

6
1Mukama n'agamba Musa nti 2#Kuv 22:7,10, Leev 19:11,13, Kubal 5:6Omuntu yenna bw'ayonoonanga, n'asobya ku Mukama, n'alyazaamaanya muliraanwa we mu bigambo eby'okuteresa, oba mu by'okulamulagana, oba mu by'okunyaga, oba bw'abanga ajooze muliraanwa we; 3#Leev 19:12, Ma 22:1-3, Zek 5:4oba bw'aba ng'azudde ekyazaawa, n'akiryazaamaanya, n'alayira eby'obulimba; mu kigambo kyonna ku ebyo byonna omuntu ky'akola ng'ayonoona bw'atyo; 4kale olunaatuukanga bw'aba ng'ayonoonye era ng'aliko omusango, anazzangayo ekyo kye yanyaga, oba kye yafuna olw'okujooga, oba ekyateresebwa kye baamukwasa, oba ekyazaawa kye yazuula, 5#Kubal 5:7, 2 Sam 12:6, Luk 19:8oba ekintu kyonna kye yalayirira ng'alimba; anaakizzangayo kyonna, era anaakyongerangako ekitundu kyakyo eky'okutaano: nannyini kyo gw'alikiwa ku lunaku lw'alirabika ng'aliko omusango. 6#Leev 5:18Era anaaleetanga ekyo ky'awaayo olw'omusango eri Mukama, endiga ennume eteriiko bulema ey'omu kisibo, nga bw'onoosalanga okuba ekiweebwayo olw'omusango, eri kabona: 7ne kabona anaamutangiriranga mu maaso ga Mukama, naye anaasonyiyibwanga; mu bigambo byonna bye yali akoze ebimuleetako omusango.
8Mukama n'agamba Musa nti 9Lagira Alooni n'abaana be nti Lino lye tteeka ery'ekiweebwayo ekyokebwa: ekiweebwayo ekyokebwa kinaabanga ku nku zaakyo ku kyoto, kinaasulangako okukeesa obudde; era omuliro ogw'omu kyoto gunaakumibwanga omwo obutazikiranga. 10#Leev 1:16; 16:4, Ez 44:18Era kabona anaayambalanga ekyambalo kye ekya bafuta, ne seruwale ye eya bafuta anaagyambalanga ku mubiri gwe; kale anaasitulanga evvu erivudde mu kiweebwayo ekyokebwa omuliro kye gwokezza ku kyoto, era anaaliteekanga ku mabbali g'ekyoto. 11#Ez 44:19Awo anaayambulanga ebyambalo bye, n'ayambala ebyambalo ebirala, n'atwala evvu ebweru w'olusiisira eri ekifo ekirongoofu. 12Era omuliro oguli ku kyoto gunaakumibwanga omwo obutazikiranga; era kabona anaayokerangako enku buli nkya: era anaakiteekerateekerangako ekiweebwayo ekyokebwa, era anaakyokerangako amasavu ag'ebiweebwayo olw'emirembe. 13Omuliro gunaakumibwanga mu kyoto lutata; teguzikiranga.
14 # Leev 2:1 Era lino lye tteeka ery'ekiweebwayo eky'obutta: abaana ba Alooni banaakiweerangayo mu maaso ga Mukama mu maaso g'ekyoto. 15#Leev 2:2Era anaakitoolangako olubatu lwe, ku butta obulungi obw'ekiweebwayo eky'obutta, ne ku mafuta gaakyo, n'omugavu gwonna oguli ku kiweebwayo eky'obutta, n'akyokera ku kyoto okuba evvumbe eddungi, okuba ekijjukizo kyakyo eri Mukama. 16#Leev 10:12,13N'ekyo ekinaafikkangawo Alooni n'abaana be banaakiryanga: kinaaliirwanga awatali kizimbulukusa mu kifo ekitukuvu; mu luggya lw'eweema ey'okusisinkanirangamu mwe banaakiriiranga. 17#Leev 2:3,11; 6:25,29; 7:1, Kubal 18:9Tekyokebwanga n'ekizimbulukusa. Nkibawadde okuba omugabo gwabwe ku byange ebiweebwayo ebikolebwa n'omuliro; kye kitukuvu ennyo, ng'ekiweebwayo olw'ekibi, era ng'ekiweebwayo olw'omusango. 18#Kuv 29:37; 30:29, Kubal 18:10Buli musajja ku baana ba Alooni banaakiryangako, okuba ebbanja ennaku zonna mu mirembe gyammwe gyonna, ku biweebwayo ebya Mukama ebikolebwa n'omuliro; buli anaabikomangako anaabanga mutukuvu.
19Mukama n'agamba Musa nti 20Kino kye kitone kya Alooni n'abaana be, kye banaawangayo eri Mukama ku lunaku lw'alifukirwako amafuta; ekitundu eky'ekkumi ekya efa y'obutta obulungi okuba ekiweebwayo eky'obutta ennaku zonna, ekitundu kyabwo enkya, n'ekitundu kyabwo akawungeezi. 21#Leev 2:5; 7:12Ku kikalango kwe bunaafumbirwanga n'amafuta; bwe bumalanga okunnyikira, n'olyoka obuyingiza: onoowangayo ekiweebwayo eky'obutta mu bitole ebyokye okuba evvumbe eddungi eri Mukama. 22#Kuv 29:25Era kabona eyafukibwako amafuta anaabanga mu kifo kye ow'oku baana be ye anaakiwangayo: kinaayokebwanga kyonna eri Mukama olw'etteeka eritalijjulukuka ennaku zonna. 23Era buli ekiweebwayo eky'obutta ekya kabona kinaayokebwanga kyonna: tekiriibwanga.
24Mukama n'agamba Musa nti 25#Leev 1:3,11; 4:1-35; 6:17Gamba Alooni n'abaana be nti Lino lye tteeka ery'ekiweebwayo olw'ekibi: mu kifo ekiweebwayo ekyokebwa mwe kittirwa n'ekiweebwayo olw'ekibi mwe kinattirwanga mu maaso ga Mukama: kye kitukuvu ennyo. 26#Leev 6:16, Kubal 18:9,10, Ez 44:27,29Kabona akiwaayo olw'ekibi y'anaakiryanga: kinaaliirwanga mu kifo ekitukuvu, mu luggya lw'eweema ey'okusisinkanirangamu. 27#Leev 6:18Buli ekinaakomanga ku nnyama yaakyo kinaabanga kitukuvu: era bwe kunaamansirwanga ku musaayi gwakyo ku kyambalo kyonna, onooyolezanga ekyo ekimansiddwako mu kifo ekitukuvu. 28#Leev 11:32,33; 15:12Naye ekintu ekibumbe mwe kifumbirwa kinaayasibwanga: era oba nga kifumbiddwa mu kintu eky'ekikomo, kinaasiimuulwanga era kinaayozebwanga n'amazzi. 29#Kubal 18:10Buli musajja ku bakabona anaakiryangako: kye kitukuvu ennyo. 30#Leev 4:7,11; 16:27, Beb 13:11So tewabanga kiweebwayo lwa kibi, kye batoolako ku musaayi gwakyo ne baguyingiza mu weema ey'okusisinkanirangamu okutangirira mu watukuvu, kye balyako; kinaayokebwanga n'omuliro.

Currently Selected:

Eby'Abaleevi 6: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in