Yobu 37
37
1Era n'ekyo kikankanya omutima gwange,
Ne gunyeenyezebwa okuva mu kifo kyagwo.
2Muwulire okuwuuma kw'eddoboozi lye,
N'okududuma okuva mu kamwa ke.
3Akusindika wansi w'eggulu lyonna,
N'okumyansa kwe kubuna enkomerero z'ensi.
4 #
Yob 40:9, Zab 18:13; 29:3-9; 68:33 Oluvannyuma lwakwo eddoboozi ne liwuluguma;
Abwatuka n'eddoboozi ery'obukulu bwe:
So tabiziyiza eddoboozi lye bwe liwulirwa.
5 #
Yob 5:9
Katonda abwatuka kitalo n'eddoboozi lye;
Akola ebikulu bye tutayinza kutegeera.
6Kubanga agamba omuzira nti Gwa ku nsi;
Era bw'atyo bw'agamba oluwandaggirize,
N'empandaggirize ez'enkuba ye ey'amaanyi.
7 #
Zab 109:27
Assa akabonero ku mukono gwa buli muntu;
Abantu bonna be yatonda balyoke bakimanye.
8 #
Yob 38:40, Zab 104:22 Awo ensolo ne zigenda mu bwekwekero,
Ne zibeera mu mpuku zaazo,
9 #
Yob 1:19; 9:9, Is 21:1 Mu kisenge eky'obukiika obwa ddyo mwe muva omuyaga:
Empewo ne ziva mu bukiika obwa kkono.
10 #
Yob 38:29,30, Zab 147:17 Omukka gwa Katonda gwe guleeta omuzira:
N'amazzi bwe genkana obugazi ne gakwata.
11Weewaawo, ajjuza ekire ekiziyivu amazzi;
Abamba ekire eky'enjota ze:
12 #
Zab 148:8, Nge 8:31 Era okuluŋŋamya kwe kwe kukikyusakyusa eruuyi n'eruuyi,
Bikolenga byonna by'abiragira
Kungulu ku nsi yonna okubeereka:
13 #
Kuv 9:18,23, 1 Sam 12:18,19, 1 Bassek 18:45, Ezer 10:9, Yob 36:31; 38:23,26,27 Oba nga kya kubuulirira, oba nga kya nsi ye,
Oba nga kya kusaasira, kyava akireeta.
14Ekyo kiwulire, ggwe Yobu:
Yimirira buyimirizi, olowooze ebikolwa bya Katonda eby'ekitalo.
15Omanyi Katonda bw'abikuutira,
N'ayasa enjota ez'omu kire kye?
16 #
1 Sam 2:3, Yob 36:4 Omanyi okutereezebwa kw'ebire,
Ebikolwa eby'ekitalo eby'oyo eyatuukirira mu kumanya?
17Ebyambalo byo bwe bibuguma,
Ensi ng'esirise olw'embuyaga ez'obukiika obwa ddyo?
18 #
Lub 1:6, Is 42:5; 44:24 Oyinza okubambira eggulu awamu naye,
Amaanyi gaalyo genkana endabirwamu ensaanuuse?
19 #
Bef 4:18
Tuyigirize bye tuba tumugamba;
Kubanga tetuyinza kuliraanya kwogera kwaffe olw'ekizikiza.
20Anaabuulirwa nga njagala okwogera?
Oba omuntu yandyagadde okumirwa?
21Era kaakano abantu tebalaba musana ogumasamasa mu ggulu:
Naye embuyaga ne ziyita ne ziryerula.
22 #
Zab 104:1
Mu bukiika obwa kkono mwe muva okuyakaayakana okuli nga zaabu:
Katonda ayambadde ekitiibwa ekikanga.
23 #
Zab 99:4, Kung 3:33, 1 Tim 6:16 Omuyinza w'ebintu byonna tetuyinza kumunoonya; asinga bonna obuyinza:
Era mu musango ne mu butuukirivu obusukkirivu talibonyabonya.
24 #
Zab 130:4, Mat 10:28; 11:25, 1 Kol 1:26 Abantu kyebava bamutya:
Tabassaako mwoyo abo bonna abalina emitima egy'amagezi.
Currently Selected:
Yobu 37: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.