Yobu 38
38
1 #
Yob 13:22
Awo Mukama n'alyoka addamu Yobu ng'ayima mu mbuyaga ez'akazimu n'ayogera nti
2Ani ono aleeta akizikiza mu kuteesa
N'ebigambo ebitaliimu kumanya?
3Kale nno weesibe ekimyu ng'omusajja;
Kubanga naakubuuza, naawe onziremu.
4 #
Zab 104:2, Nge 8:24-29; 30:4, Is 40:12-14 Wali oli ludda wa bwe nnassaawo emisingi gy'ensi?
Yatula oba olina okutegeera.
5Ani eyateesa ebigera byayo, oba nga omanyi?
Oba ani eyagireegera omugwa?
6Emisingi gyayo gyasibirwa ku ki?
Oba ani eyassaawo ejjinja lyayo ekkulu ery'oku nsonda;
7 #
Yob 1:6, Zab 19:1-4, Luk 2:13,14 Emmunyeenye ez'enkya bwe zaayimbira awamu,
N'abaana ba Katonda bonna ne boogerera waggulu olw'essanyu?
8 #
Lub 1:9, Zab 33:7; 104:8,9, Yer 5:22 Oba ani eyasiba ennyanja n'enzigi,
Bwe yawaguza ng'ekiva mu lubuto;
9 #
Yob 22:13
Bwe nnafuula ekire okuba ekyambalo kyayo,
N'ekizikiza ekikutte okuba ebiwero eby'okubikka,
10 #
Yob 26:10
Bwe nnagiragira etteeka lyange,
Ne nzisaawo ebisiba n'enzigi,
11 #
Zab 65:7,8 Ne njogera nti Wano w'okomanga so tosukkangawo;
Era wano amayengo go ag'amalala we gaziyirizibwanga?
12 #
Zab 74:16
Wali olagidde enkya ennaku zo kasookedde zibaawo,
Wali omanyisizza emmambya ekifo kyayo;
13 #
Nek 5:13
Ekwate enkomerero z'ensi,
Era ababi bakunkumulwe okugivaamu?
14Ewaanyisibwa ng'ebbumba wansi w'akabonero;
N'ebintu byonna bikukunuka ng'ekyambalo:
15 #
Yob 18:5; 24:13-17, Zab 10:15, Ez 30:21,22, Mat 6:23 N'ababi omusana gwabwe gubaggibwako,
N'omukono ogugulumizibwa gumenyeka.
16 #
Zab 77:19
Wali oyingidde mu nsulo ez'ennyanja?
Oba wali otambudde mu madubi ag'obuziba?
17 #
Zab 9:13; 107:18, Is 38:10, Mat 16:18 Enzigi ez'okufa zaali zikubikkuliddwa?
Oba wali olabye enzigi ez'ekisiikirize eky'okufa?
18Wali otegedde ensi bw'eri engazi?
Yatula, oba nga obimanyi byonna.
19Ekkubo liri ludda wa eridda mu nnyumba ey'omusana,
N'ekizikiza ekifo kyakyo kiri ludda wa;
20 #
Yob 24:13
Ggwe okukiwerekera ku mbibi yaakyo?
Era otegeere amakubo okutuuka ku nnyumba yaakyo?
21 #
Yob 15:7
Omanyi, kubanga wali ozaaliddwa mu biro ebyo,
N'omuwendo gw'ennaku zo mungi!
22 #
Zab 135:7
Wali oyingidde mu mawanika g'amazzi amakwafu,
Oba wali olabye amawanika ag'omuzira,
23 #
Yos 10:11, Is 28:17; 30:30, Ez 13:11,13; 38:22, Kub 16:21 Ge nnaterekera ebiro eby'okulabiramu ennaku,
Olunaku olw'olutalo n'obulwa?
24Mu kkubo ki omusana mwe gwawukanira,
Oba embuyaga ez'ebuvanjuba mwe zisaasaanira ku nsi?
25 #
Yob 28:26
Ani eyasalira amataba olusalosalo,
Oba ekkubo ery'enjota ez'okubwatuka;
26Okutonnyesa enkuba ku nsi okutali muntu;
Mu ddungu omutali muntu n'omu;
27 #
Lub 1:11, 2 Sam 23:4 Okukkusa ettaka eryazika eryalekebwa;
N'okulosa omuddo omuto?
28 #
Zab 147:8, Yer 14:22 Enkuba erina kitaawe waayo?
Oba ani eyazaala amatondo ag'omusulo?
29 #
Zab 147:16,17 Mu lubuto lw'ani omwava amazzi amakwafu?
N'omusulo omukwafu omweru ogw'omu ggulu ani eyaguzaala?
30Amazzi gakwekebwa nga gakwekeddwa n'amayinja.
Ne kungulu ku buziba nga kukutte.
31 #
Yob 9:9, Am 5:8 Oyinza okusiba ekikuukuulu kya Kakaaga,
Oba okusumulula olukoba lw'Entungalugoye?
32 #
2 Bassek 23:5
Oyinza okufulumya emmunyeenye mu ntuuko zaazo?
Oba oyinza okuluŋŋamya Nabaliyo n'abaana be?
33 #
Yer 31:35
Omanyi ebiragiro eby'omu ggulu?
Oyinza okunyweza okufuga kwalyo mu nsi?
34 #
Yob 22:11
Oyinza okuyimusa eddoboozi lyo eri ebire,
Amazzi amangi ennyo gakubikkeko?
35Oyinza okuweereza enjota zitambule,
Ne zikugamba nti Ffe tuutuno?
36Ani eyateeka amagezi mu bitundu eby'omunda?
Oba ani eyawa emmeeme okutegeera?
37Ani ayinza okubala ebire olw'amagezi?
Oba ani ayinza okuttulula amaliba ag'omu ggulu,
38Enfuufu bw'ekulukuta n'eba effunfugu,
Amafunfugu ne geegattira ddala?
39 #
Zab 104:21
Onooyiggira empologoma enkazi omuyiggo?
Oba onokkusa okwegomba kw'abaana b'empologoma,
40 #
Yob 37:8
Bwe zisula mu mpuku zaazo,
Ne zibeera mu bisaka okuteega?
41 #
Zab 147:9, Mat 6:26, Luk 12:24 Ani alabira namuŋŋoona emmere ye,
Abaana be bwe bakaabira Katonda,
Ne batambulatambula olw'okubulwa ebyokulya?
Currently Selected:
Yobu 38: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.