YouVersion Logo
Search Icon

Yobu 40

40
1Era nate Mukama n'addamu Yobu n'ayogera nti
2 # Yob 33:13 Aleeta ensonga ezitaliimu anaayombesa Omuyinza w'ebintu byonna?
Awakanya Katonda akiwoze.
3Awo Yobu n'alyoka addamu Mukama n'ayogera nti
4 # Ezer 9:6, Yob 21:5 Laba, siriimu ka buntu; n'akuddamu ntya?
Nteeka omukono gwange ku kamwa kange.
5 # Zab 62:11 Njogedde omulundi gumu, so ssiddemu;
Weewaawo, emirundi ebiri, naye sseeyongere nate.
6Awo Mukama n'addamu Yobu ng'ayima mu mbuyaga ez'akazimu n'ayogera nti
7 # Yob 38:3 Weesibe nno ekimyu ng'omusajja:
Naakubuuza, naawe onziremu.
8 # Yob 32:2 N'okujjulula onojjulula omusango gwe nsala?
Ggwe ononsalira nze omusango obeere n'obutuukirivu?
9 # Yob 37:4, Zab 89:13, Is 63:12 Oba olina omukono nga Katonda?
Era oyinza okubwatuka n'eddoboozi erifaanana erirye?
10 # Zab 93:1; 104:1 Weeyonje nno n'okuwooma n'okutiibwa;
Yambala ekitiibwa n'obukulu.
11 # Is 2:11, Dan 4:37 Fuka obusungu bwo obusukkiridde:
Otunuulire buli muntu ow'amalala omujeeze.
12 # Yob 36:20, Is 63:3 Tunuulira buli muntu ow'amalala omukkakkanye;
Olinnyirire ababi we bayimirira.
13 # Is 2:10 Bakise wamu mu nfuufu;
Siba amaaso gaabwe mu kifo ekikisibwa.
14 # Is 59:16 Kale nange ne ndyoka nzikiriza ku ggwe
Ng'omukono gwo gwe guyinza okukulokola.
15Laba nno envubu gye nnatondera awamu naawe;
Erya omuddo ng'ente.
16Laba nno amaanyi gaayo gali mu kiwato kyayo,
N'amawaggali gaayo gali mu binywa eby'omu lubuto lwayo.
17Yeesagga omukira ng'omuvule:
Ebinywa eby'omu kiwato kyayo byegatta wamu.
18Amagumba gaayo galiŋŋanga enseke ez'ebikomo;
Amagulu gaayo galiŋŋanga ebyuma ebisiba.
19Ye ekulira amakubo ga Katonda:
Ye yekka eyagitonda ayinza okugisembereza ekitala kye.
20 # Zab 104:26 Mazima ensozi zigizaalira ebyokulya;
Ensolo zonna ez'omu nsiko we zizannyira.
21 # Zab 68:30 Egalamira wansi w'ebisiikirize by'emiti,
Mu bwekwekero obw'omu ndago ne mu bitosi.
22Ebisiikirize by'emiti bigibikkako;
Emyerebu egy'omu bugga gigyetooloola.
23Laba, omugga bwe gwanjaala, tekankana:
Eguma omwoyo Yoludaani newakubadde nga gujjula ne gutuuka ku kamwa kaayo.
24Waliwo anaagikwata bw'eba ng'etunula,
Oba anaawummula ennyindo zaayo n'ekyambika?

Currently Selected:

Yobu 40: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in